Lukka

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24

0:00
0:00

Essuula 22

Awo embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa eyitibwa Okuyitako yali enaatera okutuuka.
2 Bakabona abakulu n'abawandiisi ne basala amagezi bwe banaamutta; kubanga baali batya abantu.
3 Awo Setaani n'ayingira mu Yuda ayitibwa Isukalyoti eyali ku muwendo gw'abo ekkumi n'ababiri.
4 N'agenda, n'ateesa ne bakabona abakulu n'abaami ba sserikale bw'anaamuwaayo gye bali.
5 Ne basanyuka ne balagaana okumuwa effeeza.
6 N'akkiriza n'anoonya ebbanga mw'anaamuweerayo gye bali awatali kibiina.
7 Awo olunaku olw'emigaati egitazimbulukuswa ne lutuuka, olugwanidde okusalirwako Okuyitako.
8 N'atuma Peetero ne Yokaana ng'agamba nti Mugende mututegekere Okuyitako tugirye.
9 Ne bamugamba nti Oyagala tugitegekere wa?
10 N'abagamba nti Laba, bwe munaaba muyingidde mu kibuga munaasisinkana omuntu anaasisinkana nammwe eyeetisse ensuwa y'amazzi; mumugoberere mu nnyumba mw'anaayingira.
11 Munaagamba nnyini nnyumba nti Omuyigiriza akugambye nti Ennyumba y'abagenyi eruwa, mwe nnaaliira Okuyitako awamu n'abayigirizwa bange?
12 Era oyo anaabalaga ennyumba ennene eya waggulu etimbiddwa: mutegekere omwo.
13 Ne bagenda, ne balaba nga bw'abagambye: ne bategeka Okuyitako.
14 Awo ekiseera bwe kyatuuka, n'atuula ku mmere, n'abatume awamu naye.
15 N'abagamba nti Nneegombye nnyo okuliira awamu nammwe Okuyitako kuno nga sinnabonyaabonyezebwa:
16 kubanga mbagamba nti Sirikulya n'akatono, okutuusa lwe kulituukirira mu bwakabaka bwa Katonda.
17 N'addira ekikompe, ne yeebaza n'agamba nti Mutoole kino mugabane mwekka na mwekka:
18 kubanga mbagamba nti Sirinywa okusooka kaakano bibala ku muzabbibu, okutuusa obwakabaka bwa Katonda lwe bulijja.
19 N'addira omugaati ne yeebaza, n'agumenyamu, n'abawa ng'agamba nti Guno gwe mubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe: mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze.
20 Era n'ekikompe bw'atyo bwe baamala okulya; ng'agamba nti Ekikompe kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange, oguyiika ku lwammwe.
21 Naye, laba, omukono gw'oyo andyamu olukwe guli wamu nange ku mmeeza.
22 Kubanga Omwana w'omuntu okugenda agenda, nga bwe kyalagirwa: naye zimusanze omuntu oyo amulyamu olukwe!
23 Ne batanula okwebuuzaganya bokka na bokka nti anaaba ani ku bo agenda okukola ekyo.
24 Ne wabaawo n'empaka mu bo, nti ani ku bo alowoozebwa okuba omukulu.
25 N'abagamba nti Bakabaka b'ab'amawanga babafuga; n'abo abalina obuyinza ku bo bayitibwa abakola obulungi.
26 Naye mmwe si bwe mutyo; naye omukulu mu mmwe abeere ng'omuto; n'oyo akulembera, abe ng'aweereza.
27 Kubanga omukulu ani, atuula ku mmere, oba aweereza? si oyo atuula ku mmere? Naye nze wakati mu mmwe nninga aweereza.
28 Naye mmwe muumuno abaagumiikirizanga awamu nange mu kukemebwa kwange;
29 nange mbaterekera obwakabaka, nga Kitange bwe yanterekera nze,
30 mulyoke mulye era munywere ku mmeeza yange mu bwakabaka bwange; era mulituula ku ntebe ez'ekitiibwa, nga musalira emisango ebika ekkumi n'ebibiri eby'Abaisiraeri.
31 Simooni, Simooni, laba, Setaani yeegayiridde okubawewa mmwe ng'eŋŋaano:
32 naye nze nkusabidde, okukkiriza kwo kuleme okuddirira: naawe bw'omalanga okukyuka, onywezanga baganda bo.
33 N'amugamba nti Mukama wange, nneeteeseteese okugenda naawe ne mu kkomera ne mu kufa.
34 N'agamba nti Nkubuulira ggwe, Peetero, enkoko leero tejja kukookolima, nga tonnanneegaana emirundi esatu nti tommanyi.
35 N'abagamba nti Bwe nnabatuma nga temulina nsawo, newakubadde olukoba, newakubadde engatto, mwaliko kye mwetaaga? Ne bagamba nti Nedda.
36 N'abagamba nti Naye kaakano, alina ensawo, agitwale, n'ow'olukoba bw'atyo: naye atalina kitala atunde olugoye lwe akigule.
37 Kubanga mbagamba nti kino ekyawandiikibwa kigwanidde okutuukirizibwa ku nze nti Yabalirwa wamu n'abasobya: kubanga ekiŋŋwanira kirina okutuukirira.
38 Ne bagamba nti Mukama waffe, laba, ebitala bibiri biibino. N'abagamba nti Binaamala.
39 N'afuluma n'agenda ku lusozi olwa Zeyituuni, ng'empisa ye bwe yali; n'abayigirizwa be nabo ne bamugoberera.
40 Awo bwe yatuuka mu kifo awo, n'abagamba nti Musabe muleme okuyingira mu kukemebwa.
41 Ye n'abaawukanako ebbanga ng'awakasukibwa ejjinja; n'afukamira n'asaba,
42 ng'agamba nti Kitange, bw'oyagala, nziyaako ekikompe kino: naye si nga nze bwe njagala, naye ky'oyagala ggwe kikolebwe.
43 Malayika n'amulabikira ng'ava mu ggulu ng'amussaamu amaanyi.
44 N'afuba ng'alumwa ne yeeyongera okusaba ennyo: entuuyo ze ne ziba ng'amatondo g'omusaayi, nga gatonnya wansi.
45 Bwe yagolokoka mu kusaba, n'ajja eri abayigirizwa be, n'abasanga nga beebase olw'ennaku,
46 n'abagamba nti Ekibeebasizza ki? mugolokoke musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa.
47 Yali akyayogera, laba, ekibiina n'oyo ayitibwa Yuda; omu ku abo ekkumi n'ababiri, ng'abakulembedde; n’asemberera Yesu okumunywegera.
48 Naye Yesu n'amugamba nti Yuda, Omwana w'omuntu omulyamu olukwe ng'omunywegera?
49 N'abo be yali nabo bwe baalaba ekigenda okubaawo, ne bagamba nti Mukama waffe, tuteme n'ebitala?
50 N'omu ku abo n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu n'amusalako okutu kwe okwa ddyo.
51 Naye Yesu n'addamu n'agamba nti Koma ku ekyo kyokka. N'akoma ku kutu kwe n'amuwonya.
52 Yesu n'agamba bakabona abakulu, n'abaami b'omu yeekaalu, n'abakadde, abaamujjirira nti Munjijiridde ng'omunyazi, n'ebitala n'emiggo?
53 Bwe nnabanga nammwe bulijjo mu yeekaalu, temwangololerangako mikono gyammwe: naye kino kye kiseera kyammwe, n'obuyinza bw'ekizikiza.
54 Ne bamukwata, ne bamutwala, ne bamuyingiza mu nnyumba ya kabona asinga obukulu. Naye Peetero n'agoberera ng'ava wala.
55 Awo bwe baali nga bamaze okukuma omuliro wakati mu luggya, nga batudde wamu, Peetero n'atuula wakati mu bo.
56 Awo omuwala omu bwe yamulaba ng'attudde awalaba, n'amwekaliriza, n'agamba nti N'ono yabadde naye.
57 Ne yeegaana ng'agamba nti Omukazi, simumanyi.
58 Ekiseera bwe kyayitawo, omulala n'amulaba n'agamba nti Naawe oli ku bo. Naye Peetero n'agamba nti Omuntu, si nze.
59 Waali wayiseewo ekiseera ng'essaawa emu, omulala n'akaliriza ng'agamba nti Mazima n'ono yabadde wamu naye; kubanga Mugaliraaya.
60 Naye Peetero n'agamba nti Omuntu, simanyi ky'oyogera. Awo amangu ago, bwe yali ng'akyayogera, enkoko n'ekookolima.
61 Awo Mukama waffe n'akyuka, n'atunuulira Peetero. Peetero n'ajjukira ekigambo kya Mukama waffe, bwe yamugambye nti Leero enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.
62 N'afuluma ebweru, n'akaaba nnyo amaziga.
63 N'abantu abaali bakutte Yesu ne bamuduulira nga bamukuba.
64 Ne bamubikka mu maaso, ne bamubuuza, nga bagamba nti Lagula: ani akukubye?
65 N'ebirala bingi ne babimwogerako nga bamuvuma.
66 Awo obudde bwe bwakya, abakadde b'abantu ne bakuŋŋaana, bakabona abakulu era n'abawandiisi; ne bamutwala mu lukiiko lwabwe, nga bagamba nti
67 Oba nga ggwe Kristo, tubuulire. Naye n'abagamba nti Ne bwe nnaababuulira, temukkirize n'akatono;
68 ne bwe nnaababuuza, temuddemu n'akatono.
69 Naye okusooka kaakano Omwana w'omuntu agenda kutuula ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi ga Katonda.
70 Bonna ne bagamba nti Kale ggwe oli Mwana wa Katonda? N'abagamba nti Nga bwe mwogedde nze nzuuyo.
71 Ne bagamba nti Twetaagira ki ate abajulirwa? Kubanga ffe twewuliridde okuva mu kamwa ke ye.