1 Bassekabaka
Essuula 8
Awo Sulemaani n'akuŋŋaanya abakadde ba Isiraeri n'emitwe gyonna egy'ebika, abakulu b'ennyumba za bakitaabwe ez'abaana ba Isiraeri, eri kabaka Sulemaani e Yerusaalemi, okulinnyisa essanduuko ey'endagaano ya Mukama nga bagiggya mu kibuga kya Dawudi, Sayuuni.
2 Abasajja bonna aba Isiraeri ne bakuŋŋaanira eri kabaka Sulemaani ku mbaga, mu mwezi Esanimu, gwe mwezi ogw'omusanvu.
3 Abakadde bonna aba Isiraeri ne bajja, bakabona ne basitula essanduuko.
4 Ne balinnyisa essanduuko ya Mukama, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ebintu byonna ebitukuvu ebyali mu Weema; ebyo bakabona n'Abaleevi bye baalinnyisa.
5 Kabaka Sulemaani n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri abaali bakuŋŋaanidde gy'ali baali wamu naye mu maaso g'essanduuko, nga bawaayo endiga n'ente ezitabalika newakubadde okugattika olw'obungi.
6 Bakabona ne bayingiza essanduuko ey'endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, awayimibwa mu nnyumba okwogera, mu kifo ekitukuvu ennyo, wansi w'ebiwawaatiro bya bakerubi.
7 Kubanga bakerubi baabamba ebiwawaatiro byabwe ku kifo ky'essanduuko, bakerubi ne babikka ku ssanduuko n'emisituliro gyayo waggulu.
8 Era emisituliro gyali miwanvu bwe gityo emisa gy'emisituliro n'okulaba n'agiraba ayima mu kifo ekitukuvu mu maaso g'awayimibwa okwogera; naye ayima ebweru nga tagiraba: era giri eyo ne leero.
9 Tewaali kintu mu ssanduuko wabula ebipande byombi eby'amayinja Musa bye yateekamu ku Kolebu, Mukama bwe yalagaana endagaano n'abaana ba Isiraeri, bwe baava mu nsi y'e Misiri.
10 Awo olwatuuka bakabona bwe baamala okuva mu kifo ekitukuvu, ekire ne kijjuza ennyumba ya Mukama,
11 bakabona n'okuyinza ne batayinza kuyimirira okuweereza olw'ekire: kubanga ekitiibwa kya Mukama nga kijjuzizza ennyumba ya Mukama.
12 Awo Sulemaani n'agamba nti Mukama yayogera ng'anaabeeranga mu kizikiza ekikutte.
13 Mazima nkuzimbidde ennyumba ey'okubeerangamu, ekifo ky'onootuulangamu emirembe gyonna.
14 Awo kabaka n'akyusa amaaso ge, n'asabira ekibiina kyonna ekya Isiraeri omukisa; ekibiina kyonna ekya Isiraeri ne kiyimirira.
15 N'ayogera nti Mukama yeebazibwe, Katonda wa Isiraeri, eyayogera n'akamwa ke ne Dawudi kitange, n'okutuukiriza akituukirizza n'omukono gwe, ng'ayogera nti
16 Okuva ku lunaku lwe nnaggirako abantu bange Isiraeri mu Misiri, seerobozanga kibuga kyonna mu bika byonna ebya Isiraeri okuzimba ennyumba, erinnya lyange libeerenga omwo; naye neeroboza Dawudi okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri.
17 Era kyali mu mutima gwa Dawudi kitange okuzimba ennyumba olw'erinnya lya Mukama, Katonda wa Isiraeri.
18 Naye Mukama n'agamba Dawudi kitange nti Kubanga kyali mu mutima gwo okuzimba ennyumba olw'erinnya lyange, wakola bulungi kubanga kyali mu mutima gwo:
19 era naye tolizimba nnyumba; naye mutabani wo aliva mu ntumbwe zo, oyo ye alizimba ennyumba olw'erinnya lyange.
20 Era Mukama anywezezza ekigambo kye kye yayogera; kubanga nze nnyimukidde mu kifo kya Dawudi kitange, nga ntudde ku ntebe ya Isiraeri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbye ennyumba olw'erinnya lya Mukama, Katonda wa Isiraeri.
21 Era ngeze omwo ekifo eky'essanduuko; omuli endagaano ya Mukama, gye yalagaana ne bajjajjaffe, bwe yabaggya mu nsi y'e Misiri.
22 Sulemaani n'ayimirira mu maaso g'ekyoto kya Mukama ekibiina kyonna ekya Isiraeri nga weebali, n'ayanjuluza emikono gye eri eggulu:
23 n'ayogera nti Ai Mukama, Katonda wa Isiraeri, tewali katonda akufaanana ggwe, mu ggulu waggulu newakubadde ku nsi wansi; akwata endagaano n'okusaasira eri abaddu bo, abatambulira mu maaso go n'omutima gwabwe gwonna:
24 eyakwata ekyo kye wamusuubiza eri omuddu wo Dawudi kitange: weewaawo, wayogera n'akamwa ko, n'okutuukiriza okituukirizza n'omukono gwo, nga bwe kiri leero.
25 Kale nno, ai Mukama, Katonda wa Isiraeri, kwata ekyo kye wasuubiza eri omuddu wo Dawudi kitange ng'oyogera nti Tewaakubulenga musajja mu maaso gange ow'okutuula ku ntebe ya Isiraeri; kyokka abaana bo bwe baneegenderezanga ekkubo lyabwe okutambuliranga mu maaso gange, nga ggwe bwe watambuliranga mu maaso gange.
26 Kale nno; ai Katonda wa Isiraeri, ekigambo kyo kituukirizibwe, nkwegayiridde, kye wagamba omuddu wo Dawudi kitange.
27 Naye Katonda anaabeeranga ku nsi mazima ddala? laba, eggulu n'eggulu ly'eggulu teriyinza kukugyamu: kale ennyumba eno gye nzimbye nga teriyinza n'akatono!
28 Naye ssaayo omwoyo gwo eri okusaba kw'omuddu wo, n'eri okwegayirira kwe, ai Mukama Katonda wange, okuwulira okukaaba n'okusaba omuddu wo kw'asabira mu maaso go leero;
29 amaaso go gazibukenga eri ennyumba eno emisana n'ekiro, eri ekifo kye wayogerako nti Erinnya lyange linaabeeranga omwo: okuwulira okusaba omuddu wo kw'anaasabanga ng'atunuulira ekifo kino.
30 Era wulira ggwe okwegayirira kw'omuddu wo, n'abantu bo Isiraeri, bwe banaasabanga nga batunuulira ekifo kino: weewaawo, wulira ggwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeerangamu; era bw'owulira sonyiwa.
31 Omuntu bw'anaayonoonanga munne, ne bamussaako ekirayiro okumulayiza, n'ajja n'alayirira mu maaso g'ekyoto kyo mu nnyumba eno;
32 kale owuliranga ng'oyima mu ggulu, okole osalire abaddu bo omusango, okusinga ababi okuleeta ekkubo lye ku mutwe gwe ye; era ng'owa abatuukirivu obutuukirivu, okumuwa ng'obutuukirivu bwe bwe buli.
33 Abantu bo Isiraeri bwe banaakubibwanga ne bagwa wansi mu maaso g'abalabe, kubanga bakwonoonye; bwe banaakukyukiranga nate ne baatula erinnya lyo ne basaba ne bakwegayirira mu nnyumba eno:
34 kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, osonyiwe ekibi ky'abantu bo Isiraeri, obakomyewo mu nsi gye wawa bajjajjaabwe.
35 Eggulu bwe linaggalwangawo, so nga tewali nkuba, kubanga bakwonoonye; bwe banaasabanga nga batunuulira ekifo kino ne baatula erinnya lyo ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe, bw'obabonyaabonyanga;
36 kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu osonyiwe ekibi ky'abaddu bo n'abantu bo Isiraeri, bw'obayigiriza ekkubo eddungi lye baba batambuliramu; oweereze enkuba ku nsi yo gye wawa abantu bo okuba obusika.
37 Bwe wanaabanga mu nsi enjala, bwe wanaabanga kawumpuli, bwe wanaabanga okugengewala oba bukuku, enzige oba kawuka; abalabe baabwe bwe banaabazingizanga mu nsi ey'ebibuga byabwe; kawumpuli ne bw'anaafaanananga atya, n'endwadde ne bw'eneefaanananga etya;
38 kyonna kyonna omuntu yenna ky'anaasabanga era kyonna ky'aneegayiriranga, oba abantu bo bonna Isiraeri, abalimanya buli muntu endwadde ey'omu mutima gwe ye, n'ayanjuluza emikono gye eri ennyumba eno:
39 kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeerangamu osonyiwe okole osasule buli muntu ng'amakubo ge gonna bwe gali, gw'omanyiiko omutima gwe; (kubanga ggwe, ggwe wekka, ggwe omanyi emitima gy'abaana b'abantu bonna:)
40 balyoke bakutye ennaku zonna ze banaamalanga mu nsi gye wawa bajjajjaffe.
41 Era eby'omunnaggwanga atali wa mu bantu bo Isiraeri, bw'anaavanga mu nsi ey'ewala olw'erinnya lyo;
42 (kubanga baliwulira eby'erinnya lyo ekkulu n'engalo zo ez'amaanyi n'omukono gwo ogwagololwa;) bw'anajjanga n'asaba ng'atunuulira ennyumba eno;
43 owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeerangamu okole nga byonna bwe biri omunnaggwanga by'akukaabira; amawanga gonna ag'oku nsi balyoke bamanye erinnya lyo, okukutya ng'abantu bo Isiraeri bwe bakutya, era bamanye ng'ennyumba eno gye nzimbye etuumiddwa erinnya lyo.
44 Abantu bo bwe banaatabaalanga abalabe baabwe mu kkubo lyonna ly'onoobatumanga ne basaba Mukama nga batunuulira ekibuga kye weeroboza n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo:
45 kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe owoze ensonga yaabwe.
46 Bwe banaakwonoonanga (kubanga tewali muntu atayonoonanga) n'obasunguwalira n'obagabula eri abalabe n'okutwala ne babatwala nga basibe mu nsi ey'abalabe oba wala oba kumpi;
47 naye bwe banajjuukiriranga mu nsi gye baatwalibwa nga basibe ne bakyuka ne bakwegayiririra mu nsi y'abo abaabatwala nga basibe nga boogera nti Twayonoona ne tukola eby'obubambaavu, twagira ekyejo;
48 bwe banaakomangawo gy'oli n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna mu nsi y'abalabe baabwe abaabatwala nga basibe, ne bakusaba nga batunuulira ensi yaabwe gye wawa bajjajjaabwe, ekibuga kye weeroboza n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo;
49 kale owuliranga ggwe okusaba kwabwe n'okwegayirira kwabwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeerangamu owoze ensonga yaabwe;
50 osonyiwe abantu bo abakwonoonye n'okusobya kwabwe kwonna kwe bakusobya; obawe okusaasirwa mu maaso g'abo abaabatwala nga basibe, babasaasire:
51 kubanga be bantu bo era bwe busika bwo bwe waggya mu Misiri, wakati mu kikoomi eky'ekyuma;
52 amaaso go gazibukenga eri okwegayirira kw'omuddu wo n'eri okwegayirira kw'abantu bo Isiraeri okubawuliranga buli bwe banaakukaabiranga.
53 Kubanga wabaawula mu mawanga gonna ag'oku nsi okuba obusika bwo, nga bwe wayogera n'omukono gwa Musa omuddu wo, bwe waggya bajjajjaffe mu Misiri, ai Mukama Katonda.
54 Awo olwatuuka Sulemaani bwe yamala okusaba ebyo byonna n'okwegayirira eri Mukama, n'agolokoka n'ava mu maaso g'ekyoto kya Mukama n'ava ku maviivi ge ge yali afukamiddeko, ng'ayanjuluzizza engalo ze eri eggulu.
55 N'ayimirira n'asabira ekibiina kyonna ekya Isiraeri omukisa n'eddoboozi ddene ng'ayogera nti
56 Mukama yeebazibwe awadde abantu be Isiraeri okuwummula, nga byonna bwe biri bye yasuubiza; tewali kigambo na kimu kibuze ku birungi bye yasuubiza n'omukono gwa Musa omuddu we.
57 Mukama Katonda waffe abeerenga naffe nga bwe yabanga ne bajjajjaffe; aleme okutuleka newakubadde okutwabulira:
58 alyoke akyuse emitima gyaffe gy'ali okutambuliranga mu makubo ge gonna n'okukwatanga ebiragiro bye n'amateeka ge n'emisango gye bye yalagira bajjajjaffe.
59 N'ebigambo byange bino bye nneegayiridde mu maaso ga Mukama bibeerenga kumpi Mukama Katonda waffe emisana n'ekiro, awoze ensonga y'omuddu we n'ensonga y'abantu be Isiraeri, nga buli lunaku bwe lunaayagalanga:
60 amawanga gonna ag'oku nsi bamanye nga Mukama ye Katonda; tewali mulala.
61 Kale omutima gwammwe gube mutuukirivu eri Mukama Katonda waffe okutambuliranga mu mateeka ge n'okukwatanga ebiragiro bye nga leero.
62 Awo kabaka ne Isiraeri yenna wamu naye ne bawaayo ssaddaaka mu maaso ga Mukama.
63 Sulemaani n'awaayo okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe gye yawaayo eri Mukama ente obukumi bubiri mu enkumi bbiri n'endiga kasiriivu mu obukumi bubiri. Bwe batyo kabaka n'abaana ba Isiraeri bonna ne bawonga ennyumba ya Mukama.
64 Ku lunaku olwo kabaka kwe yatukuliza wakati w'oluggya olwali mu maaso g'ennyumba ya Mukama; kubanga eyo gye yaweerayo ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta n'amasavu g'ebyo ebiweebwayo olw'emirembe; kubanga ekyoto eky'ekikomo ekyali mu maaso ga Mukama kyali kiyinze obutono ekiweebwayo ekyokebwa n'ekiweebwayo eky'obutta n'amasavu g'ebiweebwayo olw'emirembe ne bitagyako.
65 Awo Sulemaani n'afumba embaga eyo mu biro ebyo ne Isiraeri yenna wamu naye, ekibiina ekinene, okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga ak'e Misiri, mu maaso ga Mukama Katonda waffe, ennaku omusanvu n'ennaku omusanvu, ze nnaku ekkumi n'ennya.
66 Ku lunaku olw'omunaana n'asindika abantu, ne basabira kabaka omukisa, ne bagenda mu weema zaabwe nga basanyuka era nga bajaguza mu mitima gyabwe olw'obulungi bwonna Mukama bwe yali alaze Dawudi omuddu we ne Isiraeri abantu be.