1 Bassekabaka
Essuula 12
Lekobowaamu n'agenda e Sekemu: kubanga Isiraeri yenna baali bazze e Sekemu akumufuula kabaka.
2 Awo olwatuuka Yerobowaamu mutabani wa Nebati bwe Yakiwulira; (kubanga yali akyali mu Misiri gye yali addukidde okuva eri kabaka Sulemaani, era Yerobowaamu n'atuula mu Misiri),
3 ne batuma ne bamuyita; awo Yerobowaamu n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri ne bajja ne boogera ne Lekobowaamu nti
4 Kitaawo yafuula ekikoligo kyaffe okuba ekizito: kale nno wewula ggwe okuweereza okuzibu okwa kitaawo n'ekikoligo kye ekizito kye yatuteekako, naffe tulikuweereza.
5 N'abagamba nti Mugende mumale ennaku ssatu nate, mulyoke mujje gye ndi nate. Abantu ne bagenda.
6 Kabaka Lekobowaamu n'ateesa ebigambo n'abakadde abaayimiriranga mu maaso ga Sulemaani kitaawe bwe yali ng'akyali mulamu ng'ayogera nti Magezi ki ge mumpa okubaddamu abantu bano?
7 Ne bamugamba nti Bw'onooyagala okuba omuddu eri abantu bano leero n'oyagala okubaweereza n'obaddamu n'obagamba ebigambo ebirungi, kale bo banaabanga abaddu bo ennaku zonna.
8 Naye n'aleka amagezi g'abakadde ge baamuwa, n'ateesa n'abalenzi abaakulira awamu naye abaayimirira mu maaso ge.
9 N'abagamba nti Magezi ki ge mumpa mmwe tubaddemu abantu bano abaŋŋambye nti Wewula ekikoligo kitaawo kye yatuteekako?
10 Awo abalenzi abaakulira awamu naye ne bamugamba nti Bw'otyo bw'oba ogamba abantu bano abakugambye nti Kitaawo yafuula ekikoligo kyaffe okuba ekizito, naye ggwe kiwewule gye tuli; bw'otyo bw'oba obagamba nti Nasswi wange asinga obunene ekiwato kya kitange.
11 Era nno kubanga kitange yababinika ekikoligo ekizito, nze ndyongera ku kikoligo kyammwe: kitange yabakangavvula na nkoba, naye nze ndibakangavvula na njaba ez'obusagwa.
12 Awo Yerobowaamu n'abantu bonna ne bajja eri Lekobowaamu ku lunaku olw'okusatu, nga kabaka bwe yalagira, ng'ayogera nti Mujjanga gye ndi nate ku lunaku olw'okusatu.
13 Awo kabaka n'addamu abantu n'ebboggo, n'aleka okuteesa kw'abakadde kwe baamuwa;
14 n'abagamba ng'okuteesa kw'abalenzi bwe kwali, ng'ayogera nti Kitange yafuula ekikoligo kyammwe ekizito, naye nze ndyongera ku kikoligo kyammwe: kitange yabakangavvula na nkoba, naye nze ndibakangavvula na njaba ez'obusagwa.
15 Awo kabaka n'atawulira bantu; kubanga kyali kigambo Mukama kye yaleeta anyweeze ekigambo kye Mukama kye yagamba Yerobowaamu mutabani wa Nebati mu mukono gwa Akiya Omusiiro.
16 Awo Isiraeri yenna bwe baalaba nga kabaka tabawulira, abantu ne baddamu kabaka nga boogera nii Mugabo ki gwe tulina mu Dawudi? so tetulina busika mu mutabani wa Yese: mudde mu weema zammwe, ai Isiraeri: labirira nno ennyumba yo ggwe, Dawudi. Awo Isiraeri ne bagenda mu weema zaabwe.
17 Naye abaana ba Isiraeri abaabeera mu bibuga bya Yuda, abo Lekobowaamu n'abafuga.
18 Awo kabaka Lekobowaamu n'atuma Adolamu eyali omukulu w'omusolo; Isiraeri yenna ne bamukasuukirira amayinja n'okufa n'afa. Kabaka n'ayanguwa okulinnya mu ggaali ye okuddukira mu Yerusaalemi.
19 Bwe batyo Isiraeri ne bajeemera ennyumba ya Dawudi ne leero.
20 Awo olwatuuka Isiraeri yenna bwe baawulira nga Yerobowaamu akomyewo, ne batuma ne bamuyita okujja eri ekibiina, ne bamufuula kabaka wa Isiraeri yenna: tewaali eyagoberera ennyumba ya Dawudi wabula ekika kya Yuda kyokka.
21 Awo Lekobowaamu bwe yatuuka e Yerusaalemi, n'akuŋŋaanya ennyumba yonna eya Yuda n'ekika kya Benyamini, abasajja abalonde kasiriivu mu obukumi munaana, abalwanyi, okulwana n'ennyumba ya Isiraeri, okumuddiza nate obwakabaka Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani.
22 Naye ekigambo kya Katonda ne kijjira Semaaya omusajja wa Katonda nga kyogera nti
23 Gamba Lekobowaamu mutabani wa Sulemaani kabaka wa Yuda n'ennyumba yonna eya Yuda ne Benyamini n'abantu bonna abalala nti
24 Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Temwambuka so temulwana ne baganda bammwe abaana ba Isiraeri: muddeeyo buli muntu mu nnyumba ye; kubanga ekigambo kino kyava gye ndi. Awo ne bawulira ekigambo kya Mukama ne baddayo ne bagenda ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali.
25 Awo Yerobowaamu n'azimba Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, n'abeera omwo; n'ava omwo n'azimba Penueri.
26 Yerobowaamu n'ayogerera mu mutima gwe nti Kaakano obwakabaka bunadda eri ennyumba ya Dawudi:
27 abantu bano bwe banaayambukanga okuweerayo ssaddaaka mu nnyumba ya Mukama mu Yerusaalemi, kale omutima gw'abantu bano gulikyukira nate mukama waabwe, Lekobowaamu kabaka wa Yuda; kale balinzita nze, ne baddayo eri Lekobowaamu kabaka wa Yuda.
28 Awo kabaka n'alyoka ateesa ebigambo, n'akola ennyana bbiri za zaabu: n'abagamba nti Kinaabalemanga okwambukanga e Yerusaalemi; laba bakatonda bo, ai Isiraeri, abaakuggya mu nsi y'e Misiri.
29 Naateeka emu mu Beseri ne ginnaayo naagiteeka mu Ddaani.
30 N'ekigambo ekyo ne kiba ekibi: kubanga abantu baagendanga okusinziza mu maaso g'emu nga bagenda e Ddaani.
31 N'azimba ennyumba ez'ebifo ebigulumivu, n'assaawo bakabona ng'abaggya mu bantu bonna abatali ba ku baana ba Leevi.
32 Era Yerobowaamu n'assaawo embaga mu mwezi ogw'omunaana ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi n'ettaano okufaanana embaga eri mu Yuda, n'alinnya eri ekyoto; bw'atyo bwe yakolera mu Beseri ng'awaayo ssaddaaka eri ennyana ze yakola: n'ateeka mu Beseri bakabona b'ebifo ebigulumivu be yassaawo.
33 N'alinnya eri ekyoto kye yali azimbye mu Beseri ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omunaana, gwe mwezi gwe yagunja mu mutima gwe ye; n'assaawo embaga eri abaana ba Isiraeri, n'alinnya eri ekyoto okwoteza obubaane.