1 Bassekabaka
Essuula 6
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'ebina mu kinaana abaana ba Isiraeri nga bamaze okuva mu nsi y'e Misiri, mu mwaka ogw'okuna Sulemaani kasookedde afuga Isiraeri, mu mwezi Zivu gwe mwezi ogw'okubiri, n'atanula okuzimba ennyumba ya Mukama.
2 N'ennyumba kabaka Sulemaani gye yazimbira Mukama, obuwanvu bwayo bwali emikono nkaaga, n'obugazi bwayo emikono amakumi abiri, n'obugulumivu bwayo emikono amakumi asatu.
3 N'ekisasi ekiri mu maaso ga yeekaalu y'ennyumba, obuwanvu bwakyo bwali emikono amakumi abiri, ng'obugazi bw'ennyumba bwe bwali: obugazi bwakyo mu maaso g'ennyumba bwali emikono kkumi.
4 N'akola mu nnyumba amadirisa ag'omulimu omuluke obutabikkulwa.
5 Ne ku kisenge ky'ennyumba n'azimbako enju okwetooloola, ku bisenge by'ennyumba okwetooloola, ebya yeekaalu era n'eby'awayimibwa okwogera; n'akolawo ebisenge eby'oku bbali okwetooloola:
6 enju eya wansi obugazi bwayo emikono etaano, n'eya wakati obugazi bwayo emikono mukaaga, n'ey'okusatu obugazi bwayo emikono musanvu: kubanga ku kisenge ky'ennyumba ebweru okwetooloola yasalako emiti gireme okukwata mu kisenge ky'ennyumba.
7 N'ennyumba bwe baali bagizimba yazimbibwa n'amayinja agalongoosezzwa gye bagabajjira: so tewaali nnyondo newakubadde embazzi newakubadde ekintu kyonna eky'ekyuma ekyawulirwa mu nnyumba bwe baali bagizimba.
8 Oluggi olw'ebisenge eby'oku bbali ebya wakati lwali ku luuyi olwa ddyo olw'ennyumba: ne balinnyiranga ku madaala ageenyoolanyoola okugenda mu bisenge ebya wakati, ne bava mu bya wakati ne bagenda mu by'okusatu.
9 Bw'atyo bwe yazimba ennyumba, n'agimala; ennyumba n'agibikkako emiti n'embaawo ez'emivule.
10 Ennyumba yonna n'agizimbako enju, buli nju obugulumivu bwayo emikono etaano: ne zeesigama ku nnyumba n'emiti gy'emivule.
11 Ekigambo kya Mukama ne kijjira Sulemaani nga kyogera nti
12 Eby'ennyumba eno gy'ozimba, bw'onootambuliranga mu mateeka gange n'otuukiriza emisango gyange, n'okwata ebiragiro byange byonna okubitambulirangamu: kale naanywezanga ekigambo kyange naawe, kye nnagamba Dawudi kitaawo
13 Era naabeeranga mu baana ba Isiraeri, so siirekenga bantu bange Isiraeri.
14 Awo Sulemaani n'azimba ennyumba n'agimala.
15 N'azimba ebisenge by'ennyumba munda n'emiti gy'emivule; okuva wansi w'ennyumba okutuuka ku bisenge eby'omu kasolya, n'abibikkako munda emiti: ne wansi w'ennyumba n'ayaliirawo embaawo ez'emiberosi.
16 N'azimba emikono abiri mu njuyi ez'ennyumba ez'ennyuma n’embaawo ez'emivule okuva wansi okutuuka ku bisenge: yazimba mu yo munda okuba awayimibwa okwogera okuba awatukuvu ennyo.
17 N'ennyumba ya yeekaalu eri mu maaso g'awayimibwa okwogera, obuwanvu bwayo bwali mikono amakumi ana.
18 Ne ku nnyumba munda kwaliko emivule egyayolebwako entaabwa n'ebimuli ebyanjulukuse: byonna byali bya mivule: tewaali jjinja eryalabika.
19 N'ategeka awayimibwa okwogera wakati mu nnyumba munda, okuteekamu essanduuko ey'endagaano ya Mukama.
20 Ne munda w'awayimibwa okwogera mwalimu ebbanga ery'emikono amakumi abiri obuwanvu, n'emikono amakumi abiri obugazi, n'emikono amakumi abiri obugulumivu bwalyo: n'abikkako zaabu ennongoofu: ekyoto n'akibikkako emivule.
21 Awo Sulemaani n'abikka ku nnyumba munda ezaabu ennongoofu: n'atimba emikuufu egya zaabu mu maaso g'awayimibwa okwogera: n'abikkako zaabu.
22 Ennyumba yonna n'agibikkako ezaabu, okutuusa ennyumba yonna lwe yaggwa: era n'ekyoto kyonna eky'awayimibwa okwogera n'akibikkako ezaabu.
23 Era awayimibwa okwogera n'akolawo bakerubi babiri ab'emiti egy'emizeyituuni, buli kerubi obuwanvu bwe emikono kkumi.
24 N'ekiwawaatiro ekimu ekya kerubi kyali emikono etaano, n'ekiwawaatiro eky'okubiri ekya kerubi emikono etaano: ekiwawaatiro ekimu we kikoma, ne kinnaakyo we kikoma, ebbanga lyali emikono kkumi.
25 Ne kerubi ow'okubiri yali emikono kkumi: bakerubi bombi ekigero kyabwe kimu n'embala yaabwe emu.
26 Kerubi omu obugulumivu bwe bwali emikono kkumi, n'obwa kerubi ow'okubiri bwe butyo.
27 N'ateeka bakerubi mu nnyumba ey'omunda: n'ebiwawaatiro bya bakerubi byali bibambiddwa bwe bityo ekiwawaatiro ky'omu n'okukwata ne kikwata ku kisenge eruuyi, n'ekiwawaatiro kya kerubi ow'okubiri ne kikwata ku kisenge eruuyi; n'ebiwawaatiro byabwe ne bikwataganira wakati w'ennyumba.
28 Bakerubi n'ababikkako zaabu.
29 N'ayola ku bisenge byonna eby'ennyumba okwetooloola enjola eza bakerubi n'enkindu n'ebimuli ebyanjulukuse, munda n'ebweru.
30 Ne wansi w'ennyumba n'abikkako zaabu, munda n'ebweru.
31 N'awayingirirwa awayimibwa okwogera n'akolawo enzigi ez'emiti egy'emizeyituuni; akabuno n'emifuubeeto byali kitundu kya kutaano kya kisenge.
32 Awo n'akola enzigi bbiri ez'emiti egy'emizeyituuni; n'azoolako enjola bakerubi n'enkindu n'ebimuli ebyanjulukuse, n'azibikkako zaabu; n'ayaliira zaabu ku bakerubi ne ku nkindu.
33 Era bw'atyo n'akolera omuzigo ogwa wankaaki wa yeekaalu emifuubeeto gya mizeyituuni, ku kitundu ky'ekisenge eky'okuna;
34 n'enzigi bbiri za miberosi; embaawo zombi ez'oluggi olumu nga zikyuka, n'embaawo zombi ez'oluggi olw'okubiri nga zikyuka.
35 N'ayolako bakerubi n'enkindu n'ebimuli ebyanjulukuse: n'abibikkako zaabu eyanyigirizibwa ku mulimu ogw'enjola.
36 N'azimba oluggya olw'omunda n'embu ssatu ez'amayinja amabajje, n'olubu olw'emiti egy'emivule.
37 Ne bassaawo emisingi gy'ennyumba ya Mukama mu mwaka ogw'okuna, mu mwezi Zivu.
38 Ne mu mwaka ogw'ekkumi n'ogumu, mu mwezi Buli, gwe mwezi ogw'omunaana, ne bamala ennyumba mu bitundu byayo byonna, era ng'embala yaayo yonna bwe yali. Bw'atyo yamala emyaka musanvu okugizimba.