1 Bassekabaka
Essuula 7
Sulemaani n'amala emyaka kkumi n'esatu ng'azimba ennyumba ye ye, n'amala ennyumba ye yonna.
2 Kubanga yazimba ennyumba ey'ekibira kya Lebanooni: obuwanvu bwayo bwali emikono kikumi, n'obugazi bwayo emikono amakumi ataano, n'obugulumivu bwayo emikono amakumi asatu, ku mbu nnya ez'empagi ez'emivule, emiti egy'emivule nga ziri ku mpagi.
3 N'ebikkibwako waggulu emivule ku mikiikiro ana mu etaano egyali ku mpagi; buli lubu kkumi na ttaano.
4 Era waliwo embu ssatu ezitunuulirwamu, n'eddirisa nga lyolekera ddirisa linnaalyo mu nnyiriri ssatu.
5 Era emizigo gyonna n'emifuubeeto nga gyenkanankana okutunuulirwamu: n'eddirisa lyayolekera ddirisa linnaalyo mu nnyiriri ssatu.
6 N'akola ekisasi n’empagi: obuwanvu bwakyo bwali emikono amakumi ataano, n'obugazi bwakyo emikono amakumi asatu; ne mu maaso gaazo kisasi: ne mu maaso gaazo mpagi na miti minene.
7 N'akola ekisasi ky'entebe w'abanga ayima okusalanga emisango, kye kisasi eky'emisango: era kyabikkibwako emivule okuva wansi okutuuka ku buziizi.
8 N'ennyumba ye gye yabeerangamu, oluggya olulala munda w'ekisasi, yali ya mulimu gumu na guli. Era n'akolera muwala wa Falaawo ennyumba, (Sulemaani gwe yali afumbiddwa,) okufaanana ng'ekisasi ekyo.
9 Ezo zonna zaali za mayinja ga muwendo mungi, ga mayinja mabajje, nga bwe gagerebwa agasalibwa n'emisumeeno, munda n'ebweru, okuva ku musingi okutuuka ku mayinja aga waggulu, era bwe gatyo n'ebweru okutuuka ku luggya olukulu.
10 N'omusingi gwali gwa mayinja ga muwendo mungi, amayinja amanene, amayinja ag'emikono kkumi, n'amayinja ag'emikono munaana.
11 Ne waggulu waaliwo amayinja ag'omuwendo omungi, amayinja amabajje, nga bwe gagerebwa, n'emiti egy'emivule.
12 N'oluggya olukulu olwetoolodde lwalina embu ssatu ez'amayinja amabajje, n'olubu lw'emiti egy'emivule; ng'oluggya olw'omunda olw'ennyumba ya Mukama, n'ekisasi ky'ennyumba.
13 Awo kabaka Sulemaani n'atuma n'aggya Kiramu mu Ttuulo.
14 Yali mwana wa mukazi nnamwandu ow'omu kika kya Nafutaali, ne kitaawe yali musajja ow'e Ttuulo, omuweesi w'ebikomo; era yajjuzibwa amagezi n'okutegeera n'obukabakaba, okukola emirimu gyonna egy'ebikomo. N'ajja eri kabaka Sulemaani, n'akola omulimu gwe gwonna.
15 Kubanga yaweesa empagi zombi ez'ebikomo, buli mpagi obugulumivu bwayo emikono kkumi na munaana: n'omugwa ogw'emikono kkumi n'ebiri gwetooloola zombi kinneemu.
16 N'akola emitwe ebiri egy'ebikono ebisaanuuse, okugiteeka ku ntikko z'empagi: omutwe ogumu obugulumivu bwagwo bwali emikono etaano, n'omutwe ogw'okubiri obugulumivu bwagwo emikono etaano.
17 Waaliwo ebitimba eby'omulimu ogulukibwa, n'emiggo egy'omulimu ogw'emikuufu, okuba ku mitwe egyali ku ntikko z'empagi; omusanvu bya ku mutwe gumu, n'omusanvu bya ku mutwe ogw'okubiri.
18 Bw'atyo bwe yakola empagi: ne waba embu bbiri ez'okwetooloola ku kitimba ekimu, okubikka ku mitwe egyali ku ntikko z'empagi: era bw'atyo bwe yakola omutwe ogw'okubiri.
19 N'emitwe egyali ku ntikko z'empagi mu kisasi gyali gya mulimu gwa bimuli bya malanga emikono ena.
20 Era ne waggulu waaliwo emitwe ku mpagi zombi, kumpi n'olubuto olwaliraana ekitimba: n'amakomamawanga gaali ebikumi bibiri, mu mbu okwetooloola ku mutwe ogw'okubiri.
21 N'asimba empagi ku kisasi kya yeekaalu: n'asimba empagi eya ddyo, n'agituuma erinnya lyayo Yakini: n'asimba empagi eya kkono, n'agituuma erinnya lyayo Bowaazi.
22 Ne ku ntikko z'empagi kwaliko omulimu ogw'ebimuli eby'amalanga: bwe gutyo omulimu gw'empagi bwe gwamalibwa.
23 N'akola ennyanja ensaanuuse ya mikono kkumi okuva ku muggo okutuuka ku muggo, neekulungirivu, n'obugulumivu bwayo bwali emikono etaano: era omugwa ogw'emikono amakumi asatu gwagyetooloola.
24 Era wansi w'omuggo gwayo okwetooloola waaliwo entaabwa ezaagyetooloola, emikono kkumi, nga zeetooloola ennyanja enjuyi zonna: entaabwa zaali mbu bbiri, ezaasaanuusibwa yo bwe yasaanuusibwa.
25 Yatuula ku nte kkumi na bbiri, essatu nga zitunuulira obukiika obwa kkono, n'essatu nga zitunuulira obugwanjuba, n'essatu nga zitunuulira obukiika obwa ddyo, n'essatu nga zitunuulira obuvanjuba: ennyanja n'eteekebwa ku zo waggulu, amatako gaazo zonna nga gali munda.
26 N'obugazi bwayo luta; n'omuggo gwayo gwakolebwa ng'omuggo gw'ekibya, ng'ekimuli ky'amalanga: yagyamu ensuwa enkumi bbiri.
27 N'akola entebe ekkumi za bikomo; entebe emu obuwanvu bwayo emikono ena, n'obugazi bwayo emikono ena, n'obugulumivu bwayo emikono esatu.
28 N'omulimu gw'entebe gwali bwe guti: zaaliko enkulukumbi; ne waba enkulukumbi wakati w'amadaala:
29 ne ku nkulukumbi ezaali wakati w'amadaala ne kubaako empologoma n'ente ne bakerubi; ne ku madaala ne kubaako waggulu ekitereezebwako: ne wansi w'empologoma n'ente ne wabaawo emigo egy'omulimu oguleebeeta.
30 Na buli ntebe yaliko bannamuziga bana ab'ebikomo n'eby'omu nkata eby'ebikomo: n'ebigere byayo ebina byaliko emisituliro: wansi w'ekinaabirwamu waaliwo emisituliro egyasaanuusibwa, buli musituliro nga guliko emigo ku mbiriizi zaagwo.
31 N'akamwa kaayo munda w'omutwe ne waggulu gwali mukono gumu: n'akamwa kaayo kaali keekulungirivu ng'omulimu ogw'ekitereezebwako bwe guli, mukono ko ekitundu: era ku kamwa kaayo kwaliko enjola, n'enkulukumbi zaazo nga zeesonga obutaba n'ekulungirivu.
32 Ne bannamuziga abana baali wansi w'enkulukumbi; n'emikiikiro gya bannamuziga gyali mu ntebe: n'obugulumivu bwa nnamuziga mukono ko ekitundu ky'omukono.
33 N'omulimu gwa nnamuziga gwali ng'omulimu gwa nnamuziga w'eggaali: emikiikiro gyako ne bannamuziga baako n'amagulu gaako n'enkata zaako byonna byali bisaanuuse.
34 Era waaliwo emisituliro ena ku nsonda ennya eza buli ntebe: emisituliro gyako gyali gya ntebe yennyini.
35 Ne ku ntikko y'entebe kwaliko ekintu eky'ekulungirivu obugulumivu bwakyo kitundu kya mukono: ne ku ntikko y'entebe emikono gyako n'enkulukumbi zaako byali bwe bityo.
36 Ne ku bipande by'emikono gyako ne ku nkulukumbi zaako n'ayolako bakerubi n'empologoma n'enkindu, ng'ekigero bwe kyenkana ekya buli kinnakimu, emigo nga gyetooloola.
37 Bw'atyo bwe yakola entebe ekkumi: zonna baazisaanuusa bumu, n'ekigero kimu, n'embala emu.
38 N'akola ebinaabirwamu kkumi bya bikomo: ekinaabirwamu ekimu kyagyamu ensuwa amakumi ana: na buli kinaabirwamu kyali kya mikono ena: ne ku ntebe ekkumi kinneemu ne kubaako ekinaabirwamu ekimu.
39 N'ateeka entebe, ettaano ku luuyi lw'ennyumba olwa ddyo, n'ettaano ku luuyi lw'ennyumba olwa kkono : n'ateeka ennyanja ku luuyi lw'ennyumba olwa ddyo ebuvanjuba, okutunuulira obukiika obwa ddyo.
40 Kiramu n'akola ebinaabirwamu n'ebijiiko n'ebibya. Awo Kiramu n'amalira ddala omulimu gwonna gwe yakolera kabaka Sulemaani mu nnyumba ya Mukama:
41 empagi zombi n'ebibya byombi eby'emitwe egyali ku ntikko z'empagi; n'ebitimba byombi eby'okubikka ku bibya byombi eby'emitwe egyali ku ntikko z'empagi;
42 n'amakomamawanga ebikumi bina ag'okubitimba byombi; embu bbiri ez'amakomamawanga za ku buli kitimba, okubikka ku bibya byombi eby'emitwe egyali ku mpagi;
43 n'entebe ekkumi n'ebinaabirwamu ekkumi ebyali ku ntebe;
44 n'ennyanja emu n'ente ekkumi n'ebbiri ezaali wansi w'ennyanja;
45 n'entamu n'ebisena n'ebibya: ebintu ebyo byonna Kiramu bye yakolera kabaka Sulemaani mu nnyumba ya Mukama byali bya bikomo bizigule.
46 Mu lusenyi lwa Yoludaani kabaka gye yabisaanuusiza, awali ettaka ery'ebbumba wakati w'e Sukkosi ne Zalesani.
47 Sulemaani n'aleka ebintu byonna nga tabigeze, kubanga byali bingi nnyo nnyini: obuzito bw'ebikomo tebwategeerekeka.
48 Sulemaani n'akola ebintu byonna ebyali mu nnyumba ya Mukama: ekyoto ekya zaabu n'emmeeza okwabanga emigaati egy'okulaga, ya zaabu;
49 n'ebikondo, ku luuyi olwa ddyo bitaano, ne ku lwa kkono bitaano, mu maaso g'awayimibwa okwogera, bya zaabu nnongoofu; n'ebimuli n'eby'ettabaaza ne makaasi, bya zaabu;
50 n'ebikompe n'ebisalako ebisiriiza n'ebibya n'ebijiiko n'emmumbiro, bya zaabu nnongoofu; n'eŋŋango ez'enzigi z'ennyumba ey'omunda, kifo ekitukuvu ennyo, era n'ez'enzigi z'ennyumba, ya yeekaalu, za zaabu.
51 Bwe gutyo omulimu gwonna kabaka Sulemaani gwe yakola mu nnyumba ya Mukama ne guggwaawo. Sulemaani n'ayingiza ebintu Dawudi kitaawe bye yawonga, effeeza n'ezaabu n'ebintu, n'abiteeka mu mawanika g'ennyumba ya Mukama.