1 Bassekabaka
Essuula 22
Awo ne bamala emyaka esatu nga tewali bulwa eri Obusuuli ne Isiraeri.
2 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okusatu Yekosafaati kabaka wa Yuda n'aserengeta eri kabaka wa Isiraeri.
3 Awo kabaka wa Isiraeri n'agamba abaddu be nti Mumanyi nga Lamosugireyaadi kyaffe, naffe tusirika ne tutakiggya mu mukono gwa kabaka w’e Busuuli?
4 N'agamba Yekosafaati nti Onoogenda nange e Lamosugireyaadi okulwana? Awo Yekosafaati n'agamba kabaka wa Isiraeri nti Nze nninga ggwe bw'oli, abantu bange ng'abantu bo, embalaasi zange ng'embalaasi zo.
5 Awo Yekosafaati n'agamba kabaka wa Isiraeri nti Nkwegayiridde, buuza ekigambo kya Mukama leero.
6 Awo kabaka wa Isiraeri n'akuŋŋaanya bannabbi abasajja ng'ebikumi bina, n'abagamba nti Ntabaale e Lamosugireyaadi nantiki ndekeyo? Ne boogera nti Yambuka; kubanga Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka.
7 Naye Yekosafaati n'ayogera nti Tewali wano nate nnabbi wa Mukama, tumubuuze?
8 Kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Waliwo nate omusajja omu gwe tuyinza okubuulizaamu Mukama, Mikaaya mutabani wa Imula: naye mmukyawa; kubanga tandagulako birungi wabula ebibi. Yekosafaati n'ayogera nti Kabaka aleme okwogera bw'atyo.
9 Awo kabaka wa Isiraeri n'ayita omumbowa n'ayogera nti Yanguwa okime Mikaaya mutabani wa Imula.
10 Era kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne batuula buli muntu ku ntebe ye nga bambadde ebyambalo byabwe, mu mbuga eri ku mulyango gwa wankaaki w'e Samaliya; bannabbi bonna ne balagulira mu maaso gaabwe.
11 Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana ne yeekolera amayembe ag'ebyuma n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Olitomera Abasuuli na gano okutuusa lwe balimalibwawo.
12 Ne bannabbi bonna ne balaguIa bwe batyo, nga boogera nti Yambuka e Lamosugireyaadi olabe omukisa: kubanga Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka.
13 Awo omubaka eyagenda okuyita Mikaaya n'amugamba nti Laba nno, ebigambo bya bannabbi bibuulira kabaka ebirungi n'akamwa kamu: nkwegayiridde, ekigambo kyo kifaanane ekigambo ky'omu ku bo, oyogere ebirungi.
14 Awo Mikaaya n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu, Mukama ky'anaŋŋamba ekyo kye nnaayogera.
15 Awo bwe yajja eri kabaka, kabaka n'amugamba nti Mikaaya, tutabaale e Lamosugireyaadi nantiki tulekeyo? N'amuddamu nti Yambuka olabe omukisa; era Mukama alikigabula mu mukono gwa kabaka.
16 Awo kabaka n'amugamba nti Naakulayiza emirundi emeka oleme okumbuulira ekigambo n'ekimu wabula amazima mu linnya lya Mukama?
17 N'ayogera nti Ndabye Isiraeri yenna ng'asaasaanidde ku nsozi ng'endiga ezitalina musumba: Mukama n'ayogera nti Abo tebalina mukama waabwe; baddeyo buli muntu mu nnyumba ye mirembe.
18 Awo kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Sikugambye nga taalagule birungi eri nze wabula ebibi?
19 N'ayogera nti Kale wulira ekigambo kya Mukama: ndabye Mukama ng'atudde ku ntebe ye n'eggye lyonna ery'omu ggulu nga bayimiridde gy'ali ku mukono gwe ogwa ddyo ne ku gwa kkono.
20 Mukama n'ayogera nti Ani anaasendasenda Akabu ayambuke e Lamosugireyaadi agwe? Omu n'ayogera bw'atyo; omulala n'ayogera bw'atyo.
21 Awo ne wafuluma omuzimu ne guyimirira mu maaso ga Mukama ne gwogera nti Nze naamusendasenda.
22 Mukama n'agugamba nti Otya? Ne gwogera nti Naafuluma ne mbeera omuzimu ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi be bonna. Naayogera nti Ggwe onoomusendasenda n'okusobola onoosobola: fuluma okole bw'otyo.
23 Kale nno, laba, Mukama atadde omuzimu ogw'obulimba mu kamwa ka bannabbi bo bano bonna: era Mukama akwogeddeko akabi.
24 Awo Zeddekiya mutabani wa Kenaana n'asembera n'akuba Mikaaya oluyi, n'ayogera nti Omwoyo gwa Mukama gwampitako gutya okwogera naawe?
25 Mikaaya n'ayogera nti Laba, oliraba ku lunaku olwo bw'oliyingira mu kisenge eky'omunda okwekweka.
26 Awo kabaka wa Isiraeri n'ayogera nti Mutwale Mikaaya mumuzze eri Amoni omukulu w'ekibuga n'eri Yowaasi mutabani wa kabaka;
27 mwogere nti Bw'atyo bw'ayogera kabaka nti Olusajja luno muluteeke mu kkomera mululiisenga emmere ey'okulaba ennaku n'amazzi ag'okulaba ennaku, okutuusa lwe ndikomawo emirembe.
28 Awo Mikaaya n'ayogera nti Okukomawo bw'olikomawo emirembe, Mukama nga tayogeredde mu nze. N'ayogera nti Muwulire, mmwe amawanga mwenna.
29 Awo kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati kabaka wa Yuda ne bambuka e Lamosugireyaadi.
30 Kabaka wa Isiraeri n'agamba Yekosafaati nti Neefuula ne nnyingira mu lutalo; naye ggwe yambala ebyambalo byo. Awo kabaka wa Isiraeri ne yeefuula n'ayingira mu lutalo.
31 Awo kabaka w'e Busuuli yali alagidde abaami amakumi asatu mu babiri ab'amagaali ge ng'ayogera nti Temulwana na bato newakubadde abakulu, wabula kabaka wa Isiraeri yekka.
32 Awo olwatuuka abaami b'amagaali bwe baalaba Yekosafaati ne boogera nti Mazima ye kabaka wa Isiraeri; ne bakyama okulwana naye: Yekosafaati n'ayogerera waggulu.
33 Awo olwatuuka abaami b'amagaali bwe baalaba nga si ye kabaka wa Isiraeri, awo ne bakoma okumugoberera.
34 Awo ne wabaawo omuntu eyanaanuula omutego gwe nga tagenderedde n'alasa kabaka wa Isiraeri ebyambalo bye eby'ebyuma we bigattira: kyeyava agamba omugoba w'eggaali lye nti Kyusa omukono gwo onziye mu ggye; kubanga nfumitiddwa nnyo.
35 Olutalo ne lweyongera ku lunaku olwo: kabaka ne bamukwatirira mu ggaali lye okulwana n'Abasuuli, n'afa akawungeezi: omusaayi ne guva mu kiwundu ne gukulukutira munda w'eggaali.
36 Awo ne waba okulangirwa mu ggye lyonna enjuba ng'eyagala okugwa nga boogera nti Buli muntu adde mu kibuga ky'ewaabwe, era buli muntu adde mu nsi y'ewaabwe.
37 Awo kabaka n'afa n'aleetebwa e Samaliya; ne baziika kabaka mu Samaliya.
38 Ne booleza eggaali awali ekidiba eky'e Samaliya; embwa ne zikomba omusaayi gwe; (era abenzi baanaabiranga eyo;) ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera.
39 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Akabu ne byonna bye yakola n'ennyumba ey'amasanga gye yazimba n'ebibuga byonna bye yazimba tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
40 Awo Akabu ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; Akaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye.
41 Awo Yekosafaati mutabani wa Asa n'atanula okufuga Yuda mu mwaka ogw'okuna ogwa Akabu kabaka wa Isiraeri.
42 Yekosafaati yali yaakamaze emyaka amakumi asatu mu etaano bwe yalya obwakabaka: n'afugira emyaka amakumi abiri mu etaano mu Yerusaalemi. Ne nnyina erinnya lye lyali Azuba muwala wa Siruki.
43 Awo n'atambuliranga mu kkubo lyonna erya Asa kitaawe; n'atakyama okulivaamu, ng'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi: naye ebifo ebigulumivu tebyaggibwawo; abantu nga bakyaweerayo ssaddaaka ne bootereza obubaane mu bifo ebigulumivu.
44 Era Yekosafaati n'atabagana ne kabaka wa Isiraeri.
45 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekosafaati n'amaanyi ge ge yalaga era bwe yalwana tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Yuda?
46 N'abaalyanga ebisiyaga abaasigalawo ku mirembe gya kitaawe Asa n'abaggya mu nsi.
47 Awo nga tewali kabaka mu Edomu: omusigire nga ye kabaka.
48 Yekosafaati n'asiba malikebu ez'e Talusiisi ez'okugenda e Ofiri okukimayo ezaabu: naye ne zitagenda; kubanga malikebu zaamenyekera e Ezyonigeba.
49 Awo Akaziya mutabani wa Akabu n'agamba Yekosafaati nti Abaddu bange bagende n'abaddu bo mu malikebu. Naye Yekosafaati n'atakkiriza.
50 Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi jjajjaawe: awo Yekolaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye.
51 Akaziya mutabani wa Akabu n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya mu mwaka ogw'ekkumi n'omusanvu ogwa Yekosafaati kabaka wa Yuda n'afugira Isiraeri emyaka ebiri.
52 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'atambulira mu kkubo lya kitaawe ne mu kkubo lya nnyina ne mu kkubo lya Yerobowaamu mutabani wa Nebati mwe yayonoonyesa Isiraeri.
53 N'aweereza Baali n'amusinza n'asunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri nga byonna bwe byali kitaawe bye yakola.