1 Bassekabaka
Essuula 16
Awo ekigambo kya Mukama ne kimujjira Yeeku mutabani wa Kanani ku Baasa nga kyogera
2 nti Kubanga nakugulumiza nga nkuggya mu nfuufu ne nkufuula omukulu w'abantu bange Isiraeri; naawe otambulidde mu kkubo lya Yerobowaamu n’oyonoonyesa abantu bange Isiraeri okunsunguwaza n'ebibi byabwe;
3 laba, ndiggirawo ddala Baasa n'ennyumba ye: era ndifuula ennyumba yo okufaanana ennyumba ya Yerobowaamu mutabani wa Nebati.
4 Owa Baasa anaafiiranga mu kibuga embwa zinaamulyanga; n'ow'oku babe anaafiiranga ku ttale ennyonyi ez'omu bbanga zinaamulyanga.
5 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Baasa ne bye yakola n'amaanyi ge tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
6 Baasa ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa e Tiruza: Era mutabani we n'afuga mu kifo kye.
7 Era nate ekigambo kya Mukama ne kijja ku Baasa mu mukono gwa nnabbi Yeeku mutabani wa Kanani ne ku nnyumba ye olw'ebibi byonna bye yakola mu maaso ga Mukama okumusunguwaza n'omulimu gw'emikono gye ng'afaanana ennyumba ya Yerobowaamu era kubanga yamukuba.
8 Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu mukaaga ogwa Asa kabaka wa Yuda Era mutabani wa Baasa n'atanula okufugira Isiraeri e Tiruza n'afugira emyaka ebiri.
9 Awo omuddu we Zimuli omukulu w'ekitundu ky'amagaali ge n'amwekobaana: era yali ali e Tiruza ng'anywa omwenge ng'atamiirira mu nnyumba ya Aluza eyali saabakaaki mu Tiruza:
10 Zimuli n'ayingira n'amufumita n'amutta mu mwaka ogw'amakumi abiri mu musanvu ogwa Asa kabaka wa Yuda, n'afuga mu kifo kye.
11 Awo olwatuuka bwe yatanula okufuga, nga kyajje atuule ku ntebe ye, awo n'atta ennyumba yonna eya Baasa: teyamusigaliza mwana wa bulenzi, newakubadde ku nda ze newakubadde ku mikwano gye.
12 Bw'atyo Zimuli bwe yazikiriza ennyumba yonna eya Baasa ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera ku Baasa mu Yeeku nnabbi,
13 olw'ebibi byonna ebya Baasa, n'ebibi bya Era mutabani we bye bayonoona era bye bayonoonyesa Isiraeri, okusunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri n'ebirerya byabwe.
14 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Era ne byonna bye yakola tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
15 Mu mwaka ogw'amakumi abiri mu musanvu ogwa Asa kabaka wa Yuda Zimuli n'afugira ennaku musanvu e Tiruza. Era abantu baali basiisidde okulwana ne Gibbesoni eky'Abafirisuuti.
16 Awo abantu abaali basiisidde ne bawulira nga boogera nti Zimuli yeekobaanye era asse kabaka: Isiraeri yenna kyebaava bafuula Omuli omukulu w'eggye okuba kabaka wa Isiraeri ku lunaku olwo mu lusiisira.
17 Omuli n'ayambuka ng'ava e Gibbesoni ne Isiraeri yenna wamu naye, ne bazingiza Tiruza.
18 Awo olwatuuka Zimuli bwe yalaba ng'ekibuga kimenyeddwa, n'ayingira mu kifo eky'ennyumba ya kabaka, ne yeeyokerera n'omuliro mu nnyumba ya kabaka n'afa,
19 olw'ebibi bye bye yayonoona ng'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi ng'atambulira mu kkubo lya Yerobowaamu ne mu kibi kye kye yakola okwonoonyesa Isiraeri.
20 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Zimuli n'obujeemu bwe bwe yajeema tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
21 Awo abantu ba Isiraeri ne baawulibwamu ebibiina bibiri: ekitundu ky'abantu nga bagoberera Tibuni mutabani wa Ginasi okumufuula kabaka; n'ekitundu nga bagoberera Omuli.
22 Naye abantu abaagoberera Omuli ne basinga abantu abaagoberera Tibuni mutabani wa Ginasi: awo Tibuni n'afa, Omuli n'alya obwakabaka.
23 Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu gumu ogwa Asa kabaka wa Yuda Omuli n'atanula okufuga Isiraeri n'afugira emyaka kkumi n'ebiri: yafugira emyaka mukaaga e Tiruza.
24 N'agula olusozi Samaliya eri Semeri ne talanta bbiri za ffeeza; n'azimba ku lusozi n'atuuma ekibuga kye yazimba erinnya ng'erinnya bwe lyali erya Semeri nnyini lusozi Samaliya.
25 Omuli n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'agira ekyejo okusinga bonna abaamusooka.
26 Kubanga yatambulira mu kkubo lyonna erya Yerobowaamu mutabani wa Nebati ne mu bibi bye bye yayonoonyesa Isiraeri okusunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri n’ebirerya byabwe.
27 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Omuli bye yakola n'amaanyi ge ge yalaga tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
28 Awo Omuli ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu Samaliya: Akabu mutabani we n'afuga mu kifo kye.
29 Awo mu mwaka ogw'amakumi asatu mu munaana ogwa Asa kabaka wa Yuda Akabu mutabani wa Omuli n'atanula okufuga Isiraeri: Akabu mutabani wa Omuli n'afugira Isiraeri mu Samaliya emyaka amakumi abiri mu ebiri.
30 Era Akabu mutabani wa Imuli n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi okusinga bonna abaamusooka.
31 Awo olwatuuka, ng'akiyita kigambo kitono okutambulira mu bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, n'awasa Yezeberi muwala wa Esubaali kabaka w'Abasidoni, n'agenda n'aweereza Baali n'amusinza.
32 Era yasimbira Baali ekyoto mu ssabo lya Baali lye yazimba mu Samaliya.
33 Akabu n'akola Baaseri; Akabu ne yeeyongera nate okukola eby'okusunguwaza Mukama Katonda wa Isiraeri okusinga bakabaka bonna aba Isiraeri abaamusooka.
34 Ku mirembe gye Kyeri Omubeseri n'azimba Yeriko: yassaawo emisingi gyakyo n'okufiirwa Abiraamu omubereberye we, n'asimba enzigi zaakyo n'okufiirwa mutabani we omuto Segubi, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yayogera n'omukono gwa Yoswa mutabani wa Nuni.