1 Bassekabaka

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22

  • 1 Bassekabaka - Essuula 20
0:00
0:00

Essuula 20

Awo Benikadadi kabaka w’e Busuuli n'akuŋŋaanya eggye lye lyonna: ne waba wamu naye bakabaka amakumi asatu mu babiri n'embalassi n'amagaali: n'ayambuka n'azingiza Samaliya n'alwana nakyo.
2 N'atumira Akabu kabaka wa Isiraeri ababaka mu kibuga, n'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Benikadadi nti
3 Effeeza yo n'ezaabu yo yange; ne bakazi bo nabo n'abaana bo, abasinga obulungi, bange.
4 Awo kabaka wa Isiraeri n'addamu n'ayogera nti Kiri ng'ekigambo kyo, mukama wange, ai kabaka; nze wuwo ne byonna bye nnina.
5 Awo ababaka ne bakomawo ne boogera nti Bw'atyo bw'ayogera Benikadadi nti Okutuma nakutumira nga njogera nti Oliwaayo gye ndi effeeza yo n'ezaabu yo ne bakazi bo n'abaana bo;
6 naye ndikutumira abaddu bange enkya bwe buliba nga kampegaano, kale balikebera ennyumba yo n'ennyumba z'abaddu bo; awo olulituuka kyonna kyonna ekisanyusa amaaso go balikiteeka mu mukono gwabwe ne bakitwala.
7 Awo kabaka wa Isiraeri n'ayita abakadde bonna ab'ensi, n'ayogera nti Mutegeere, mbeegayiridde, mulabe omusajja ono bw'alina ky'atwagaza: kubanga yantumira olw'abakazi bange n'abaana bange n'effeeza yange ne zaabu yange; ne simumma.
8 Awo abakadde bonna n'abantu bonna ne bamugamba nti Towulira so tokkiriza.
9 Kyeyava agamba ababaka ba Benikadadi nti Gamba mukama wange kabaka nti Byonna bye wasookerako okutumira omuddu wo ndibikola: naye kino siyinza kukikola. Ababaka ne bagenda ne bamuddiza ebigambo.
10 Awo Benikadadi n'amutumira n'ayogera nti Bakatonda bankole bwe batyo n'okukirawo, enfuufu ey'e Samaliya bw'eribuna abantu bonna abangoberera okuba embatu.
11 Awo kabaka wa Isiraeri n'addamu n'ayogera nti Mumugambe nti Eyeesiba ebyokulwanyisa bye aleme okwenyumiriza ng'oyo abyesumulula.
12 Awo olwatuuka Benikadadi bwe yawulira ekigambo ekyo, bwe yali ng'anywera, ye ne bakabaka abo, mu weema, n'agamba abaddu be nti Musimbe ennyiriri. Ne basimba ennyiriri okulwana n’ekibuga.
13 Kale, laba, nnabbi n'asemberera Akabu kabaka wa Isiraeri, n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Olabye ekibiina kino kyonna ekinene? laba, naakigabula mu mukono gwo leero; naawe onoomanya nga nze Mukama.
14 Akabu n'ayogera nti Eri ani? N'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Eri abalenzi ab'abakulu b'amasaza. Awo n'ayogera nti Ani anaasooka okulwana? N'addamu nti Ggwe.
15 Awo n'ayolesa abalenzi ab'abakulu b'amasaza, ne baba ebikumi bibiri mu asatu mu babiri: awo oluvannyuma lwabwe n'ayolesa abantu bonna, abaana ba Isiraeri bonna, ke kasanvu.
16 Awo ne batabaala mu ttuntu. Naye Benikadadi yali ng'ali mu weema ng'anywa omwenge ng'atamiira, ye ne bakabaka, bakabaka amakumi asatu mu babiri abaamubeera.
17 Awo abalenzi ab'abakulu b'amasaza be baasooka okutabaala; Benikadadi n'atuma, ne bamubuulira nti Waliwo abasaja abafulumye mu Samaliya.
18 N'ayogera nti Ne bwe baba bafulumidde mirembe, mubawambe; ne bwe baba bafulumidde bulwa, mubawambe.
19 Awo abo ne bafuluma mu kibuga, abalenzi ab'abakulu b'amasaza, n'eggye eryabagoberera.
20 Ne batta buli muntu musajja we; Abasuuli ne badduka, Isiraeri ne babagoberera: Benikadadi kabaka w'e Busuuli n'awonera ku mbalaasi wamu n'abeebagala embalaasi.
21 Awo kabaka wa Isiraeri n'afuluma n'akuba embalaasi n'amagaali, n'atta Abasuuli olutta lunene.
22 Awo nnabbi n'asemberera kabaka wa Isiraeri n'amugamba nti Genda oddemu amaanyi weetegereze olabe by'onookola: kubanga omwaka bwe gulidda kabaka w'e Busuuli alikutabaala.
23 Awo abaddu ba kabaka w'e Busuuli ne bamugamba nti Katonda waabwe katonda wa ku nsozi; kyebaava batusinga amaanyi: naye tulwanire nabo mu lusenyi, kale tetulirema kubasinga bo amaanyi.
24 Era kola kino; ggyawo bakabaka buli muntu mu kifo kye, osseewo mu kifo kyabwe abaami:
25 era weebalire eggye erifaanana eggye lye wafiirwa, embalaasi okudda mu kifo ky'embalaasi, n'eggaali okudda mu kifo ky'eggaali: kale tulirwanira nabo mu lusenyi, era tetulirema kubasinga amaanyi. Awo n'awulira eddoboozi lyabwe n'akola bw'atyo.
26 Awo olwatuuka omwaka bwe gwadda Benikadadi n’ayolesa Abasuuli n'ayambuka n'agenda e Afeki okulwana ne Isiraeri.
27 Awo abaana ba Isiraeri ne bayolesebwa ne baweebwa entanda yaabwe, ne babatabaala: awo abaana ba Isiraeri ne basiisira okuboolekera nga bafaanana ebisibo bibiri ebitono eby'abaana b'embuzi: naye Abasuuli ne babuna ensi.
28 Awo omusajja wa Katonda n'asembera n'agamba kabaka wa Isiraeri n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga Abasuuli boogedde nti Mukama katonda wa ku nsozi, naye si katonda wa mu biwonvu; kyendiva ngabula mu mukono gwo ekibiina kino kyonna ekinene, nammwe mulimanya nga nze Mukama.
29 Awo ne basiisira nga basulaganako ne bamala ennaku musanvu. Awo olwatuuka ku lunaku olw'omusanvu ne balumbagana; abaana ba Isiraeri ne batta ku Basuuli abasajja abatambula n'ebigere kasiriivu ku lunaku lumu.
30 Naye abalala ne baddukira e Afeki mu kibuga; awo bbugwe n'agwa ku basajja obukumi bubiri mu kasanvu abaasigalawo. Ne Benikadadi n'adduka n'atuuka mu kibuga mu kisenge eky'omunda.
31 Abaddu be ne bamugamba nti Laba nno, tuwulidde nga bakabaka b'ennyumba ya Isiraeri bakabaka ba kisa: tukwegayiridde, twambale ebibukutu mu biwato n'emigwa ku mitwe gyaffe, tufulume eri kabaka wa Isiraeri: mpozzi anaawonya obulamu bwo.
32 Awo ne beesiba ebibukutu mu biwato ne batikkira emigwa ku mitwe, ne bajja eri kabaka wa Isiraeri, ne boogera nti Omuddu wo Benikadadi ayogera nti Nkwegayiridde, mbeere omulamu. N'ayogera nti Akyali mulamu? ye muganda wange.
33 Awo abasajja ne balabirira nnyo ne banguwa okwetegereza oba nga bw'ayagala bw'atyo; ne boogera nti Muganda wo Benikadadi. Awo n'ayogera nti Mugende mumuleete. Awo Benikadadi n'afuluma n'ajja gy'ali; n'amulinnyisa mu ggaali.
34 Awo Benikadadi n'amugamba nti Ebibuga kitange bye yaggya ku kitaawo nze ndibizzaayo; era olyerimira enguudo mu Ddamasiko, nga kitange bwe yeerimira mu Samaliya. Nange, bwe yayogera Akabu, naakuta ne ndagaano eno. Awo n'alagaana naye endagaano n'amuta.
35 Awo omusajja omu ow'oku baana ba bannabbi n'agamba munne olw'ekigambo kya Mukama nti Nfumita, nkwegayiridde. Omusajja n'agaana okumufumita.
36 Awo n'amugamba nti Kubanga towulidde ddoboozi lya Mukama, laba, bw'onooba nga kyojje onveeko, empologoma eneekutta. Awo bwe yali nga kyajje amuveeko, empologoma n'emusanga n'emutta.
37 Awo n'asanga omusajja omulala, n'ayogera nti Nfumita, nkwegayiridde. Omusajja n'amufumita ng'amufumita ekiwundu.
38 Awo nnabbi n'agenda n'alindirira kabaka mu kkubo, ne yeefuula ng'abisse ekiremba kye ku maaso ge.
39 Awo kabaka bwe yali ayitawo, n'akaabirira kabaka: n'ayogera nti Omuddu wo yafuluma wakati mu lutalo; kale, laba, omusajja n'akyama n'andeetera omusajja n'ayogera nti Kuuma omusajja ono: okubula bw'aliba ng'abuze, kale obulamu bwo buliba mu kifo ky'obulamu bwe, oba oliriwa talanta ey'effeeza.
40 Awo omuddu wo bwe yali ng'atawaana eruuyi n'eruuyi, ng'agenze. Awo kabaka wa Isiraeri n'amugamba nti Era bwe gutyo bwe gunaaba omusango gwo; ggwe ogusaze ggwe kennyini.
41 Awo n'ayanguwa n'aggya ekiremba ku maaso ge; kabaka wa Isiraeri n'amutegeera nga wa ku bannabbi.
42 N'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga wata omusajja ow'ekivve gye ndi okuva mu mukono gwo, obulamu bwo kyebuliva bubeera mu kifo ky'obulamu bwe, n'abantu bo baliba mu kifo ky'abantu be.
43 Awo kabaka wa Isiraeri n'agenda mu nnyumba ye, ng'anyiikadde era ng'anyiize, n'ajja e Samaliya.