1 Bassekabaka
Essuula 3
Awo Sulemaani n'abeera mukoddomi wa Falaawo kabaka w'e Misiri, n'atwala muwala wa Falaawo, n'amuleeta mu kibuga kya Dawudi, okutuusa lwe yamala okuzimba ennyumba ye ye, n'ennyumba ya Mukama, ne bbugwe wa Yerusaalemi enjuyi zonna.
2 Kyokka abantu ne baweerangayo ssaddaaka mu bifo ebigulumivu, kubanga tewaali nnyumba eyazimbirwa erinnya lya Mukama okutuusa ku biro ebyo.
3 Sulemaani n'ayagala Mukama, ng'atambulira mu mateeka ga Dawudi kitaawe: kyokka yaweerangayo ssaddaaka era yayokeranga obubaane ku bifo ebigulumivu.
4 Awo kabaka n'agenda e Gibyoni okuweerayo ssaddaaka; kubanga ekyo kye kyali ekifo ekigulumivu ekikulu: Sulemaani n'aweerayo ku kyoto ekyo ssaddaaka ezookebwa lukumi.
5 Mukama n'alabikira Sulemaani e Gibyoni mu kirooto ekiro: Katonda n'ayogera nti Saba kye mba nkuwa.
6 Sulemaani n'ayogera nti Wamukola bulungi nnyo omuddu wo Dawudi kitange, nga bwe yatambula mu maaso go mu mazima ne mu butuukirivu ne mu bugolokofu bw'omutima wamu naawe; era wamuterekera ekisa kino ekinene kubanga omuwadde omwana ow'okutuula ku ntebe ye, nga bwe kiri leero.
7 Era nno, ai Mukama Katonda wange, ofudde omuddu wo kabaka mu kifo kya Dawudi kitange: nange ndi mwana muto: simanyi kufuluma newakubadde okuyingira.
8 Era omuddu wo ali wakati mu bantu bo be walonda, eggwanga eddene, eritayinzika kubalibwa newakubadde okugattibwa obungi.
9 Kale muwe omuddu wo omutima omutegeevu okusalanga emisango gy'abantu bo, njawulemu ebirungi n'ebibi: kubanga ani ayinza okusala emisango gy'eggwanga lyo lino ekkulu?
10 Awo ebigambo ebyo ne bisanyusa Mukama, kubanga Sulemaani asabye ekyo.
11 Katonda n'amugamba nti Kubanga osabye kino, so teweesabidde kuwangaala; so teweesabidde bugagga, so teweesabidde bulamu bwa balabe bo: naye weesabidde obutegeevu okwawulamu emisango:
12 laba, nkoze ng'ekigambo kyo bwe kiri: laba, nkuwadde omutima omugezigezi era omutegeevu; obutabangawo akwenkana okusooka ggwe, so n'oluvannyuma lwo tewaligolokoka akwenkana.
13 Era nkuwadde n'ebyo by'otosabye, obugagga n'ekitiibwa, obutabangawo mu bakabaka n'omu akwenkana ennaku zo zonna.
14 Era bw'onootambuliranga mu makubo gange, okukwatanga amateeka gange n'ebiragiro byange, nga kitaawo Dawudi bwe yatambula, awo ndyongera ku nnaku zo.
15 Awo Sulemaani n'azuukuka, era, laba, kyali kirooto: n'ajja e Yerusaalemi n'ayimirira mu maaso g'essanduuko ey'endagaano ya Mukama, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'awaayo ebiweebwayo olw'emirembe, n'afumbira abaddu be bonna embaga.
16 Awo ne wajja eri kabaka abakazi babiri, abaali abenzi, ne bayimirira mu maaso ge.
17 Omukazi omu n'ayogera nti Ai mukama wange, nze n'omukazi ono tusula mu nnyumba emu; nazaala omwana nga ndi wamu naye mu nnyumba.
18 Awo olwatuuka nga naakamaze ennaku ssatu okuzaala, omukazi ono n'azaala naye; era twali wamu; tewaali mugenyi wamu naffe mu nnyumba, wabula ffe fembi mu nnyumba.
19 Awo omwana w'omukazi ono n'afa ekiro; kubanga yamwebakira.
20 N'agolokoka mu ttumbi n'aggya omwana wange mu mbiriizi zange, omuzaana wo nga yeebase, n'amuteeka mu kifuba kye, n'ateeka omwana we afudde mu kifuba kyange.
21 Awo bwe nnagolokoka enkya okuyonsa omwana wange, laba, ng'afudde: naye bwe nnakifumiitiriza enkya, laba, nga si ye mwana wange gwe nnazaala.
22 Omukazi omulala n'ayogera nti Nedda; naye omulamu ye mwana wange, n'omufu ye mwana wo. N'ono n'ayogera nti Nedda; naye omufu ye mwana wo, n'omulamu ye mwana wange. Bwe batyo bwe baayogera mu maaso ga kabaka.
23 Awo kabaka n'ayogera nti Omu ayogera nti Ono omulamu ye mwana wange, n'omufu ye mwana wo: munne n'ayogera nti Nedda: naye omufu ye mwana wo, n'omulamu ye mwana wange.
24 Awo kabaka n'ayogera nti Mundeetere ekitala. Ne baleeta ekitala mu maaso ga kabaka.
25 Kabaka n'ayogera nti Musaleemu omwana omulamu, muwe omu kitundu ne munne kitundu.
26 Awo nnyina w'omwana omulamu n'alyoka agamba kabaka, kubanga omwoyo gwe gwalumirwa omwana we, n'ayogera nti Ai mukama wange, muwe ye omwana mulamu, so tomutta n'akamu. Naye ye omulala n'ayogera nti Taliba wange newakubadde owuwo; mumusalemu.
27 Awo kabaka n'addamu n'ayogera nti Mumuwe ye omwana omulamu, so temumutta n'akamu: oyo ye nnyina.
28 Isiaeri yenna n'awulira omusango kabaka gw'asaze; ne batya kabaka: kubanga baalaba ng'amagezi ga Katonda gali mu ye, okusalanga emisango.