Okubala

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36

0:00
0:00

Essuula 4

Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti
2 Mubale omuwendo gw'abaana ba Kokasi ku baana ba Leevi, ng'enda zaabwe bwe ziri, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri,
3 abaakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa ku myaka ataano, bonna abayingira mu kuweereza okwo, okukolanga omulimu mu weema ey'okusisinkanirangamu.
4 Guno gwe mulimu gw'abaana ba Kokasi mu weema ey'okusisinkanirangamu, ogw'ebintu ebitukuvu ennyo:
5 olusiisira bwe lunaasitulanga, Alooni anaayingiranga n'abaana be ne batimbulula eggigi eritimbibwa, ne balibikka ku sanduuko ey'obujulirwa:
6 ne bateeka okwo amaliba g'eŋŋonge okubikkako, ne baaliirira okwo olugoye olwa kaniki lwonna, ne bayingiza emisituliro gyayo.
7 Ne ku mmeeza ey'emigaati egy'okulaga banaayaliirangako olugoye olwa kaniki ne bateeka okwo essowaani, n'ebijiiko, n'ebibya, n'ebikompe eby'okufukanga nabyo: n'emigaati egitavangawo ginaabanga okwo:
8 era banaayaliiranga ku byo olugoye olumyufu, ne balusabikako olwo n'amaliba g'eŋŋonge agasabika, ne bayingiza emisituliro gyayo.
9 Ne baddira olugoye olwa kaniki, ne basabika ku kikondo ky'ettabaaza, n'eby'ettabaaza byakyo, ne makansi yaakyo, n'essowaani zaakyo ez'ebisiriiza, n'ebintu byakyo byonna eby'amafuta, bye bakiweerezesa:
10 ne bakisiba kyo n'ebintu byakyo byonna mu maliba g'eŋŋonge agasabika, ne bakiteeka ku muti.
11 Ne ku kyoto ekya zaabu banaayaliirangako olugoye olwa kaniki, ne balusabikako amaliba g'eŋŋonge agasabika, ne bayingiza emisituliro gyakyo:
12 ne baddira ebintu byonna eby'okuweereza, bye baweerezesa mu watukuvu, ne babisiba mu lugoye olwa kaniki, ne babisabikako amaliba g'eŋŋonge agasabika, ne babiteeka ku muti.
13 Ne baggya evvu mu kyoto, ne bakyaliirako olugoye olw'effulungu:
14 ne bakiteekako ebintu byakyo byonna, bye baweerezesa emirimu gyakyo, emmumbiro, n'eby'okukwasa ennyama, n'ebijiiko, n'ebibya, ebintu byonna eby'ekyoto; ne bakyaliirako amaliba g'eŋŋonge agasabika, ne bayingiza emisituliro gyakyo.
15 Awo Alooni ne batabani be bwe banaamaliranga ddala okusabika ku watukuvu, n'ebintu byonna eby'omu watukuvu, olusiisira nga lunaatera okusitula; oluvannyuma batabani ba Kokasi ne balyoka bajja okubisitula: naye tebakomanga ku watukuvu, baleme okufa. Ebyo gwe mugugu gwa batabani ba Kokasi mu weema ey'okusisinkanirangamu.
16 Ne Eriyazaali mutabani wa Alooni kabona by'anaateresebwa binaabanga mafuta ga ttabaaza n'obubaane obw'akaloosa, n'ekiweebwayo eky'obutta ekitavaawo, n'amafuta ag'okufukako, anaateresebwanga eweema yonna, n'ebigirimu byonna, awatukuvu n'ebintu byawo.
17 Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti
18 Ekika eky'ennyumba z'Abakokasi temukisalako okukiggya mu Baleevi:
19 naye mubakole bwe mutyo, babenga abalamu, balemenga okufa, ng'abasemberera ebintu ebitukuvu ennyo: Alooni ne batabani be banaayingiranga, ne balagira buli muntu okuweereza kwe n'omugugu gwe:
20 naye tebayingiranga n'akamu kokka kulaba watukuvu, baleme okufa.
21 Mukama n'agamba Musa nti
22 Bala omuwendo gw'abaana ba Gerusoni nabo, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri, ng'enda zaabwe bwe ziri;
23 abaakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa ku myaka ataano b'oba obala; bonna abayingira okulwana olutalo olwo, okukola omulimu mu weema ey'okusisinkanirangamu.
24 Kuno kwe kuweereza kw'enda ez'Abagerusoni, mu kuweereza ne mu kusitula emigugu:
25 banaasitulanga amagigi ag'ennyumba, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, ebisabika ku yo, n'amaliba g'eŋŋonge agagisabikako waggulu, n'eggigi ery'oluggi lw'eweema ey'okusisinkanirangamu;
26 n'ezitimbibwa ez'oluggya, n'eggigi ery'oluggi lwa wankaaki w'oluggya, oluli ku weema ne ku kyoto enjuyi zonna, n'emigwa gyabyo, n'ebintu byonna eby'okuweereza kwabyo, n'emirimu gyonna gye binaakolanga, ebyo bye banaaweerezanga.
27 Alooni ne batabani be be banaalagiranga okuweereza kwonna okwa batabani ba Gerusoni, mu kusitula kwabwe kwonna ne mu kuweereza kwabwe kwonna: era mmwe munaabagabiranga okusitula kwabwe kwonna okubakukwasa.
28 Okwo kwe kuweereza kw'enda za batabani ba Gerusoni mu weema ey'okusisinkanirangamu: n'okulagirwa kwabwe kunaabanga wansi w'omukono gwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.
29 Batabani ba Merali, onoobabala ng'enda zaabwe bwe ziri, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe ziri;
30 abaakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa emyaka ataano b'oba obala, buli ayingira mu kuweereza, okukolanga omulimu ogw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
31 Era kino kye kiragiro eky'okusitula kwabwe, ng'okuweereza kwabwe kwonna bwe kuli mu weema ey'okusisinkanirangamu; embaawo ez'ennyumba, n'emisituliro gyayo, n'empagi zaayo, n'ebinnya byayo;
32 n'empagi ez'oluggya olwetooloola, n'ebinnya byazo, n'enninga zaazo, n'emigwa gyazo, wamu n'ebintu byazo byonna, n'okuweereza kwazo kwonna: era munaabagabiranga ng'amannya gaabwe bwe gali ebintu bye banaalagirwanga bye banaasitulanga.
33 Okwo kwe kuweereza kw'enda za batabani ba Merali, ng'okuweereza kwabwe kwonna bwe kuli, mu weema ey'okusisinkanirangamu, wansi w'omukono gwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.
34 Awo Musa ne Alooni n'abakulu b'ekibiina ne babala batabani b'Abakokasi, ng'enda zaabwe bwe zaali, era ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali,
35 abaali baakamaze emyaka asatu n'okukirawo, okutuusa emyaka ataano, buli eyayingira mu kuweereza, okukolanga omulimu mu weema ey'okusisinkanirangamu:
36 era abo abaabalibwa ku bo ng'enda zaabwe bwe zaali baali enkumi bbiri mu lusanvu mu ataano.
37 Abo be baabalibwa ku nda ez'Abakokasi, bonna abaaweerezanga mu weema ey'okusisinkanirangamu, Musa ne Alooni be baabala ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali mu mukono gwa Musa.
38 N'abo abaabalibwa ku batabani ba Gerusoni, ng'enda zaabwe bwe zaali, era ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali,
39 abaali baakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa emyaka ataano, buli eyayingira mu kuweereza, okukolanga omulimu mu weema ey'okusisinkanirangamu,
40 abo abaabalibwa ku bo, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, baali enkumi bbiri mu lusanvu mu asatu.
41 Abo be baabalibwa ku nda za batabani ba Gerusoni, bonna abaaweerezanga mu weema ey'okusisinkanirangamu, Musa ne Alooni be baabala ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali.
42 N'abo abaabalibwa ku nda za batabani ba Merali, ng'enda zaabwe bwe zaali, ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali,
43 abaakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa emyaka ataano, buli eyayingira mu kuweereza, okukolanga omulimu mu weema ey'okusisinkanirangamu,
44 abo abaabalibwa ku bo ng'enda zaabwe bwe zaali, baali enkumi bbiri mu bibiri.
45 Abo be baabalibwa ku nda za batabani ba Merali Musa ne Alooni be baabala ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali mu mukono gwa Musa.
46 Abo bonna abaabalibwa ku Baleevi, Musa ne Alooni n'abakulu ba Isiraeri be baabala, ng'enda zaabwe bwe zaali, era ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali,
47 abaali baakamaze emyaka asatu n'okukirawo okutuusa emyaka ataano, buli eyayingira okukolanga omulimu ogw'okuweereza, n'omulimu ogw'okusitula emigugu mu weema ey'okusisinkanirangamu,
48 abo abaabalibwa ku bo baali kanaana mu bitaano mu kinaana.
49 Ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali, baabalibwa n'omukono gwa Musa buli muntu ng'okuweereza kwe bwe kwali, era ng'okusitula kwe bwe kwali: bw'atyo bwe yababala, nga Mukama bwe yalagira Musa.