Okubala

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36

0:00
0:00

Essuula 10

Mukama n'agamba Musa nti
2 Weekolere amakondeere abiri ga ffeeza; onoogakola n'omulimu omuweese: era ganaabanga gy'oli ga kuyita kibiina, era ga kutambuza nsiisira.
3 Era bwe banaagafuuwanga, ekibiina kyonna kinakuŋŋaaniranga gy'oli ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
4 Era bwe banaafuuwanga erimu lyokka, kale abakulu, emitwe gy'enkumi za Isiraeri, banaakuŋŋaaniranga gy'oli.
5 Era bwe munaagafuuwanga okugalaya, ensiisira eziri ku luuyi olw'ebugwanjuba zinaatambulanga.
6 Era bwe munaagafuuwanga okugalaya omulundi ogw'okubiri, ensiisira eziri ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo zinaatambulanga: banaagafuuwanga okugalaya olw'okutambula kwabwe.
7 Naye ekibiina bwe kinaabanga kya kukuŋŋaanyizibwa, munaafuuwanga, naye temugalayanga.
8 Ne batabani ba Alooni, bakabona, banaafuuwanga amakondeere; era ganaabanga gye muli tteeka eritaliggwaawo mu mirembe gyammwe gyonna.
9 Era bwe munaatabaalanga mu nsi yammwe omulabe abajooga, kale munaafuuwanga amakondeere okugalaya; era munajjukirwanga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, era munaalokokanga mu balabe bammwe.
10 Era ku lunaku olw'essanyu lyammwe, ne ku mbaga zammwe ezaalagirwa, n'emyezi gyammwe we ginaasookeranga, munaafuuwanga amakondeere ago ku biweebwayo byammwe ebyokebwa ne ku ssaddaaka ez'ebyammwe ebiweebwayo olw'emirembe; era ganaabanga gye muli kijjukizo mu maaso ga Katonda wammwe: nze Mukama Katonda wammwe.
11 Awo olwatuuka mu mwaka ogw'okubiri, mu mwezi ogw'okubiri, ku lunaku olw'abiri olw'omwezi, ekire ne kiggibwa kungulu ku weema ey'obujulirwa.
12 Abaana ba Isiraeri ne basitula ng'ebiramago byabwe bwe byali ne bava mu ddungu lya Sinaayi; ekire ne kiyimirira mu ddungu lya Palani.
13 Ne basooka okusitula ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali mu mukono gwa Musa.
14 Ebendera ey'olusiisira olw'abaana ba Yuda n'ekulembera n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: n'omukulu w'eggye lye yali Nakusoni mutabani wa Amminadaabu.
15 N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Isakaali yali Nesaneri mutabani wa Zuwaali.
16 N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Zebbulooni yali Eriyaabu mutabani wa Keroni.
17 Ennyumba n'esimbulibwa; batabani ba Gerusoni ne batabani ba Merali, abeetikkanga ennyumba, ne basitula.
18 Ebendera y'olusiisira lwa Lewubeeni n'etambula ng'eggye lyabwe bwe lyali: n'omukulu w'eggye lye yali Erizuuli mutabani wa Sedewuli.
19 N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Simyoni yali Serumiyeeri mutabani wa Zulisadaayi.
20 N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Gaadi yali Eriyasaafu mutabani wa Deweri.
21 Abakokasi ne beetikka nga basitudde awatukuvu: bali ne basimbanga ennyumba bo nga tebannatuuka.
22 Ebendera ey'olusiisira lw'abaana ba Efulayimu n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: n'omukulu w'eggye lye yali Erisaama mutabani wa Ammikudi,
23 N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Manase yali Gamalyeri mutabani wa Pedazuuli.
24 N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Benyamini yali Abidaani mutabani wa Gidiyooni.
25 Ebendera y'olusiisira lw'abaana ba Ddaani, eyasembanga ensiisira zonna, n'esitula ng'eggye lyabwe bwe lyali: n'omukulu w'eggye lye yali Akiyezeeri mutabani wa Amisadaayi.
26 N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Aseri yali Pagiyeeri mutabani wa Okulaani.
27 N'omukulu w'eggye ly'ekika ky'abaana ba Nafutaali yali Akira mutabani wa Enani.
28 Okwo kwe kwali okutambula kw'abaana ba Isiraeri ng'eggye lyabwe bwe lyali; ne basitula.
29 Awo Musa n'agamba Kobabu mutabani wa Leweri Omumidiyaani, mukoddomi wa Musa, nti Tutambula okugenda mu kifo Mukama kye yayogerako nti Ndikibawa: jjangu ggwe ogende naffe, naffe tunaakukolanga bulungi: kubanga Mukama yayogera ebirungi ku Isiraeri.
30 N'amugamba nti Sijja kugenda: naye naddayo mu nsi y'ewaffe n'eri enda zange.
31 N'agamba nti Totuleka, nkwegayiridde; kubanga ggwe omanyi bwe tuba tusiisiranga mu ddungu, era onoobanga gye tuli ng'amaaso.
32 Kale olunaatuukanga, bw'onoogenda naffe, weewaawo, olunaatukanga buli birungi byonna Mukama by'anaatukolanga ffe, ebyo tunaakukolanga naawe.
33 Ne basitula ne bava ku lusozi lwa Mukama okutambula olugendo olw'ennaku essatu; n'essanduuko ey'endagaano ya Mukama n'ebakulembera olugendo olw'ennaku essatu okubanoonyeza ekifo eky'okuwummuliramu.
34 N'ekire kya Mukama kyabanga ku bo emisana, bwe baasitulanga okuva mu lusiisira.
35 Awo olwatuukanga essanduuko bwe yasitulwanga Musa n'ayogera nti Golokoka, ai Mukama, abalabe bo basaasaanyizibwe; n'abo abakukyaye badduke mu maaso go.
36 Era bwe yayimiriranga n'ayogera nti Komawo, ai Mukama, eri obukumi obw'enkumi za Isiraeri.