Okubala
Essuula 16
Awo Koola, mutabani wa Izukali, mutabani wa Kokasi, mutabani wa Leevi, ne Dasani ne Abiraamu, batabani ba Eriyaabu, ne Oni, mutabani wa Peresi, batabani ba Lewubeeni, ne batwala abantu:
2 ne bagolokoka mu maaso ga Musa, wamu n'abalala ab'oku baana ba Isiraeri, abakulu b'ekibiina bibiri mu ataano, abaayitibwa mu kkuŋŋaaniro, abasajja abaayatiikirira:
3 ne beekuŋŋaanyiza ku Musa ne ku Alooni ne babagamba nti Muyinga okwekuza, kubanga ekibiina kyonna kitukuvu, buli muntu ku bo, era Mukama ali mu bo: kale mwegulumiriza ki okusinga ekibiina kya Mukama?
4 Awo Musa bwe yakiwulira n'avuunama amaaso ge
5 n'agamba Koola ne banne bonna nti Enkya Mukama anaalaga ababe bwe bali, n'omutukuvu bw'ali, era anaamusembeza gy'ali: oyo gw'anaalonda anaamusembeza gy'ali.
6 Mukole bwe muti; muddire ebyoterezo, Koola ne banne bonna;
7 muteeke omwo omuliro, mubiteekeko obubaane mu maaso ga Mukama enkya: kale olunaatuuka omuntu Mukama gw'anaalonda ye anaaba omutukuvu: muyinga okwekuza, mmwe batabani ba Leevi.
8 Musa n'agamba Koola nti Muwulire nno, mmwe batabani ba Leevi:
9 kyali kitono gye muli Katonda wa Isiraeri okubaawula mu kibiina kya Isiraeri, okubasembeza gy'ali; okukolanga okuweereza okw'omu nnyumba ya Mukama, n'okuyimiriranga mu maaso g'ekibiina okubaweereza:
10 n'okusembeza ggwe ne bagandabo bonna batabani ba Leevi wamu naawe? era munoonya n'obwakabona?
11 Kyemuvudde mukuŋŋaanira ku Mukama ggwe ne banno bonna: ne Alooni ye ani mmwe okumwemulugunyiza?
12 Musa n'atuma okuyita Dasani ne Abiraamu, batabani ba Eriyaabu: ne bagamba nti Tetujja kwambuka:
13 kyali kitono ggwe okutuggya mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki n'otulinnyisa, okututtira mu ddungu, era naye n'okugwanira ne kikugwanira okwefuula omulangira ku ffe?
14 Era nate totuleese mu nsi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki, so totuwadde busika bwa nnimiro n'ensuku ez'emizabbibu: oyagala okuggyamu amaaso abantu abo? tetujja kwambuka.
15 Awo Musa n'asunguwala nnyo, n'agamba Mukama nti Tossaayo mwoyo eri ekyabwe ekiweebwayo: sibaggyangako na ndogoyi emu, so sikolanga bubi n'omu ku bo.
16 Musa n'agamba Koola nti Ggwe n'ekibiina kyo, kyonna mubeere mu maaso ga Mukama, ggwe nabo ne Alooni, enkya:
17 muddire buli muntu ekyoterezo kye, mubiteekeko obubaane, muleete mu maaso ga Mukama buli muntu ekyoterezo kye, ebyoterezo ebikumi bibiri mu ataano; naawe ne Alooni, buli muntu ekyoterezo kye.
18 Ne baddira buli muntu ekyoterezo kye, ne babiteekamu omuliro, ne bassaako obubaane, ne bayimirira ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu wamu ne Musa ne Alooni.
19 Koola n'akuŋŋaanyiza ku bo ekibiina kyonna ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira ekibiina kyonna.
20 Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti
21 Mweyawule wakati mu kibiina kino ndyoke mbazikirize mangu ago.
22 Ne bavuunama amaaso gaabwe ne bagamba nti Ai Katonda, Katonda w'emyoyo gya bonna abalina emibiri, omuntu omu ng'ayonoonye onoosunguwalira ekibiina kyonna?
23 Mukama n'agamba Musa nti
24 Gamba ekibiina nti Mugolokoke muve ku weema ya Koola, Dasani, ne Abiraamu.
25 Musa n'agolokoka n'agenda eri Dasani ne Abiraamu; abakadde ba Isiraeri ne bamugoberera.
26 N'agamba ekibiina nti Mbeegayiridde, muve ku weema ez'abantu bano ababi, so temukoma ku kintu kyonna ku byabwe, muleme okuzikirizibwa mu bibi byabwe byonna.
27 Awo ne bagolokoka okuva ku nnyumba ya Koola, Dasani, ne Abiraamu, enjuyi zonna: Dasani ne Abiraamu ne bafuluma, ne bayimirira ku mulyango gw'eweema zaabwe, ne bakazi baabwe, ne batabani baabwe, n'abaana baabwe abato.
28 Musa n'agamba nti Ku kino kwe munaategeerera nga Mukama yantuma okukola emirimu gino gyonna; kubanga saayima mu magezi gange nze okugikola.
29 Abantu bano bwe balifa ng'abantu bonna bwe bafa bulijjo, oba bwe balijjirwa ng'abantu bonna bwe bajjirwa; kale Mukama nga teyantuma.
30 Naye Mukama bw'anaakola ekigambo ekiggya, ettaka ne lyasama akamwa kaalyo, ne libamira, wamu n'ebyabwe byonna, ne bakka nga balamu mu bunnya; kale munaategeera ng'abantu bano banyoomye Mukama.
31 Awo olwatuuka, bwe yali ng'agenda okumala okwogera ebigambo ebyo byonna, ettaka ne lyatika eryali wansi waabwe:
32 ensi n'eyasama akamwa kaayo, n'ebamira, n'ennyumba zaabwe, n’abantu bonna aba Koola, n'ebintu byabwe byonna
33 Bwe batyo bo n'ebyabwe byonna ne bakka nga balamu mu bunnya: ensi n'ebasaanikira, ne bazikirira mu kibiina.
34 Isiraeri yonna abaali babeetoolodde ne badduka olw'okulira kwabwe: kubanga baagamba nti Ensi ereme okutumira ffe.
35 Omuliro ne guva eri Mukama, ne gwokya abasajja ebibiri mu ataano abaawaayo obubaane.
36 Mukama n'agamba Musa nti
37 Gamba Eriyazaali mutabaani wa Alooni kabona, aggye ebyoterezo mu muliro, naawe ofuke eyo omuliro; kubanga bitukuvu;
38 ebyoterezo bya bano abaayonoona ku bulamu bwabwe bo, babifuule essowaani eziweesebwa okubikka ku kyoto: kubanga babiwaddeyo mu maaso ga Mukama, kye bibeeredde ebitukuvu: era binaabanga kabonero eri abaana ba Isiraeri.
39 Eriyazaali kabona n'atwala ebyoterezo eby'ebikomo, abo abookeddwa bye bawaddeyo; ne babiweesa okuba ekibikka ku kyoto:
40 okuba ekijjukizo eri abaana ba Isiraeri, munnaggwanga yenna, atali wa zzadde lya Alooni, alemenga okusembera okunyookeza obubaane mu maaso ga Mukama; alemenga okuba nga Koola, era nga banne: Mukama nga bwe yamugamba n'omukono gwa Musa.
41 Naye ku lw'enkya ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri ne beemulugunyiza Musa ne Alooni nga boogera nti Mwasse abantu ba Mukama.
42 Awo olwatuuka, ekibiina bwe kyali kikuŋŋaanidde ku Musa ne ku Alooni, ne batunuulira eweema ey'okusisinkanirangamu: era, laba, ekire nga kigibisseeko, ekitiibwa kya Mukama ne kirabika.
43 Musa ne Alooni ne bajja mu bwenyi bw'eweema ey'okusisinkanirangamu.
44 Mukama n'agamba Musa nti
45 Mugolokoke muve wakati mu kibiina kino, mbazikirize mangu ago. Ne bavuunama amaaso gaabwe.
46 Musa n'agamba Alooni nti Ddira ekyoterezo kyo, oggye omuliro ku kyoto oguteeke omwo, osseeko obubaane, okitwale mangu eri ekibiina, obatangirire: kubanga obusungu bufulumye eri Mukama: kawumpuli atanudde.
47 Alooni n'addira nga Musa bwe yayogera, n'adduka n'agenda wakati mu kibiina; era, laba, kawumpuli ng'atanudde mu bantu.
48 N'ayimirira wakati w'abafu n'abalamu; kawumpuli n'aziyizibwa.
49 N'abo abaafa kawumpuli baali kakumi mu enkumi nnya mu lusanvu, obutassaako abo abaafa olw'ebigambo bya Koola.
50 Alooni n'addayo eri Musa ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu: kawumpuli n'aziyizibwa.