Okubala

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36

0:00
0:00

Essuula 32

Abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi baalina ensolo nnyingi nnyo nnyini: awo bwe baalaba ensi ya Yazeri, n'ensi ye Gireyaadi, nga, laba, ekifo ekyo kifo kya nsolo;
2 abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni ne bajja ne bagamba Musa ne Eriyazaali kabona n'abakulu ab'ekibiina nti
3 Atalisi ne Diboni ne Yazeri ne Nimula ne Kesuboni ne Ereale ne Sebamu ne Nebo ne Beoni,
4 ensi Mukama gye yakuba mu maaso g'ekibiina kya Isiraeri, ensi ya nsolo, n'abaddu bo balina ensolo.
5 Ne boogera nti Oba nga tulabye ekisa mu maaso go, ensi eno eweebwe abaddu bo okuba obutaka; totusomosa Yoludaani.
6 Musa n'agamba abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni nti Baganda bammwe banaatabaala, mmwe nga mutudde wano?
7 Era kiki ekibakeŋŋenterezesa omwoyo gw'abaana ba Isiraeri obutasomoka okuyingira mu nsi Mukama gye yabawa?
8 Bakitammwe bwe baakola bwe batyo bwe nnabatuma nga nnyima e Kadesubanea okulaba ensi.
9 Kubanga bwe baayambuka mu kiwonvu e Esukoli, ne balaba ensi, ne bakeŋŋentereza omwoyo gw'abaana ba Isiraeri, baleme okuyingira mu nsi Mukama gye yali abawadde.
10 Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku lunaku luli, n'alayira ng'agunba nti
11 Mazima tewaliba ku basajja abaalinnya okuva mu Misiri, abaakamaze emyaka abiri n'okukirawo, abaliraba ensi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka ne Yakobo; kubanga tebangobereredde ddala:
12 wabula Kalebu mutabani wa Yefune Omukenizi ne Yoswa mutabani wa Nuni: kubanga abo bagobereredde ddala Mukama.
13 Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri, n'abatambulizatambuliza eyo n'eyo mu ddungu emyaka ana, okutuusa ezzadde lyonna abaali bakoze obubi mu maaso ga Mukama lwe baazikirira.
14 Era, laba, mmwe muyimiridde mu kifo kya bakitammwe, okwala okw'abantu abalina ebibi, okwongera nate ekiruyi kya Mukama eri Isiraeri.
15 Kubanga bwe munaakyuka obutamugoberera, anaabaleka nate omulundi ogw'okubiri mu ddungu nammwe munaazikiriza abantu bano bonna.
16 Ne bamusemberera ne bagamba nti Tunaazimbira ensolo zaffe ebiraalo wano, n'ebibuga olw'abaana baffe abato:
17 naye ffe bennyini tuliba nga tweteeseteese nga tukutte eby'okulwanyisa okukulembera abaana ba Isiraeri okutuusa lwe tulimala okubayingiza mu kifo kyabwe: n’abaana baffe abato balituula mu bibuga ebiriko enkomera olw'abo abatuula mu nsi.
18 Tetulikomawo mu nnyumba zaffe, okutuusa abaana ba Isiraeri lwe balimala okusikira buli muntu obusika bwe.
19 Kubanga tetulisikira wamu nabo emitala wa Yoludaani n'okweyongerayo; kubanga obusika bwaffe butugwiridde emitala w'eno ewa Yoludaani ebuvanjuba.
20 Musa n'abagamba nti Bwe munaakola ekigambo ekyo; bwe munaakwata eby'okulwanyisa okukulembera Mukama okutabaala,
21 na buli musajja ku mmwe alina eby'okulwanyisa bw'anaasomoka Yoludaani mu maaso ga Mukama, okutuusa lw'aligobera ddala abalabe be mu maaso ge,
22 ensi n'ewangulwa mu maaso ga Mukama: awo oluvannyuma ne mulyoka mukomawo, ne mutabaako musango eri Mukama n'eri Isiraeri; n'ensi eno eneebanga butaka gye muli mu maaso ga Mukama.
23 Naye bwe mutaakole bwe mutyo, laba, nga mwonoonye Mukama: era mutegeerere ddala ng'okwonoona kwammwe kulibayigga.
24 Muzimbire abaana bammwe abato ebibuga, n'ebiraalo olw'endiga zammwe; era mukole ekyo ekifulumye mu kammwa kammwe.
25 Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni ne bagamba Musa nti Abaddu bo banaakola nga mukama wange bw'alagidde.
26 Abaffe abato, bakazi baffe, embuzi zaffe, n'ensolo zaffe zonaa binaabeera eyo mu bibuga eby'e Gireyaadi:
27 naye abaddu bo banaasomoka, buli musajja alina eby'okulwanyisa olw'entalo, mu maaso ga Mukama okutabaala, nga mukama wange bw'ayogedde.
28 Awo Musa n'alagira Eriyazaali kabona ebigambo byabwe ne Yoswa mutabani wa Nuni n'emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ez'ebika by'abaana ba Isiraeri.
29 Musa n'abagamba nti Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni bwe balisomoka Yoludaani awamu nammwe, buli musajja alina eby'okulwanyisa olw'entalo, mu maaso ga Mukama, ensi n'ewangulwa mu maaso gammwe; kale mulibawa ensi y'e Gireyaadi okuba obutaka:
30 naye, bwe batalikkiriza kusomoka wamu nammwe nga bakutte eby'okulwanyisa, baliba n'obutaka mu mmwe mu nsi ya Kanani.
31 Abaana ba Gaadi n'abaana ba Lewubeeni ne baddamu nti Nga Mukama bw'agambye abaddu bo, bwe tutyo bwe tunaakola.
32 Tunaasomoka nga tukutte eby'okulwanyisa mu maaso ga Mukama okuyingira mu nsi ya Kanani, era obutaka obw'obusika bwaffe bulibeera naffe emitala wa Yoludaani.
33 Musa n'abawa bo, abaana ba Gaadi n’abaana ba Lewubeeni, n'ekitundu ky'ekika kya Manase mutabani wa Yusufu, obwakabaka bwa Sikoni kabaka w'Abamoli n'obwakabaka bwa Ogi kabaka w'e Basani, ensi ng'ebibuga byayo bwe byali wamu n'ensalo zaabyo, bye bibuga eby'omu nsi eriraanyeewo.
34 Abaana ba Gaadi ne bazimba Diboni ne Atalosi ne Aloweri;
35 ne Aterosisofani ne Yazeri ne Yogubeka;
36 ne Besunimira ne Besukalaani: ebibuga ebiriko enkomera n'ebisibo by'endiga.
37 Abaana ba Lewubeeni ne bazimba Kesuboni ne Ereale ne Kiriyasayimu;
38 ne Nebo ne Baalumyoni, (nga bawaanyisizza amannya gaabyo), ne Sibima: ne babituuma amannya amalala ebibuga bye baazimba.
39 Abaana ba Makiri mutabani wa Manase ne bagenda e Gireyaadi, ne bakirya, ne bagobamu Abamoli abaali omwo.
40 Musa n'awa Makiri mutabani wa Manase Gireyaadi; n'abeera omwo.
41 Yayiri mutabani wa Manase n'agenda n'alya ebibuga byayo, n'abiyita Kavosuyayiri.
42 Noba n'agenda n'alya Kenasi, n'ebyalo byakyo, n'akituuma Noba, ng'erinnya lye ye bwe lyali.