Okubala

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36

0:00
0:00

Essuula 11

Abantu ne baba nga beemulugunya, nga boogera bubi mu matu ga Mukama: Mukama bwe yabawulira obusungu bwe ne bubuubuuka; omuliro gwa Mukama ne gwokya mu bo, ne gulya ku nkomerero y'olusiisira.
2 Abantu ne bakaabira Musa; Musa n'asaba Mukama, omuliro ne gukkakkana.
3 Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Tabera: kubanga omuliro gwa Mukama gwayokya mu bo.
4 Awo ekibiina eky'abasenze ekyali mu bo ne batanula okwegomba: n'abaana ba Isiraeri nabo ne bakaaba amaziga nate, ne bagamba nti Ani anaatuwa ennyama okulya?
5 Tujjukira ebyennyanja bye twaliiranga obwereere mu Misiri; wujju n'ensujju n'enva n'obutungulu n'ebyokuliira:
6 naye kaakano obulamu bwaffe bukalidde ddala; tewali kintu n'akatono: tetulina kintu kye tuba twesiga wabula emmaanu eno.
7 Era emmaanu yaliŋŋanga ensigo za jaada, n'ekifaananyi kyayo ng'ekifaananyi kya bedola.
8 Abantu ne batambulatambula, ne bagikuŋŋaanya ne bagiseera ku mmengo, oba ne bagisekulira mu binu, ne bagifumba mu ntamu, ne bagiggyamu emigaati: n'okuwooma kwayo kwaliŋŋanga okuwooma kw'amafuta amaggya.
9 Era omusulo bwe gwagwanga ku lusiisira ekiro, emmaanu n'egwanga ku gwo.
10 Musa n'awulira abantu nga bakaaba amaziga mu nda zaabwe zonna, buli muntu ku mulyango gw'eweema ye: obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka nnyo: Musa n'anyiiga.
11 Awo Musa n'agamba Mukama nti Kiki ekikukozezza obubi omuddu wo? era kiki ekindobedde okulaba ekisa mu maaso go, n'okussaako n'onzisaako omugugu gw'abantu bano bonna?
12 Nze nnali olubuto lw'abantu bano bonna? nze nabazaala, n'okugamba n'oŋŋamba nti Basitule mu kifuba kyo nga kitaawe w'omwana omulezi bw'asitula omwana ayonka, okubatwala mu nsi gye walayirira bajjajja baabwe?
13 Nandiggye wa nze ennyama okugabira abantu bano bonna? kubanga bankaabira nga boogera nti Tuwe ennyama tulye.
14 Nze siyinza kusitula bantu bano bonna nzekka, kubanga bayinze okunzitoowerera.
15 Era bw'ononkola bw'otyo, nzitira ddala mangu ago, nkwegayiridde, oba nga ndabye ekisa mu maaso go; nneme okulaba ennaku zange.
16 Mukama n'agamba Musa nti Nkuŋŋaanyiza abasajja nsanvu ab'oku bakadde ba Isiraeri, b'omanyi okuba abakadde b'abantu n'abakulu abanaabafuganga; obaleete ku weema eyokusisinkanirangamu, bayimirire eyo wamu naawe.
17 Nange nakka ne njogerera naawe eyo: era naatoola ku mwoyo oguli ku ggwe, ne nguteeka ku bo; nabo banaasitulanga omugugu gw'abantu wamu naawe, olemenga okugusitula ggwe wekka.
18 Era gamba abantu nti Mwetukulize olunaku olw'enkya, era mulirya ennyama: kubanga mukaabidde amaziga mu matu ga Mukama nga mwogera nti Ani alituwa ennyama okulya? kubanga twali bulungi mu Misiri: Mukama kyaliva abawa ennyama, ne mulya.
19 Temuliriirako lunaku lumu, newakubadde ennaku ebbiri, newakubadde ennaku ettaano, newakubadde ennaku ekkumi, newakubadde ennaku abiri;
20 naye mwezi mulamba, okutuusa lw'erifulumira mu nnyindo zammwe, ne muginyiwa: kubanga mugaanyi Mukama ali mu mmwe, ne mukaabira amaziga mu maaso ge nga mwogera nti Ekyatuggya ki mu Misiri?
21 Musa n'agamba nti Abantu be ndimu wakati, be basajja abatambula n'ebigere obusiriivu mukaaga: naye ogambye nti Ndibawa ennyama baliireko omwezi omulamba.
22 Banaabattiranga endiga n'ente okubamalanga? oba balibakuŋŋaanyiza ebyennyanja byonna eby'omu nnyanja okubamalanga?
23 Mukama n'agamba Musa nti Omukono gwa Mukama guyimpawadde? kaakano onoolaba oba ng'ekigambo kyange kinaatuukirira gy'oli nantiki si weewaawo.
24 Musa n'afuluma n'abuulira abantu ebigambo bya Mukama: n'akuŋŋaanya abasajja nsanvu ab'oku bakadde b'abantu, n'abassaawo okwetooloola Eweema.
25 Mukama n'akkira mu kire n'ayogera naye, n'atoola ku mwoyo ogwali ku ye, n'aguteeka ku bakadde ensanvu: awo olwatuuka omwoyo bwe gwatuula ku bo ne balagula, naye ne bakomya awo.
26 Naye ne musigala mu lusiisira abasajja babiri, erinnya ly'omu Eridaadi, n'erinnya ly'omulala Medadi: omwoyo ne gutuula ku bo; era baali ku muwendo gw'abo abaawandiikibwa, naye baali tebafulumye okugenda ku Weema: ne balagulira mu lusiisira.
27 Omulenzi n'adduka n'abuulira Musa n'agamba nti Eridaadi ne Medadi balagulira mu lusiisira.
28 Yoswa mutabani wa Nuuni, omuweereza wa Musa, omu ku basajja be abalonde, n'addamu n'agamba nti Mukama wange Musa, bagaane.
29 Musa n'agamba nti Obuggya bukukutte ku lwange? abantu bonna aba Mukama singa bannabbi, Mukama singa abateekako omwoyo gwe!
30 Musa ne yeddirayo mu lusiisira, ye n'abakadde ba Isiraeri.
31 Empewo n'efuluma eri Mukama, n'ereeta obugubi okuva ku nnyanja, n'ebugwisa mu lusiisira, ng'olugendo olw'olunaku olumu ku luuyi luno, n'olugendo olw'olunaku olumu ku luuyi luli, okwetooloola olusiisira, ng'emikono ebiri okutuuka ku ttaka we bwali.
32 Abantu ne bagolokoka ne bazibya olunaku olwo, ne bakeesa obudde, ne bazibya obudde obw'enkya, ne bakuŋŋaanya obugubi: eyakuŋaanya obutono, yakuŋŋaanya komeri kkumi: ne babweyanikira wonna wonna okwetooloola olusiisira.
33 Ennyama bwe yali ng'ekyali wakati mu mannyo gaabwe, nga tebannaba kugigaaya, obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku bantu, Mukama n'akuba abantu ekibonyoobonyo kinene nnyo.
34 Ekifo ekyo ne kituumibwa erinnya Kiberosukataava: kubanga we baaziika abantu abeegomba.
35 Abantu ne basitula e Kiberosukataava ne batambula ne bagenda e Kazerosi; ne batuula e Kazerosi.