Okubala

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36

0:00
0:00

Essuula 29

Ne mu mwezi ogw'omusanvu ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi, munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono: lwe lunaku olw'okufuuyirako amakondeere gye muli.
2 Era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa okuba evvumbe eddungi eri Mukama; ente envubuka emu, endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume omusanvu abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema:
3 n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ebitundu eby'ekkumi bisatu olw'ente, ebitundu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume,
4 n'ekitundu eky'ekkumi kimu olwa buli mwana gw'endiga ku baana b'endiga omusanvu:
5 n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi, okubatangirira:
6 obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa eky'omwezi ogwakajja guboneke, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako, ng'etteeka lyabyo bwe liri, okuba evvumbe eddungi, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro eri Mukama.
7 Ne ku lunaku olw'ekkumi olw'omwezi ogwo ogw'omusanvu munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; era munaabonerezanga obulamu bwammwe; temukolanga mulimu gwonna:
8 naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama okuba evvumbe eddungi; ente envubuka emu, endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu; banaabanga gye muli abataliiko bulema:
9 n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ebitundu eby'ekkumi bisatu olw'ente, ebitundu eby'ekkumi bibiri olw'endiga ennume emu,
10 ekitundu ekirala eky'ekkumi olwa buli mwana gw'endiga ku baana b'endiga omusanvu:
11 embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo olw'ekibi eky'okutangirira, n'ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako.
12 Ne ku lunaku olw'ekkumi n'ettaano olw'omwezi ogw'omusanvu munaabanga n'okukuŋŋaana okutukuvu; temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono, era munaakwatiranga embaga ennaku musanvu eri Mukama:
13 era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama; ente envubuka kkumi na ssatu, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu; banaabanga abataliiko bulema:
14 n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, obutta obulungi obutabuddwamu amafuta, ebitundu eby'ekkumi bisatu olwa buli nte ku nte ekkumi n'essatu, ebitundu eby'ekkumi bibiri olwa buli ndiga ennume ku ndiga ennume zombi,
15 n'ekitundu ekirala eky'ekkumi olwa buli mwana gw'endiga ku baana b'endiga ekkumi n'abana:
16 n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako.
17 Ne ku lunaku olw'okubiri munaawangayo ente envubuka kkumi na bbiri, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema:
18 n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri:
19 n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako.
20 Ne ku lunaku olw'okusatu ente kkumi n'emu, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema;
21 n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri:
22 n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako.
23 Ne ku lunaku olw'okuna ente kkumi, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema:
24 ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri:
25 n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako.
26 Ne ku lunaku olw'okutaano ente mwenda, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema:
27 n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri:
28 n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako.
29 Ne ku lunaku olw'omukaaga ente munaana, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema:
30 n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri:
31 n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako.
32 Ne ku lunaku olw'omusanvu ente musanvu, endiga ennume bbiri, abaana b'endiga abalume kkumi na bana abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema:
33 n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, ng'omuwendo gwabyo bwe gunaabanga, ng'etteeka bwe liri:
34 n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi; obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako.
35 Ku lunaku olw'omunaana munaabanga n'okukuŋŋaana okw'okwewombeeka: temukolanga mulimu gwonna ogw'emikono:
36 naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama: ente emu, endiga ennume emu, abaana b'endiga abalume musanvu abatannamala mwaka gumu abataliiko bulema:
37 ekiweebwayo eky'obutta ekyako n'ebiweebwayo eby'okunywa ebyako olw'ente, olw'endiga ennume, n'olw'abaana b'endiga, binaabanga ng'omuwendo gwabyo, ng'etteeka bwe liri:
38 n'embuzi ennume emu okuba ekiweebwayo olw'ekibi: obutassaako ekiweebwayo ekyokebwa ekitaliggwaawo, n'ekiweebwayo eky'obutta ekyako, n'ekiweebwayo eky'okunywa ekyako.
39 Ebyo bye munaawangayo eri Mukama mu mbaga zammwe ezaalagirwa, obutassaako bweyamo bwammwe, n'ebyo bye muwaayo ku bwammwe, okuba bye muwaayo ebyokebwa, ne bye muwaayo eby'obutta, ne bye muwaayo eby'okunywa, ne bye muwaayo olw'emirembe.
40 Musa n’abuulira abaana ba Isiraeri nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa.