Okubala
Essuula 19
Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti
2 Lino lye tteeka ery'ekiragiro Mukama kye yalagira ng'agamba nti Gamba abaana ba Isiraeri bakuleetere ente enduusi eya lukunyu eteriiko bbala, eteriiko bulema, eteteekebwangako kikoligo:
3 era munaagiwanga Eriyazaali kabona, naye anaagifulumyanga ebweru w'olusiisira, ne bagittira mu maaso ge:
4 awo Eriyazaali kabona anaatoolanga ku musaayi gwayo n'engalo ye, n'amansira ku musaayi gwayo okwolekera obwenyi bw'eweema ey'okusisinkanirangamu emirundi musanvu
5 ne bookera ente mu maaso ge; eddiba lyayo n'ennyama yaayo n'omusaayi gwayo wamu n'obusa bwayo anaabyokyanga:
6 kabona n'addira omuti omwerezi n'ezobu n'olugoye olumyuufu, n'abissuula wakati ente w'eyokerwa.
7 Awo kabona anaayozanga engoye ze, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, n'alyoka ayingira mu lusiisira, kabona n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
8 N'oyo anaagyokyanga anaayozanga engoye ze mu mazzi, n'anaaba omubiri gwe mu mazzi, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
9 N'omuntu omulongoofu anaayoolanga evvu ly'ente, n'alitereka ebweru w'olusiisira mu kifo ekirongoofu, era linaakuumirwanga ekibiina ky'abaana ba Isiraeri okuba amazzi ag'okwawula: ekyo kye kiweebwayo olw'ekibi.
10 N'oyo anaayoolanga evvu ly'ente anaayozanga engoye ze, n'aba atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: era linaabanga eri abaana ba Isiraeri n'eri omugenyi atuula mu bo etteeka eritaliggwaawo.
11 Anaakomanga ku mulambo gw'omuntu yenna anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu:
12 oyo aneerongoosanga nago ku lunaku olw'okusatu, ne ku lunaku olw'omusanvu anaabanga mulongoofu: naye bw'anaalemanga okwerongoosa ku lunaku olw'okusatu, kale ku lunaku olw'omusanvu taabenga mulongoofu.
13 Buli anaakomanga ku mulambo gw'omuntu yenna afudde, n'ateerongoosa, ng'ayonoona ennyumba ya Mukama; n'obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu Isiraeri: kubanga teyamansirwako mazzi ga kwawula, anaabanga atali mulongoofu; obutali bulongoofu bwe nga bukyali ku ye.
14 Lino lye tteeka omuntu bw'anaafiiranga mu weema: buli anaayingiranga mu weema na buli anaabanga mu weema, anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu.
15 Na buli kintu kyasaamiridde, ekitaliiko kisaanikizo ekisibibwa ku kyo, si kirongoofu.
16 Na buli anaakomanga ku ttale ebweru ku muntu eyattibwa n'ekitala oba ku mulambo oba ku ggumba ly'omuntu oba ku malaalo anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu.
17 N'olw'atali mulongoofu banaatoolanga ku vvu ery'ekiweebwayo olw'ekibi ekyokebwa, ne bafukako amazzi agakulukuta mu kibya:
18 n'omuntu omulongoofu anaddiranga ezobu, n'aginnyika mu mazzi, n'agamansira ku weema, ne ku bintu byonna, ne ku bantu abaalimu, ne ku oyo eyakoma ku ggumba oba ku oyo eyattibwa oba ku mufu oba ku malaalo:
19 n'omulongoofu oyo anaamansiranga ku atali mulongoofu ku lunaku olw'okusatu ne ku lunaku olw'omusanvu: ne ku lunaku olw'omusanvu anaamulongoosanga; awo anaayozanga engoye ze, n'anaaba mu mazzi, n'aba mulongoofu akawungeezi.
20 Naye omuntu anaabanga atali mulongoofu n'ateerongoosa, obulamu obwo bunaazikirizibwanga wakati mu kibiina, kubanga ayonoonye awatukuvu wa Mukama: amazzi ag'okwawula tegamansiddwa ku ye; si mulongoofu.
21 Era linaabanga tteeka gye bali eritaliggwaawo: n'oyo anaamansiranga amazzi ag'okwawula anaayozanga engoye ze; n'oyo anaakomanga ku mazzi ag'okwawula anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
22 Na buli kintu atali mulongoofu ky'anaakomangako kinaabanga ekitali kirongoofu: n'obulamu obunaakikomangako bunaabanga obutali bulongoofu.