Okubala

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36

0:00
0:00

Essuula 14

Awo ekibiina kyonna ne bayimusa eddoboozi lyabwe, ne balira; abantu ne bakaaba amaziga ekiro ekyo.
2 Abaana ba Isiraeri bonna ne beemulugunyiza Musa ne Alooni: ekibiina kyonna ne babagamba nti Singa twafiira mu nsi y'e Misiri! oba singa twafiira mu ddungu muno!
3 Era Mukama atuleetera ki mu nsi muno, okugwa n'ekitala? Bakazi baffe n'abaana baffe abato baliba munyago: si kye kisinga obulungi gye tuli okuddayo mu Misiri?
4 Ne bagambagana nti Tweteekerewo omugabe, tuddeyo mu Misiri.
5 Awo Musa ne Alooni ne bavuunama amaaso gaabwe mu maaso g'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri.
6 Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune, abaali ku muwendo gw'abo abaaketta ensi, ne bayuza engoye zaabwe:
7 ne babuulira ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri nga boogera nti Ensi gye twayitamu okugiketta nsi nnungi nnyo.
8 Mukama oba ng'atusanyukira, kale alituyingiza mu nsi omwo, n'agituwa; ensi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki.
9 Kyokka temujeemera Mukama, so temutya bantu ba mu nsi; kubanga kya kulya gye tuli: ekisiikirize kyabwe kiggiddwa waggulu ku bo, era Mukama ali wamu naffe: temubatya.
10 Naye ekibiina kyonna ne balagira okubakuba amayinja. Ekitiibwa kya Mukama ne kirabikira mu weema ey'okusisinkanirangamu eri abaana ba Isiraeri bonna.
11 Mukama n'agamba Musa nti Abantu bano balituusa wa okunnyooma? era balituusa wa obutanzikiriza olw'obubonero bwonna bwe nnakolera mu bo?
12 N'abakuba ne kawumpuli, ne mbaggyako obusika bwabwe, ne nkuggyamu eggwanga eribasinga bo obunene n'amaanyi.
13 Musa n'agamba Mukama nti Kale Abamisiri balikiwulira; kubanga waggya abantu bano mu bo n'amaanyi go n'obalinnyisa;
14 ne bakibuulira abatuula mu nsi muno: baawulira nga ggwe Mukama oli wakati mu bantu bano; kubanga ggwe Mukama olabika amaaso n'amaaso, n'ekire kyo kiyimirira ku bo, n'obakulembera, mu mpagi ey'ekire emisana, ne mu mpagi ey'omuliro ekiro.
15 Kale bw'onotta abantu bano ng'omuntu omu, kale amawanga agaawulira ettutumu lyo balyogera
16 nti Kubanga Mukama teyayinza kuyingiza bantu bano mu nsi gye yabalayirira, kyeyava abattira mu ddungu.
17 Kale kaakano, nkwegayiridde obuyinza bwa Mukama bubeere bungi, nga bwe wayogera
18 nti Mukama alwawo okusunguwala, era ow'okusaasira kungi, asonyiwa obutali butuukirivu n'okusobya, era atalimuggyako musango n'akatono aguliko; awalana obutali butuukirivu bwa bajjajja baabwe ku baana, ku mirembe egy'okusatu n'egy'okuna.
19 Nkwegayiridde, sonyiwa, obutali butuukirivu bw'abantu bano ng'okusaasira kwo bwe kuli okungi, era nga bwe wasonyiwanga abantu bano okuva mu Misiri na guno gujwa.
20 Mukama n'agamba nti Nsonyiye ng'ekigambo kyo bwe kibadde:
21 naye mazima ddala, nga bwe ndi omulamu, era ng'ensi zonna bwe zirijjula ekitiibwa kya Mukama;
22 kubanga abasajja abo bonna abaalaba ekitiibwa kyange n'obubonero bwange bwe nnakolera mu Misiri ne mu ddungu, naye ne bankema emirundi gino ekkumi, ne batawulira ddoboozi lyange;
23 mazima tebaliraba nsi gye nnalayirira bajjajja baabwe, so tewaliba ku abo abannyooma n'omu aligiraba:
24 naye omuddu wange, Kalebu, kubanga ye alina omwoyo omulala mu ye, era ye angobererera ddala, oyo ndimuleeta mu nsi gye yagendamu; n'ezzadde lye lirigirya.
25 Kale Omwamaleki n'Omukanani batuula mu kiwonvu: enkya mukyuke, mwegendere mu ddungu mu kkubo ery'Ennyaaja Emmyufu.
26 Mukama n'agamba Musa ne Alooni nti
27 Ndituusa wa okugumiikiriza ekibiina kino ekibi, abanneemulugunyiza? Mpulidde okwemulugunya kw'abaana ba Isiraeri kwe banneemulugunyiza.
28 Bagambe nti Nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama, mazima nga bwe mwogedde mu matu gange, bwe ntyo bwe nnaabakolanga:
29 emirambo gyammwe girigwa mu ddungu muno; n'abo bonna abaabalibwa ku mmwe, ng'omuwendo gwammwe gwonna bwe gwali, abaali baakamaze emyaka abiri n'okukirawo, abanneemulugunyiza,
30 mazima temulituuka mu nsi, gye nnayimusiriza omukono gwange okubatuuza omwo, wabula Kalebu mutabani wa Yefune, ye Yoswa mutabani wa Nuuni.
31 Naye abaana bammwe abato, be mugambye okuba omunyago, abo ndibayingiza, nabo balimanya ensi gye mugaanyi.
32 Naye mmwe, emirambo gyammwe girigwa mu ddungu muno.
33 N'abaana bammwe banaabanga batambuze mu ddungu okumala emyaka ana, era banaabangako obwenzi bwammwe, okutuusa emirambo gyammwe lwe girizikiririra mu ddungu.
34 Ng'omuwendo gw'ennaku bwe gwali ze mwaketteramu ensi, ze nnaku ana, buli lunaku mwaka, bwe munaabangako bwe mutyo obutali butuukirivu bwammwe, gye myaka ana, era munaamanya nga bwe nnabaabulira.
35 Nze Mukama njogedde, mazima ndikola kino ekibiina kino kyonna ekibi, abankuŋŋaaniddeko: mu ddungu muno mwe balizikiririra, era mwe balifiira.
36 N'abantu Musa be yatuma okuketta ensi, abaakomawo ne bamwemulugunyizisa ekibiina kyonna, nga baleeta ebigambo ebibi ku nsi,
37 abantu abo abaaleeta ebigambo ebibi eby'ensi ne bafa kawumpuli mu maaso ga Mukama.
38 Naye Yoswa mutabani wa Nuuni ne Kalebu mutabani wa Yefune ne basigalawo nga balamu ku bantu abo abaagenda okuketta ensi.
39 Awo Musa n'abuulira abaana ba Isiraeri bonna ebigambo ebyo: abantu ne bawuubaala nnyo.
40 Ne bagolokoka enkya mu makya, ne beegendera ku ntikko y'olusozi nga boogera nti Laba, tutuuno, era tunaayambuka mu kifo Mukama kye yasubiza: kubanga twayonoona.
41 Musa n'agamba nti Kaakano musobeza ki ekiragiro kya Mukama, kubanga tekiibe na mukisa?
42 Temwambuka, kubanga Mukama tali mu mmwe; muleme okukubirwa ddala mu maaso g'abalabe bammwe.
43 Kubanga eyo Omwamaleki n'Omukanani bali mu maaso gammwe, era munaagwa n'ekitala: kubanga mwadda ennyuma obutagoberera Mukama, Mukama kyanaava alema okubeera nammwe.
44 Naye ne beeyinula okulinnya ku ntikko y'olusozi: naye ssanduuko ey'endagaano ya Mukama ne Musa tebaava mu lusiisira.
45 Awo Omwamaleki n'aserengeta, n'Omukanani eyatuula ku lusozi okwo, ne babakuba ne babaseera ddala okutuusa e Koluma.