Matayo

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28

0:00
0:00

Essuula 9

N'asaabala, n'awunguka, n'atuuka mu kibuga ky'ewaabwe.
2 Awo ne bamuleetera omulwadde akoozimbye, ng'agalamizibbwa ku kitanda: naye Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n'agamba oyo akoozimbye nti Mwana wange, guma omwoyo, ebibi byo bikuggiddwako.
3 Kale, laba, abawandiisi abalala ne boogera mu myoyo nti Ono avvoola Katonda.
4 Naye Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n'agamba nti Kiki ekibalowoozesa obubi mu mitima gyammwe?
5 Kubanga ekyangu kiruwa okugamba nti Ebibi byo bikuggiddwako, oba okugamba nti Golokoka otambule?
6 Naye mutegeere ng'Omwana w'omuntu alina obuyinza ku nsi okuggyako ebibi n'agamba oyo akoozimbye nti Yimirira, ositule ekitanda kyo, oddeyo mu nnyumba yo.
7 N'agolokoka, n'agenda ewuwe.
8 Naye ebibiina bwe byalaba ne bitya, ne bigulumiza Katonda, eyawa abantu obuyinza obwenkanidde awo.
9 Yesu bwe yavaayo n'alaba omuntu, ayitibwa Matayo, ng'atudde mu ggwoolezo: n'amugamba nti Yita nange. N'agolokoka, n'ayita naye.
10 Awo olwatuuka bwe yali ng'atudde mu nju ng'alya, laba, ne wajja abawooza bangi, n'abantu ababi bangi, ne batuula wamu ne Yesu n'abayigirizwa be.
11 Abafalisaayo bwe baalaba, ne bagamba abayigirizwa be nti Omuyigiriza wammwe kiki ekimuliisa n'abawooza n'abantu ababi?
12 Naye bwe yawulira, n'agamba nti Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde.
13 Naye mugende muyige amakulu g'ekigambo kino nti Njagala kisa, so si ssaddaaka kubanga sajja kuyita batuukirivu, wabula abantu ababi.
14 Ne walyoka wajja w'ali abayigirizwa ba Yokaana ne bagamba nti Kiki ekitusiibya ffe n'Abafalisaayo emirundi emingi, naye abayigirizwa bo tebasiiba?
15 Yesu n'abagamba nti Abaana ab'omu mbaga ey'obugole bayinza batya okunakuwala awasizza omugole ng'akyali nabo? naye ennaku zigenda okujja awasizza omugole lw'alibaggibwako, ne balyoka basiiba.
16 Tewali muntu atunga kiwero ekiggya mu kyambalo ekikadde; kubanga ekyo ekitungibwamu kiyuza ekyambalo, n'ekituli kyeyongera okugaziwa.
17 So tebafuka mwenge musu mu nsawo za maliba enkadde; kubanga bwe bakola bwe batyo, ensawo ez'amaliba ziyulika, n'omwenge guyiika, n'ensawo ez'amaliba zifaafaagana: naye bafuka omwenge omusu mu nsawo ez'amaliba empya, byombi birama.
18 Bwe yali ng'aky’abagamba ebigambo ebyo, ne wajja omwami omu, n'amusinza n'agamba nti Muwala wange kaakano afudde: naye jjangu omuteekeko omukono, anaalamuka.
19 Yesu n'agolokoka n'amugoberera, n'abayigirizwa be.
20 Awo omukazi eyali alwalidde ekikulukuto ky'omusaayi emyaka kkumi n'ebiri, n'ajja ennyuma we, n'akoma ku lukugiro lw'ekyambalo kye:
21 kubanga yayogera mu mwoyo gwe nti Bwe nnaakoma obukomi ku kyambalo kye nnaawona.
22 Naye Yesu bwe yakyuka n'amulaba, n'agamba nti Mwana wange, guma omwoyo; okukkiriza kwo kukuwonyezza. Omukazi n'awona okuva mu kiseera ekyo.
23 Yesu bwe yatuuka mu nju y'omwami oyo, n'alaba abafuuwa endere, n'ekibiina nga bakuba ebiwoobe,
24 n'agamba nti Muveewo: kubanga omuwala tafudde, yeebase bwe basi. Ne bamusekerera nnyo.
25 Naye ekibiina bwe kyamala okugobebwawo, n'ayingira, n'amukwata ku mukono; omuwala n'agolokoka.
26 Ebigambo ebyo ne bibuna mu nsi eri yonna.
27 Naye Yesu bwe yavaayo, abazibe b'amaaso babiri ne bamugoberera, nga boogerera waggulu nga bagamba nti Tusaasire, ggwe omwana wa Dawudi.
28 Bwe yatuuka mu nju, abazibe b'amaaso ne bajja gy'ali: Yesu n'abagamba nti Mukkirizza nga nnyinza okukola kino? ne bamugamba nti Weewaawo, Mukama waffe.
29 N'alyoka akoma ku maaso gaabwe ng'agamba nti Nga bwe mukkirizza kibeere gye muli bwe kityo.
30 Amaaso gaabwe ne gazibuka. Yesu n'abakuutira ng'agamba nti Mulabe tewaba muntu amanya.
31 Naye ne bafuluma, ne babunya ebigambo bye mu nsi eri yonna.
32 Awo bwe baali bafuluma ne bamuleetera kasiru, ng'aliko dayimooni.
33 N'agoba dayimooni, kasiru n'ayogera; ebibiina ne byewuunya, ne bigamba nti Edda n'edda tewalabikanga bwe kiti mu Isiraeri.
34 Naye Abafalisaayo ne bagamba nti Agoba dayimooni ku bwa mukulu wa dayimooni.
35 Yesu n'ayitayita mu bibuga byonna, n'embuga zonna, ng'ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, ng'abuulira enjiri ey'obwakabaka, ng'awonya endwadde zonna n'obunafu bwonna.
36 Naye bwe yalaba ebibiina, n'abisaasira, kubanga baali bakooye nnyo nga basaasaanye, ng'endiga ezitalina musumba.
37 N'alyoka agamba abayigirizwa be nti Eby'okukungula bye bingi, naye abakozi be batono.
38 Kale musabe Omwami w'eby'okukungula, asindike abakozi mu by'okukungula bye.