Matayo

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28

0:00
0:00

Essuula 26

Awo olwatuuka Yesu bwe yamala ebigambo ebyo byonna, n'agamba abayigirizwa be nti
2 Mumanyi nti olw'ebbiri walibaawo Okuyitako, n'Omwana w'omuntu aliweebwayo okukomererwa.
3 Awo bakabona abakulu n'abakadde b'abantu ne bakuŋŋaanira mu kigango kya kabona asinga obukulu, eyayitibwa Kayaafa;
4 ne bateeseza wamu Yesu okumukwasa amagezi, bamutte.
5 Naye ne bagamba nti Tuleme okumukwatira ku lunaku olukulu, abantu baleme okukaayana.
6 Naye Yesu bwe yali mu Bessaniya, mu nju ya Simooni omugenge,
7 omukazi n'ajja gy'ali, eyalina eccupa ey'amafuta ag'omugavu ag'omuwendo omungi ennyo, n'agamufuka ku mutwe, ng'atudde alya.
8 Naye abayigirizwa bwe baalaba, ne banyiiga ne bagamba nti Gafudde ki gano?
9 Kubanga gano singa gatundiddwa gandivuddemu ebintu bingi, okuwa abaavu.
10 Naye Yesu bwe yategeera n'abagamba nti Munakuwaliza ki omukazi? kubanga ankoze ekigambo ekirungi.
11 Kubanga abaavu be muli nabo bulijjo; naye temuli nange bulijjo.
12 Kubanga bw'afuse amafuta gano ku mubiri gwange, anziraze okunziika.
13 Mazima mbagamba nti Enjiri eno buli gy'eneebuulirwanga mu nsi zonna, n'ekyo omukazi ono ky'akoze kinaayogerwangako okumujjukira.
14 Awo omu ku abo ekkumi n'ababiri, eyayitibwa Yuda Isukalyoti, n'agenda eri bakabona abakulu,
15 n'agamba nti Mukkiriza kumpa ki, nange ndimuwaayo gye muli? Ne bamugerera ebitundu bya ffeeza amakumi asatu.
16 N'asookera awo okunoonya ebbanga bw'anaamuwaayo.
17 Naye ku lunaku olusookerwako olw'emigaati egitazimbulukuswa, abayigirizwa ne bajja eri Yesu, ne bagamba nti Oyagala tuteekereteekere wa Okuyitako gy'onookuliira?
18 N'agamba nti Mugende mu kibuga ewa gundi, mumugambe nti Omuyigiriza agambye nti Ekiseera kyange kinaatera okutuuka; ewuwo gye nnaaliira Okuyitako n'abayigirizwa bange.
19 Abayigirizwa ne bakola nga Yesu bw'abalagidde; ne bateekateeka Okuyitako.
20 Awo obudde bwe bwawungeera, n'atuula okulya n'abayigirizwa ekkumi n'ababiri;
21 era baali balya; n'agamba nti Mazima mbagamba nti omu ku mmwe anandyamu olukwe.
22 Ne banakuwala nnyo, ne batanula kinnoomu okumugamba nti Mukama wange, ye nze?
23 Naye n'addamu n'agamba nti Oyo akozezza awamu nange mu kibya, ye anandyamu olukwe.
24 Omwana w'omuntu agenda, nga bwe yawandiikirwa: naye zisanze omuntu oyo anaalyamu olukwe Omwana w'omuntu! kyandibadde kirungi eri oyo singa teyazaalibwa omuntu oyo.
25 Yuda, eyamulyamu olukwe, n'addamu n'agamba nti Labbi, ye nze? N'amugamba nti Ggwe oyogedde.
26 Era baali bakyalya, Yesu n'atoola omugaati, ne yeebaza, n'agumenyamu; n'awa abayigirizwa, n'agamba nti Mutoole, mulye; guno gwe mubiri gwange.
27 N'atoola ekikompe, ne yeebaza, n'abawa, ng'agamba nti Munywe ku kino mwenna;
28 kubanga kino gwe musaayi gwange ogw'endagaano, oguyiika ku lw'abangi olw'okuggyawo ebibi.
29 Naye mbagamba nti Sirinywa n'akatono okusooka leero ku guno ogubala ku muzabbibu, okutuusa ku lunaku luli lwe ndigunywa omuggya awamu nammwe mu bwakabaka bwa Kitange.
30 Bwe baamala okuyimba ne bafuluma okugenda ku lusozi olwa Zeyituuni.
31 Awo Yesu n'abagamba nti Mmwe mwenna muneesittala ku lwange ekiro kino: kubanga kyawandiikibwa nti Ndikuba omusumba, n'endiga ez'omu kisibo zirisaasaanyizibwa.
32 Naye bwe ndimala okuzuukizibwa, ndibakulembera okugenda e Ggaliraaya.
33 Naye Peetero n'addamu n'amugamba nti Bonna bwe baneesittala ku lulwo, nze seesittale n'akatono.
34 Yesu n'amugamba nti Mazima nkugamba nti Mu kiro kino, enkoko eneeba tennakookolima, ononneegaana emirundi esatu.
35 Peetero n'amugamba nti Newakubadde nga kiiŋŋwanira okufiira awamu naawe, siikwegaane n'akatono. N'abayigirizwa bonna ne boogera bwe batyo.
36 Awo Yesu n'atuuka nabo mu kifo ekiyitibwa Gesusemane, n'agamba abayigirizwa be nti Mutuule wano, ŋŋende eri nsabe.
37 N'atwala Peetero n'abaana ba Zebbedaayo bombi, n'atanula okunakuwala n'okweraliikirira ennyo.
38 Awo n'abagamba nti Omwoyo gwange guliko ennaku nnyingi, zigenda kunzita : mubeere wano, mutunule nange.
39 N'atambulako katono, n'avuunama, n'asaba, n'agamba nti Ai Kitange, ekikompe kino kinveeko, oba kiyinzika: naye si nga nze bwe njagala wabula nga ggwe bw’oyagala.
40 Nadda eri abayigirizwa, n'abasanga nga beebase, n'agamba Peetero nti Kazzi temuyinzizza kutunula nange n'essaawa emu?
41 Mutunule musabe, muleme okuyingira mu kukemebwa: omwoyo gwe gwagala naye omubiri gwe munafu.
42 Nate n'agenda omulundi ogw'okubiri, n'asaba, ng'agamba nti Ai Kitange, oba nga kino tekiyinza kunvaako, wabula nze okukinywa, ky'oyagala kikolebwe.
43 N'ajja nate n'abasanga nga beebase, kubanga amaaso gaabwe gaali gakambagga.
44 N'abaleka nate, n'agenda, n'asaba omulundi ogw'okusatu, n'ayogera nate ebigambo bimu na biri.
45 Awo n'ajja eri abayigirizwa, n'abagamba nti Mwebakire ddala kaakano, muwummule: laba, ekiseera kinaatera okutuuka, n'Omwana w'omuntu aweereddwayo mu mikono gy'abalina ebibi.
46 Muyimuke tugende: laba, andyamu olukwe anaatera okutuuka.
47 Yali akyayogera, laba, Yuda, omu ku kkumi n'ababiri, n'ajja, ng'alina ebibiina bingi ebirina ebitala n'emiggo, nga bava eri bakabona abakulu n'abakadde b'abantu.
48 Naye oyo amulyamu olukwe yabawa akabonero, ng'agamba nti Gwe nnaanywegera, nga ye wuuyo: mumukwate.
49 Amangu ago n'ajja awali Yesu, n'agamba nti Mirembe, Labbi; n'amunywegera nnyo.
50 Yesu n'amugamba nti Munnange, kola ky'ojjiridde. Awo ne bajja, Yesu ne bamussaako emikono, ne bamukwata.
51 Laba, omu ku abo abaali ne Yesu, n'agolola omukono, n'asowola ekitala kye, n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n'amusalako okutu.
52 Awo Yesu n'amugamba nti Ekitala kyo kizze mu kifo kyakyo: kubanga abo bonna abakwata ekitala balifa kitala.
53 Oba olowooza nti ssiyinza kwegayirira Kitange, naye n'ampeereza kaakano bamalayika okusinga liigyoni ekkumi n'ebbiri?
54 Kale binaatuukirira bitya ebyawandiikibwa nti kigwanira okuba bwe bityo?
55 Mu kiseera ekyo Yesu n'agamba ebibiina nti Muli ng'abajjiridde omunyazi n'ebitala n'emiggo okunkwata? Nnatuulanga buli lunaku mu yeekaalu nga njigiriza, ne mutankwata.
56 Naye kino kyonna kituuse, bannabbi bye baawandiika era bituukirizibwe. Awo abayigirizwa bonna ne bamwabulira, ne badduka.
57 Ne bali abaakwata Yesu, ne bamutwala ewa Kayaafa kabona asinga obukulu, abawandiisi n'abakadde gye baakuŋŋaanira.
58 Naye Peetero n'amuvaako ennyuma wala, okutuuka mu kigango kya kabona asinga obukulu, n'ayingira munda, n'atuula n'abaweereza, alabe we binakkira.
59 Naye bakabona abakulu n'ab'omu lukiiko bonna ne banoonya obujulirwa obw'obulimba ku Yesu, balyoke bamutte;
60 ne batabulaba, newakubadde ng'abajulirwa ab'obulimba bangi abajja. Naye oluvannyuma ne bajja babiri,
61 ne bagamba nti Ono yagamba nti Nnyinza okumenya yeekaalu ya Katonda, n'okugizimbira ennaku ssatu.
62 Kabona asinga obukulu n'ayimirira, n'amugamba nti Toyanukula n'akatono? kigambo ki bano kye bakulumiriza?
63 Naye Yesu n'asirika. Kabona asinga obukulu n'amugamba nti Nkulayiza Katonda omulamu, tubuulire oba nga ggwe Kristo, Omwana wa Katonda.
64 Yesu n'amugamba nti Oyogedde: naye mbagamba nti Okusooka leero muliraba Omwana w'omuntu ng'atudde ku mukono ogwa ddyo ogw'amaanyi, ng'ajjira ku bire eby'eggulu.
65 Awo kabona asinga obukulu n'ayuza ebyambalo bye, n'agamba nti Avvodde Katonda: twagalira ki nate abajulirwa? laba, muwulidde kaakano obuvvoozi bwe:
66 mulowooza mutya? Ne baddamu ne bagamba nti Agwanidde kufa.
67 Awo ne bamuwandira amalusu mu maaso ge, ne bamukuba ebikonde: abalala ne bamukuba empi
68 nga bagamba nti Tulagule Kristo: ani akukubye?
69 Naye Peetero yali atudde bweru mu kigango: omuwala n'ajja gy'ali, n'agamba nti Naawe wali wamu ne Yesu Omugaliraaya.
70 Naye ne yeegaanira mu maaso ga bonna ng'agamba nti Ky'ogamba sikimanyi.
71 Naye bwe yafuluma okutuuka mu kisasi, omuwala omulala n'amulaba n'agamba abantu abaali awo nti N'ono yali wamu ne Yesu Omunazaaleesi.
72 Ne yeegaana nate, n'alayira nti Omuntu oyo simumanyi.
73 Newayitawo ebbanga ttono, abaali bayimiridde awo ne bajja ne bagamba Peetero nti Mazima naawe oli munnaabwe; kubanga enjogera yo ekutegeezezza.
74 Awo n'atanula okukolima n'okulayira nti Omuntu oyo simumanyi. Amangu ago enkoko n'ekookolima.
75 Peetero n'ajjukira ekigambo Yesu kye yagamba nti Enkoko eneeba tennaba kukookolima ononneegaanira emirundi esatu. N'afuluma ebweru, n'akaaba nnyo amaziga.