Matayo

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28

0:00
0:00

Essuula 12

Awo mu biro ebyo Yesu n'ayita mu nnimiro y'eŋŋaano ku ssabbiiti; abayigirizwa be ne balumwa enjala, ne batandika okunoga ebirimba by'eŋŋaano, ne balya.
2 Naye Abafalisaayo bwe baalaba, ne bamugamba nti Laba, abayigirizwa bo bakola eky'omuzizo okukolera ku ssabbiiti.
3 Naye n'abagamba nti Temusomanga Dawudi bwe yakola, bwe yalumwa enjala, ne be yali nabo;
4 bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda, n'alya emigaati egy'okulaga egyali egy’omuzizo ye okugirya newakubadde be yali nabo, wabula bakabona bokka?
5 Nantiki temusomanga mu mateeka, bakabona mu yeekaalu ku ssabbiiti bwe baasobya ssabbiiti, so tebazza musango?
6 Naye mbagamba nti ali wano asinga yeekaalu obukulu.
7 Naye singa mumanyi amakulu ga kino nti Njagala ekisa, so si ssaddaaka, temwandinenyezza abatazzizza musango.
8 Kubanga Omwana w'omuntu ye mukama wa ssabbiiti.
9 N'avaayo, n'ajja mu kkuŋŋaaniro lyabwe:
10 era, laba, mwalimu omuntu eyalina omukono ogukaze. Ne bamubuuza, nga bagamba nti Kirungi okuwonyeza omuntu ku ssabbiiti? era bamuwawaabire.
11 N'abagamba nti Ani mu mmwe, bw'aliba n'endiga ye emu n'emala egwa mu bunnya ku ssabbiiti, ataligikwata atagiggyamu?
12 Omuntu tasinga nnyo ndiga? Kale kirungi okukola obulungi ku ssabbiiti.
13 N'alyoka agamba omuntu oyo nti Golola omukono gwo. N'agugolola; ne guwona, ne guba ng'ogw'okubiri.
14 Naye Abafalisaayo ne bafuluma, ne bamwekobaana bwe banaamuzikiriza.
15 Yesu bwe yategeera n'avaayo: abantu bangi ne bagenda naye; n'awonya bonna,
16 n'abakomako baleme okumwatiikiriza:
17 kituukirire ekyayogererwa mu Isaaya nnabbi nti
18 Laba mulenzi wange gwe nnalondamu; Gwe njagala, ansanyusa emmeeme yange: Ndimuteekako Omwoyo gwange, Alibuulira amawanga omusango.
19 Taliyomba, so talireekaana; So tewaliba muntu aliwulira eddoboozi lye mu nguudo.
20 Olumuli olwatifu talirumenya, So n'enfuuzi ezinyooka talizizikiza, Okutuusa lw'alisindika omusango okuwangula.
21 N'erinnya lye amawanga galirisuubira.
22 Awo ne bamuleetera omuntu aliko dayimooni, ng'azibye amaaso n'omumwa: n'amuwonya, oyo eyali azibye omumwa n'ayogera n'alaba.
23 Ebibiina ne bisamaalirira byonna, ne byogera nti Ono ye mwana wa Dawudi?
24 Naye Abafalisaayo bwe baawulira, ne boogera nti Oyo tagoba dayimooni, wabula ku bwa Beeruzebuli omukulu wa dayimooni.
25 Bwe yamanya okulowooza kwabwe n'abagamba nti Buli bwakabaka bwe bwawukana bwokka na bwokka buzika; na buli kibuga oba nnyumba bw'eyawukana yokka na yokka terirwawo:
26 ne Setaani bw'agoba Setaani ayawukana yekka na yekka; n'obwakabaka bwe bulirwawo butya?
27 Oba nga nze ngoba dayimooni ku bwa Beeruzebuli, abaana bammwe bagigoba ku bw'ani? kale abo be balibasalira omusango.
28 Naye oba nga nze ngoba dayimooni ku bw'Omwoyo gwa Katonda, kale obwakabaka bwa Katonda bubajjidde.
29 Oba omuntu ayinza atya okuyingira mu nju y'omuntu ow'amaanyi, n'anyaga ebintu bye, wabula ng'asoose kusiba ow'amaanyi oli? n'alyoka anyaga enju ye.
30 Omuntu atabeera nange mulabe wange; era omuntu atakuŋŋaanyiza wamu nange asaasaanya.
31 Kyenva mbagamba nti Abantu balisonyiyibwa buli kibi n'eky'okuvvoola, naye okuvvoola Omwoyo tekulisonyiyika.
32 Buli muntu alivvoola Omwana w'omuntu alisonyiyibwa; naye buli muntu alivvoola Omwoyo Omutukuvu talisonyiyibwa, newakubadde mu mirembe egya kaakano, newakubadde mu mirembe egigenda okujja.
33 Oba mufuule omuti omulungi, n'ebibala byagwo bibe birungi; oba mufuule omuti omubi, n'ebibala byagwo bibe bibi: kubanga omuti gutegeererwa ku bibala byagwo.
34 Mmwe abaana b'emisota, muyinza mutya okwogera ebigambo ebirungi nga muli babi? kubanga ku ebyo ebijjula mu mutima, akamwa bye koogera.
35 Omuntu omulungi ebirungi abiggya mu tterekero lye eddungi: n'omuntu omubi ebibi abiggya mu tterekero lye ebbi.
36 Era mbagamba nti Buli kigambo ekitaliimu abantu kye boogera, balikiwoleza ku lunaku olw'omusango.
37 Kubanga ebigambo byo bye birikuweesa obutuukirivu, n'ebigambo byo bye birikusinza omusango.
38 Awo abawandiisi abalala n'Abafalisaayo ne bamuddamu ne bagamba nti Omuyigiriza, twagala otulage akabonero tukalabe.
39 Naye n'addamu n'abagamba nti Ab'emirembe emibi era egy'obwenzi banoonya akabonero: so tebaliweebwa kabonero wabula akabonero ka nnabbi Yona:
40 kuba nga Yona bwe yamala ennaku essatu, emisana n'ekiro, mu lubuto lwa lukwata; bw'atyo n'Omwana w'omuntu bw'alimala ennaku essatu, emisana n'ekiro, mu mutima gw'ettaka.
41 Abantu ab'e Nnineeve baliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, era balibasinza omusango: kubanga Yona bwe yababuulira ne beenenya; era, laba, asinga Yona ali wano.
42 Kabaka omukazi ow'omu bukiika obwa ddyo aliyimirira mu musango wamu n'abantu ab'emirembe gino, era alibasinza omusango; kubanga yava ku nkomerero y'ensi okuwulira amagezi ga Sulemaani; era, laba, asinga Sulemaani ali wano.
43 Naye dayimooni omubi bw'ava mu muntu, atambula mu nsenyi enkalu, nga anoonya aw'okuwummulira, naye n'abulwa.
44 Kale agamba nti Naddayo mu nnyumba yange mwe nnava; bw'atuukamu, agiraba nga njereere, enyiridde, ng'erongoosebbwa.
45 Awo agenda, n'aleeterako dayimooni abalala musanvu abamusinga obubi, nabo bwe bayingira babeera omwo: n'eby'oluvannyuma eby'omuntu oyo birisinga obubi eby'olubereberye. Bwe kiriba bwe kityo eri ab'emirembe gino emibi.
46 Bwe yali ng'akyayogera n'ebibiina, laba, nnyina ne baganda be baali bayimiridde bweru, nga baagala kwogera naye.
47 Omuntu n'amugamba nti Laba, nnyoko ne baganda bo bayimiridde bweru, baagala kwogera naawe.
48 Naye n'addamu n'agamba oyo amubuulidde nti Ani mmange? be baani baganda bange?
49 N'agolola omukono eri abayigirizwa be, n'agamba nti Laba, mmange ne baganda bange!
50 Kubanga buli akola Kitange ali mu ggulu by'ayagala, ye muganda wange, ye mwannyinaze, ye mmange.