Matayo
Essuula 15
Awo ne bajja eri Yesu Abafalisaayo n'abawandiisi abaava mu Yerusaalemi, nga bagamba nti
2 Abayigirizwa bo kiki ekiboonoonyesa obulombolombo bwe twaweebwa abakadde? kubanga tebanaaba mu ngalo nga balya emmere.
3 N'addamu n'abagamba nti Nammwe kiki ekiboonoonyesa etteeka lya Katonda olw'obulombolombo bwe mwaweebwa?
4 Kubanga Katonda yagamba nti Ossangamu ekitiibwa kitaawo ne nnyoko: nate nti Avumanga kitaawe oba nnyina, bamuttanga bussi.
5 Naye mmwe mugamba nti Buli aligamba kitaawe oba nnyina nti Kyonna kye nnandikuwadde okukugasa, nkiwadde Katonda,
6 alireka okussaamu ekitiibwa kitaawe. Mwadibya ekigambo kya Katonda olw'obulombolombo bwammwe bwe mwaweebwa.
7 Mmwe bannanfuusi, Isaaya yalagula bulungi ku mmwe, ng'agamba nti
8 Abantu bano banzisaamu ekitiibwa kya ku mimwa; Naye omutima gwabwe gundi wala.
9 Naye bansinziza bwereere, Nga bayigiriza amateeka g'abantu nga bye by'okukwata.
10 N'ayita ekibiina, n'abagamba nti Muwulire, mutegeere:
11 ekiyingira mu kamwa si kye kyonoona omuntu; naye ekiva mu kamwa, ekyo kye kyonoona omuntu.
12 Awo abayigirizwa ne bajja, ne bamugamba nti Omanyi Abafalisaayo nga baanyiiga, bwe baawulira ekigambo ekyo?
13 Naye n'addamu n'agamba nti Buli kisimbe Kitange ow'omu ggulu ky'ataasimba, kirisimbulibwa.
14 Mubaleke: be basaale abatalaba. Naye omuzibe w'amaaso bw'akulembera muzibe munne bombi baligwa mu bunnya.
15 Peetero n'addamu n'amugamba nti Tunnyonnyole olugero olwo.
16 Naye n'agamba nti Era nammwe temunnaba kuba na magezi.
17 Temutegeera nti buli ekiyingira mu kamwa kigenda mu lubuto, ne kisuulibwa mu kiyigo?
18 Naye ebifuluma mu kamwa biva mu mutima; n'ebyo bye byonoona omuntu.
19 Kubanga mu mutima mwe muva ebirowoozo ebibi, obussi, obwenzi, obukaba, obubbi, okuwaayiriza, okuvuma:
20 ebyo bye byonoona omuntu: naye okulya nga tanaabye mu ngalo tekwonoona muntu.
21 Yesu n'avaayo, n'agenda ku njuyi z'e Ttuulo n'e Sidoni.
22 Kale, laba, omukazi Omukanani n'ava ku mbibi eyo, n'ayogerera waggulu ng'agamba nti Onsaasire Mukama wange, omwana wa Dawudi; muwala wange alwadde nnyo dayimooni.
23 Naye n'atamuddamu kigambo. Abayigirizwa be ne bajja ne bamwegayirira, nga bagamba nti Musiibule; kubanga atuleekaanira emabega.
24 Naye n'addamu n'agamba nti Saatumibwa wabula eri endiga ezaabula ez'omu nnyumba ya Isiraeri.
25 Naye n'ajja, n'amusinza, ng'agamba nti Mukama wange, mbeera.
26 N'addamu n'agamba nti Si kirungi okuddira emmere y'abaana n'okugisuulira obubwa.
27 Naye n'agamba nti Weewaawo, Mukama wange: kubanga n'obubwa bulya obukunkumuka obugwa okuva ku mmeeza ya bakama baabwo.
28 Yesu n'alyoka addamu n'amugamba nti Ggwe omukazi, okukkiriza kwo kunene: kibeere gy'oli nga bw'oyagala. Muwala we n'awona okuva mu kiseera ekyo.
29 Yesu n'avaayo, n'ajja ku ttale ly'ennyanja y'e Ggaliraaya; n'alinnya ku lusozi, n'atuula okwo.
30 Ebibiina bingi ne bijja gy'ali, nga birina abawenyera, n'abazibe b'amaaso, ne bakasiru, n'abalema, n'abalala bangi, ne babassa awali ebigere bye; n'abawonya:
31 ekibiina n'okwewuunya ne beewuunya, bwe baalaba bakasiru nga boogera, abalema nga balamu, abawenyera nga batambula, n'abazibe b'amaaso nga balaba: ne bagulumiza Katonda wa Isiraeri.
32 Yesu n'ayita abayigirizwa be, n'agamba nti Nsaasira abantu kubanga leero baakamala nange ennaku ssatu nga tebalina kya kulya: n'okubasiibula nga balina enjala sikyagala, wozzi banaazirikira mu kkubo.
33 Abayigirizwa ne bamugamba nti Tunaggya wa emigaati emingi bwe giti mu ddungu, okukkusa ekibiina ekinene ekyenkana wano?
34 Yesu n'abagamba nti Mulina emigaati emeka? Ne bagamba nti Musanvu, n'ebyennyanja ebitono si bingi.
35 N'alagira ekibiina okutuula wansi;
36 n'atoola emigaati musanvu n'ebyennyanja; ne yeebaza n'amenyamu n'awa abayigirizwa, abayigirizwa ne bagabira ebibiina.
37 Ne balya bonna, ne bakkuta: ne bakuŋŋaanya obukunkumuka obwasigalawo, ebisero musanvu ebyajjula.
38 N'abo abaalya baali abasajja enkumi nnya, abakazi n'abaana obutabassaako.
39 N'asiibula ebibiina, n'asaabala mu lyato, n'ajja mu mbibi y'e Magadani.