Matayo

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28

0:00
0:00

Essuula 10

N'ayita abayigirizwa be ekkumi n'ababiri, n'abawa obuyinza ku dayimooni omubi, okumugobanga, n'okuwonyanga endwadde zonna n'obunafu bwonna.
2 Abatume abo ekkumi n'ababiri, amannya gaabwe ge gano: eyasooka ye Simooni, ayitibwa Peetero, ne Andereya muganda we; Yakobo omwana wa Zebbedaayo, ne Yokaana muganda we;
3 Firipo, ne Battolomaayo; Tomasi, ne Matayo omuwooza; Yakobo omwana wa Alufaayo, ne Saddayo;
4 Simooni Omukananaayo, ne Yuda Isukalyoti, ye yamulyamu olukwe.
5 Yesu n'abatuma abo ekkumi n'ababiri n'ababuulirira, ng'agamba nti Temugendanga mu makubo g'ab'amawanga, so temuyingiranga mu bibuga by'Abasamaliya;
6 naye waakiri mugende eri endiga ezaabula ez'omu nnyumba ya Isiraeri.
7 Bwe mubanga mutambula mubuulirenga nga mugamba nti Obwakabaka obw'omu ggulu bunaatera okutuuka.
8 Muwonyenga abalwadde, muzuukizenga abafu, mulongoosenga abagenge, mugobenga dayimooni: mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa.
9 Temubeeranga na zaabu, newakubadde effeeza, newakubadde ebikomo mu nkoba zammwe;
10 so n'ensawo etambula, newakubadde ekkanzu ebbiri, newakubadde engatto, newakubadde omuggo: kubanga akola emirimu asaanira okuweebwa emmere ye.
11 Naye buli kibuga kye munaayingirangamu, oba mbuga, munoonyeengamu omuntu bw'ali asaana; musulanga omwo okutuusa lwe mulivaayo.
12 Bwe munaayingiranga mu nju, mugiramusenga.
13 Enju bw'esaananga, emirembe gyammwe gijjenga ku yo: naye bw'etasaananga, emirembe gyammwe giddenga gye muli.
14 Era omuntu bw'atabasembezanga newakubadde okuwulira ebigambo byammwe bwe muvanga mu nju eyo oba mu kibuga ekyo, mukunkumulanga enfuufu ey'omu bigere byammwe.
15 Ddala mbagamba nti ensi ya Sodoma ne Ggomola eriba n'okubonyaabonyezebwa okuligumiikirizika ku lunaku olw'omusango, okukira ekibuga ekyo.
16 Laba, nze mbatuma ng'endiga wakati mu misege: kale mubanga n'amagezi ng'emisota, era mubanga ng'amayiba obutaba na bukuusa.
17 Naye mwekuumanga abantu: kubanga balibawaayo mu nkiiko, ne mu makuŋŋaaniro gaabwe balibakubiramu;
18 era mulitwalibwa eri abaamasaza n'eri bakabaka okubalanga nze, okuba obujulirwa eri bo n'ab'amawanga.
19 Naye bwe banaabawangayo, temweraliikiranga nti Tunaagamba tutya? nti Tunaayogera ki? kubanga muliweebwa mu kiseera ekyo bye mulyogera.
20 Kubanga si mmwe mwogera, wabula Omwoyo gwa Kitammwe ye ayogerera mu mmwe.
21 Ow'oluganda anaawangayo muganda we okufa, ne kitaawe omwana: n’abaana banaajeemeranga ababazaala, n’okubassa.
22 Munaakyayibwanga abantu bonna okubalanga erinnya lyange: naye alinyiikira okutuuka ku nkomerero, ye alirokoka.
23 Bwe babagobanga mu kibuga ekyo, muddukira mu ky'okubiri: kubanga ddala mbagamba nti Temulibunya bibuga bya Isiraeri, okutuusa Omwana w'omuntu lw'alijja.
24 Omuyigirizwa tasinga amuyigiriza, so n'omuddu tasinga mukama we.
25 Kimumala omuyigirizwa okuba ng'amuyigiriza, n'omuddu okuba nga mukama we. Oba nga bayise nannyini nju Beeruzebuli, tebalisinzaawo abo abali mu nju ye?
26 Kale temubatyanga: kubanga tewali kigambo ekyabikibwa, ekitalibikkulwa, newakubadde ekyakwekebwa, ekitalimanyibwa.
27 Kye mbagambira mu kizikiza, mukyogereranga mu musana: kye muwulira mu kutu, mukibuuliriranga waggulu ku nnyumba.
28 So temubatyanga abatta omubiri, naye nga tebayinza kutta bulamu: naye mumutyenga ayinza okuzikiririza obulamu n'omubiri mu Ggeyeena.
29 Enkazaluggya ebbiri tebazitundamu ppeesa limu? era tewaliba n'emu ku zo erigwa wansi Kitammwe nga tamanyi:
30 era n'enviiri zammwe ez'oku mutwe zaabalibwa zonna.
31 Kale temutyanga; mmwe musinga enkazaluggya ennyingi.
32 Kale buli muntu yenna alinjatulira mu maaso g'abantu, nange ndimwatulira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
33 Naye yenna alinneegaanira mu maaso g'abantu, nange ndimwegaanira mu maaso ga Kitange ali mu ggulu.
34 Temulowooza nti najja kuleeta mirembe ku nsi: sajja kuleeta mirembe, wabula ekitala.
35 Kubanga najja kwawukanya omwana ne kitaawe, omuwala ne nnyina, omugole ne nyazaala we;
36 abalabe b'omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye.
37 Ayagala kitaawe oba nnyina okubasinza nze, tansaanira; ayagala mutabani oba muwala we okubasinza nze, tansaanira.
38 N'oyo atakwata musalaba gwe n'agoberera ennyuma wange, tansaanira.
39 Alaba obulamu bwe alibubuza; abuza obulamu bwe ku lwange alibulaba.
40 Akkiriza mmwe ng'akkirizza nze, akkiriza nze ng'akkirizza eyantuma.
41 Akkiriza nnabbi mu linnya lya nnabbi aliweebwa empeera ya nnabbi; naye akkiriza omutuukirivu mu linnya ly'omutuukirivu aliweebwa empeera y'omutuukirivu.
42 Era buli amuwa okunywa omu ku abo abatono ekikompe ky'amazzi amannyogovu kyokka, mu linnya ly'omuyigirizwa, mazima mbagamba nti empeera ye terimubula n'akatono.