Matayo

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28

0:00
0:00

Essuula 1

Ekitabo eky'okuzaalibwa kwa Yesu Kristo, omwana wa Dawudi, omwana wa Ibulayimu.
2 Ibulayimu yazaala lsaaka; Isaaka n'azaala Yakobo; Yakobo n'azaala Yuda ne baganda be;
3 Yuda n'azaala Pereezi ne Zeera mu Tamali; Pereezi n'azaala Keezulooni; Keezulooni n'azaala Laamu;
4 Laamu n'azaala Amminadaabu; Amminadaabu n'azaala Nasoni; Nasoni n'azaala Salumooni;
5 Salumooni n'azaala Bowaazi mu Lakabu; Bowaazi n'azaala Obedi mu Luusi; Obedi n'azaala Yese;
6 Yese n'azaala Dawudi kabaka. Dawudi n'azaala Sulemaani mu muka Uliya;
7 Sulemaani n'azaala Lekobowaamu; Lekobowaamu n'azaala Abiya; Abiya n'azaala Asa;
8 Asa n'azaala Yekosafaati; Yekosafaati n'azaala Yolaamu; Yolaamu n'azaala Uzziya;
9 Uzziya n'azaala Yosamu; Yosamu n'azaala Akazi; Akasi n'azaala Kezeekiya;
10 Kezeekiya n'azaala Manaase; Manaase n'azaala Amoni; Amoni n'azaala Yosiya;
11 Yosiya n'azaala Yekoniya ne baganda be, mu biro eby'okutwalibwa e Babulooni.
12 Oluvannyuma olw'okutwalibwa e Babulooni, Yekoniya n'azaala Seyalutyeri; Seyalutyeri n'azaala Zerubbaberi;
13 Zerubbaberi n'azaala Abiwuudi; Abiwuudi n'azaala Eriyakimu; Eriyakimu n'azaala Azoli;
14 Azoli n'azaala Sadoki; Sadoki n'azaala Akimu; Akimu n'azaala Eriwuudi;
15 Eriwuudi n'azaala Ereyazaali; Ereyazaali n'azaala Mataani; Mataani n'azaala Yakobo;
16 Yakobo n'azaala Yusufu, eyali bba Malyamu, eyazaala Yesu ayitibwa Kristo.
17 Bwe gityo emirembe gyonna, okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi, emirembe kkumi n'ena; nate, okuva ku Dawudi okutuuka ku kutwalibwa e Babulooni, emirembe kkumi n'ena; nate, okuva ku kutwalibwa e Babulooni okutuuka ku Kristo, emirembe kkumi n'ena.
18 N'okuzaalibwa kwa Yesu Kristo kwali bwe kuti. Malyamu nnyina bwe yali ng'akyayogerezebwa Yusufu, baali nga tebannaba kufumbiriganwa, n'alabika ng'ali lubuto olw'Omwoyo Omutukuvu.
19 Awo Yusufu bba, kubanga yali muntu mutuukirivu, n'atayagala kumukwasa nsonyi, yali alowooza okumulekayo kyama.
20 Laba bwe yali alowooza bw'atyo, malayika wa Mukama n'ajja gy'ali mu kirooto, n'amugamba nti Yusufu omwana wa Dawudi, totya kutwala Malyamu mukazi wo, kubanga olubuto lwe lwa Mwoyo Mutukuvu.
21 Naye alizaala omwana wa bulenzi; naawe olimutuuma erinnya lye YESU; kubanga ye ye alirokola abantu be mu bibi byabwe.
22 Ebyo byonna byakolebwa, bituukirire Mukama bye yayogerera mu nnabbi, ng'agamba nti,
23 Laba, omuwala atamanyi musajja aliba olubuto, era alizaala omwana wa bulenzi, Balimutuuma erinnya lye Emmanweri; eritegeezebwa nti Katonda ali naffe.
24 Yusufu bwe yazuukuka mu tulo, n'akola nga malayika wa Mukama bwe yamulagira, n'atwala mukazi we,
25 so teyamumanya okutuusa lwe yamala okuzaala omwana: n'amutuuma erinnya lye YESU.