Matayo

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28

0:00
0:00

Essuula 23

Awo Yesu n'ayogera n'ebibiina n'abayigirizwa be,
2 ng'agamba nti Abawandiisi n'Abafalisaayo batudde ku ntebe ya Musa:
3 kale ebigambo byonna bye babagamba, mubikole mubikwate: naye temukola nga bo bwe bakola; kubanga boogera naye tebakola.
4 Era basiba emigugu egizitowa egiteetikkika, bagitikka abantu ku kibegabega; naye bo bennyini tebaagala kuginyeenyaako n'engalo yaabwe.
5 Naye ebikolwa byabwe byonna babikola era abantu babirabe, kubanga bagaziya fulakuteri zaabwe, era bongerako amatanvuwa,
6 era baagala ebifo eby'oku manjo ku mbaga, n'entebe ez'ekitiibwa mu makuŋŋaaniro,
7 n'okulamusibwa mu butale, n'okuyitibwa abantu nti Labbi.
8 Naye mmwe temuyitibwanga Labbi: kubanga, omuyigiriza wammwe ali omu, nammwe mwenna muli ba luganda.
9 Era temuyitanga muntu ku nsi kitammwe: kubanga Kitammwe ali omu, ali mu ggulu.
10 So temuyitibwanga balagirizi: kubanga omulagirizi wammwe ali omu, ye Kristo.
11 Naye mu mmwe abasinga obukulu anaabanga muweereza wammwe.
12 Na buli aneegulumizanga anakkakkanyizibwanga; na buli aneekakkanyanga anaagulumizibwanga.
13 Naye ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi kubanga muggalira obwakabaka obw'omu ggulu mu maaso g'abantu; kubanga mmwe temuyingira, n'abo ababa bayingira temubaganya kuyingira.
14 Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi Kubanga mulya ennyumba za bannamwandu, era ne mwefuula abasaba ennyo: n'olwekyo mulibaako omusango ogusinga obunene.
15 Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi kubanga mwetooloola mu nnyanja ne ku lukalu okukyusa omuntu omu naye bw'alabika, mumufuula mwana wa Ggeyeena emirundi ebiri okukira mmwe.
16 Ziribasanga mmwe, abasaale abazibe b'amaaso, abagamba nti Buli anaalayiranga yeekaalu, nga si kintu; naye buli anaalayiranga ezaabu ey'omu yeekaalu, ng'azzizza omusango.
17 Mmwe abasiru era abazibe b'amaaso; kubanga ekikira obukulu kiruwa, ezaabu, oba yeekaalu etukuza ezaabu?
18 Oba mugamba nti Omuntu bw'anaalayiranga ekyoto, nga si kintu; naye buli anaalayiranga ekitone ekiriko, ng'azzizza omusango.
19 Mmwe abazibe b'amaaso: kubanga ekikira obukulu kiruwa, ekitone, oba ekyoto ekitukuza ekitone?
20 Naye alayira ekyoto, alayira kyo, ne byonna ebiriko.
21 Naye alayira yeekaalu alayira yo, n'oyo atuula omwo.
22 Naye alayira eggulu, alayira ntebe ya Katonda, n'oyo agituulako.
23 Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muwa ekitundu eky'ekkumi ekya nnabbugira ne aneta ne kkumino, ne mulekayo ebigambo ebikulu eby'amateeka, obutalyanga nsonga, n'ekisa, n'okukkirizanga: naye bino kyabagwanira okubikola, era na biri obutabirekaayo.
24 Mmwe abasaale abazibe b'amaaso abasengejja ensiri, ne mumira eŋŋamira.
25 Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga munaaza kungulu ku kikompe n'ekibya, naye munda mujjudde obunyazi n'obuteegendereza.
26 Ggwe Omufalisaayo omuzibe w'amaaso, sooka onaaze munda mu kikompe n’ekibya, ne kungulu kwakyo kulyoke kube kulungi.
27 Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi kubanga mufaanana amalaalo agasiigibwa okutukula, agalabika kungulu nga gawoomye, naye munda mujjudde amagumba g'abafu, n'empitambi yonna.
28 Bwe mutyo nammwe kungulu mulabika mu bantu nga muli batuukirivu, naye munda mujjudde obunnanfuusi n'obujeemu.
29 Ziribasanga mmwe, abawandiisi n'Abafalisaayo, bannanfuusi! kubanga muzimba amalaalo ga bannabbi, muwoomya ebiggya by'abatuukirvu,
30 ne mugamba nti Singa twaliwo mu biro bya bajjajjaffe, tetwandissizza kimu nabo mu musaayi gwa bannabbi.
31 Bwe mutyo mwetegeeza mwekka nti muli baana baabwe abatta bannabbi.
32 Kale mujjuze ekigera kya bajjajjammwe.
33 Mmwe emisota, abaana b'embalasaasa, mulidduka mutya omusango ogwa Ggeyeena?
34 Laba, kyenva mbatumira bannabbi, n'ab'amagezi, n'abawandiisi: n'abamu ku bo mulibatta mulibakomerera; n'abalala mulibakuba emiggo mu makuŋŋaaniro gammwe, mulibayigganya mu byalo byonna:
35 mulyoke mujjirwe omusaayi gwonna omutuukirivu ogwayiika ku nsi, okusookera ku musaayi gwa Abiri oyo omutuukirivu okutuusa ku musaayi gwa Zaakaliya omwana wa Balakiya, gwe mwattira wakati wa yeekaalu n'ekyoto.
36 Mazima mbagamba nti Ebigambo bino byonna birituukirira ab'emirembe gino.
37 Yerusaalemi, Yerusaalemi, atta bannabbi, akasuukirira amayinja abantu abatumibwa gy'ali! emirundi emeka gye nnayagalira ddala okukuŋŋaanya abaana bo, ng'enkoko bw'ekuŋŋaanya obwana bwayo munda w'ebiwaawaatiro byayo, ne mutayagala!
38 Laba, ennyumba yammwe ebalekeddwa kifulukwa.
39 Kubanga mbagamba nti Temulindabako n'akatono okusooka leero, okutuusa lwe mulyogera nti Aweebwa omukisa ajja mu linnya lya Mukama.