Ekyamateeka
Essuula 34
Awo Musa n'ava mu nsenyi za Mowaabu n'alinnya ku lusozi Nebo, ku ntikko ya Pisuga, olwolekera Yeriko: Mukama n'amulaga ensi yonna eye Giriyaadi okutuusa ku Ddaani;
2 ne Nafutaali yonna, n'ensi, ya Efulayimu ne Manase, n'ensi yonna eya Yuda okutuusa ku nnyanja ey'emabega;
3 n'Obukiika obwa ddyo, n'Olusenyi olw'ekiwonvu eky'e Yeriko ekibuga eky'enkindu okutuusa ku Zowaali.
4 Mukama n'amugamba nti Eyo ye nsi gye nnalayirira Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, nga njogera nti Ndigiwa ezzadde lyo nkugirengezezza n'amaaso go, naye tolisomoka kugendayo.
5 Awo Musa omuddu wa Mukama n'afiira eyo mu nsi ya Mowaabu, ng’ekigambo kya Mukama bwe kyali.
6 N'amuziika mu kiwonvu mu nsi ya Mowaabu awoolekera e Besupyoli: naye tewali muntu amanyi amalaalo ge ne leero.
7 Era Musa yali yaakamaze emyaka kikumi mu abiri bwe yafa; eriiso lye lyali terizibye, so n'amaanyi ge ag'obuzaaliranwa gaali tegakendeddeeko.
8 Abaana ba Isiraeri ne bakaabira Musa amaziga mu nsenyi za Mowaabu ennaku asatu kale ennaku ez'okukaabiramu nga banakuwalira Musa ne ziggwa.
9 Era Yoswa omwana wa Nuni yali ajjudde omwoyo ogw'amagezi; kubanga Musa yali amutaddeko emikono; abaana ba Isiraeri ne bamuwuliranga, ne bakola nga Mukama bwe yalagira Musa.
10 Era tewannayimuka mu Isiraeri nabbi afaanana Musa, Mukama gwe yamanya ng'alabagana n'amaaso:
11 mu bubonero obwo bwonna n'eby'amagero, Mukama bye yamutuma okukola mu nsi y'e Misiri, eri Falaawo, n'eri abaddu be bonna, n'eri ensi ye yonna;
12 ne mu mukono ogwo gwonna ogw'amaanyi, ne mu ntiisa eyo yonna ennene, Musa gye yakoleranga mu maaso ga Isiraeri yenna.