Ekyamateeka
Essuula 12
Gano ge mateeka n'emisango, bye munaakwatanga okukola mu nsi Mukama Katonda wa bajjajja bo gye yakuwa okugirya, ennaku zonna ze munaabeererangamu abalamu ku nsi.
2 Temulirema kuzikiriza bifo byonna amawanga ge mulirya mwe baaweererezanga bakatonda baabwe, ku nsozi empanvu, ne ku busozi, ne wansi wa buli muti omubisi:
3 era munaasuulanga ebyoto byabwe, era munaamenyaamenyanga empagi zaabwe, era munaayokyanga Abaasera baabwe n'omuliro; era munaatematemanga ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe; era mulizikiriza erinnya lyabwe mu kifo omwo.
4 Temukolanga bwe mutyo Mukama Katonda wammwe.
5 Naye mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza mu bika byammwe byonna okuteeka omwo erinnya lye, kye kifo mw'atuula, munaanoonyangayo, era onojjangayo;
6 era munaaleetanga eyo ebyo bye muwaayo ebyokebwa, ssaddaaka zammwe, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n'ekiweebwayo ekisitulibwa eky'omukono gwammwe, n'obweyamo bwammwe, n'ebyo bye muwaayo ku bwammwe, n'ebibereberye by’ente zammwe n'eby’endiga zammwe:
7 era munaaliiranga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, era munaasanyukiranga ebyo byonna bye munassangako emikono gyammwe, mmwe n'ab'omu nnyumba zammwe, Mukama Katonda wo mwe yakuweera omukisa.
8 Temukolanga ng'ebyo byonna bwe biri bye tukola wano leero, buli muntu ekiri mu maaso ge ekirungi;
9 kubanga temunnatuuka mu kuwummula ne mu busika Mukama Katonda wammwe bw'akuwa.
10 Naye bwe mulisomoka Yoludaani ne mutuula mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abasisa, n'abawa okuwummula eri abalabe bammwe bonna abanaabeetooloolanga n'okutuula ne mutuula mirembe;
11 awo olulituuka mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye, munaaleetanga eyo byonna bye mbalagira, ebyo bye muwaayo ebyokebwa, ne ssaddaaka zammwe, ebitundu byammwe eby'ekkumi, n'ekiweebwayo ekisitulibwa eky'omukono gwammwe, n'obweyamo bwonna obusinga obulungi bwe mweyama Mukama:
12 era munaasanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, mmwe ne batabani bammwe ne bawala bammwe n'abaddu bammwe n'abazaana bammwe n'Omuleevi ali munda w'enzigi zammwe, kubanga talina mugabo newakubadde obusika wamu nammwe.
13 Weekuumenga oleme okuweerayo ebyo bye muwaayo ebyokebwa mu buli kifo ky'olaba:
14 naye mu kifo Mukama ky'alyeroboza mu kimu ku bika byammwe; eyo gy'onooweeranga ebyo bw'owaayo ebyokebwa era eyo gy'onookoleranga byonna bye nkulagira.
15 Naye oyinza okutta ennyama n'okugirya munda w'enzigi zo zonna, ng'okwagala kwonna okw'emmeeme yo bwe kunaabanga, ng'omukisa gwa Mukama Katonda wo gwe yakuwa: abatali balongoofu n'abalongoofu bayinza okugiryako, nga bwe balya ku mpeewo ne ku njaza.
16 Kyokka temulyanga ku musaayi; onoogufukanga ku ttaka ng'amazzi:
17 Toliiranga munda w'enzigi zo kitundu eky'ekkumi eky'eŋŋaano yo, newakubadde eky'envinnyo yo, newakubadde eky'amafuta go, newakubadde ebibereberye by'ente zo newakubadde eby'endiga zo, newakubadde ekintu kyonna ku ebyo bye weeyama, newakubadde ebyo by'owaayo ku bubwo, newakubadde ekiweebwayo ekisitulibwa eky'omukono gwo:
18 naye onoobiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo n'omuddu wo n'omuzaana wo n'Omuleevi ali munda w'enzigi zo: era onoosanyukiranga ebyo byonna by'onossangako omukono gwo mu maaso ga Mukama Katonda wo.
19 Weekuumenga oleme okwabulira Omuleevi ennaku zonna z'onoobeererangamu omulamu ku nsi yo.
20 Mukama Katonda wo bw'aligaziya ensalo yo, nga bwe yakusuubiza, naawe n'oyogera nti Naalya ennyama, kubanga emmeeme yo eyagala okulya ennyama; oyinza okulya ennyama, ng'okwagala kwonna okw'emmeeme yo bwe kuli.
21 Oba ng'ekifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okuteeka omwo erinnya lye kiriyinga okukuba ewala, onottanga ku nte zo ne ku mbuzi zo, Mukama ze yakuwa, nga bwe nnakulagira, era onooliiranga munda w'enzigi zo, ng'okwagala kwonna okw'emmeeme yo bwe kunaabanga.
22 Ng'empeewo n'enjaza bwe ziriibwa, bw'otyo bw'onoogiryangako: atali mulongoofu n'omulongoofu banaagiryangako okwenkanankana:
23 Kyokka weetegereze olemenga okulya ku musaayi: kubanga omusaayi bwe bulamu; so toliiranga bulamu wamu n'ennyama.
24 Togulyanga; onoogufukanga ku ttaka ng'amazzi.
25 Togulyanga; olyoke olabenga ebirungi n'abaana bo abaliddawo, bw'onookolanga ekiri mu maaso ga Mukama ekirungi.
26 Kyokka ebitukuvu byo by'olina n'obweyamo bwo onoobiddiranga n'oyingira mu kifo Mukama ky'alyeroboza;
27 era onooweerangayo ebyo by'owaayo ebyokebwa; ennyama n'omusaayi, ku kyoto kya Mukama Katonda wo: era omusaayi gwa ssaddaaka zo gunaafukibwanga ku kyoto kya Mukama Katonda wo; naawe onoolyanga ennyama.
28 Kwata owulirenga ebigambo ebyo byonna bye nkulagira; olyoke olabenga ebirungi n'abaana bo abaliddawo emirembe gyonna, bw'onookolanga ekiri mu maaso ga Mukama Katonda wo ekirungi era eky'ensonga;
29 Mukama Katonda wo bw'alizikiriza amawanga mu maaso go, gy'oyingira okugalya, n'ogalya, n'otuula mu nsi yaabwe;
30 weekuumenga oleme okutegebwa okugagoberera, bwe galimala okuzikirira mu maaso go; era olemenga okubuuza ebya bakatonda baabwe ng'oyogera nti Amawanga gano gaweereza gatya bakatonda baabwe? era nange bwe nnaakolanga bwe ntyo.
31 Tokolanga bw'otyo Mukama Katonda wo: kubanga buli kigambo Mukama ky'ayita eky'omuzizo ky'akyawa bali baakikolanga bakatonda baabwe: kubanga ne batabani baabwe ne bawala baabwe baabookyanga omuliro eri bakatonda baabwe.
32 Buli kigambo kye mbalagira munaakikwatanga okukola: tokyongerangako, so tokisalangako.