Ekyamateeka
Essuula 14
Mmwe muli baana ba Mukama Katonda wammwe: temwesalanga, so temumwanga kiwalaata kyonna wakati w'amaaso gammwe olw'abafu.
2 Kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo, era Mukama yakulonda okuba eggwanga ery'envuma gy'ali, okusinga amawanga gonna agali ku maaso g'ensi.
3 Tolyanga kintu kyonna kya muzizo.
4 Zino ze nsolo ze munaalyanga: ente, endiga n’embuzi,
5 enjaza n’empeewo n’ennangaazi n'embulabuzi n'entamu n'enteŋŋo n'endiga ey'omu nsiko.
6 Na buli nsolo eyawulamu ekinuulo, era ekirina ekinuulo ekyaseemu, ezza obwenkulumo, mu nsolo, eyo gye munaalyanga.
7 Naye zino ze mutalyangako ku ezo ezizza obwenkulumo, oba ku ezo ezirina ekinuulo ekyaseemu: eŋŋamira n'akamyu n'omusu, kubanga bizza obwenkulumo, naye tebyawulamu kinuulo, ebyo si birongoofu gye muli:
8 n'embizzi, kubanga eyawulamu ekinuulo naye tezza bwekulumo, eyo si nnongoofu gye muli: ku nnyama yaabyo temugiryangako, n'emirambo gyabyo temugikomangako.
9 Bino bye munaalyanga ku byonna ebiba mu mazzi: buli ekirina amaggwa n'amagamba munaakiryanga:
10 na buli ekitalina maggwa na magamba temukiryanga; si kirongoofu gye muli.
11 Ku nnyonyi zonna ennongoofu muyinza okuziryako.
12 Naye zino ze mutalyangako: ennunda, n'empungu, ne makwanzi;
13 ne wonzi, n'eddiirawamu, ne kamunye n'engeri ye;
14 na buli namuŋŋoona n'engeri ye;
15 ne maaya, n'olubugabuga, n’olusove, n'enkambo n'engeri yaayo;
16 n'ekiwuugulu, n'ekkufukufu, n'ekiwuugulu eky'amatu;
17 n'ekimbaala, n'ensega, n'enkobyokobyo;
18 ne kasiida, ne ssekanyolya n'engeri ye, n’ekkookootezi, n'ekinyira.
19 Ne byonna ebyewalula ebirina ebiwaawaatiro si birongoofu gye muli: tebiriibwanga.
20 Ku nnyonyi zonna ennongoofu muyinza okuziryako.
21 Temulyanga ku kintu kyonna ekifa kyokka: oyinza okukiwa munnaggwanga ali munda w'enzigi zo akirye; oba oyinza okukiguza munnaggwanga: kubanga gw'oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo. Tofumbiranga mwana gwa mbuzi mu mata ga nnyina wagwo.
22 Tolemanga kusolooza kitundu kya kkumi ku bibala byonna eby'ensigo zo ebinaavanga mu nnimiro buli mwaka.
23 Era onooliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye ekitundu eky'ekkumi eky'eŋŋaano yo, n'eky'envinnyo yo, n’eky'amafuta go, n'ebibereberye by'ente zo n'eby'embuzi zo; oyige okutyanga Mukama Katonda wo ennaku zonna.
24 Era oba ng'olugendo lunaakuyinganga okuba olunene, n'okuyinza n'otoyinza kukitwalayo, kubanga ekifo kiyinze okukuba ewala, Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okuteeka omwo erinnya lye, Mukama Katonda wo bw'alikuwa omukisa;
25 onookiwaanyisangamu effeeza, n'osiba effeeza mu mukono gwo, n'ogenda mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza:
26 kale effeeza onoogigulangamu ekintu kyonna emmeeme yo ky'eyagala, ente, oba ndiga, oba nvinnyo, oba ekitamiiza, oba ekintu kyonna emmeeme yo ky'eneekusabanga: era onooliiranga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wo, era onoosanyukanga ggwe n'ab'omu nnyumba yo:
27 n’Omuleevi ali munda w'enzigi zo, tomwabuliranga; kubanga talina mugabo newakubadde obusika awamu naawe.
28 Buli myaka esatu bwe giggwangako, onoofulumyanga ekitundu kyonna eky'ekkumi eky'ebibala byo mu mwaka ogwo, n'okiterekanga munda w'enzigi zo:
29 n'Omuleevi, kubanga talina mugabo newakubadde obusika awamu naawe, ne munnaggwanga, ne mulekwa, ne namwandu abali munda w'enzigi zo, banajjanga ne balya ne bakkuta; Mukama Katonda wo alyoke akuwe omukisa mu mulimu gwonna ogw'omukono gwo gw'okola.