Ekyamateeka
Essuula 16
Okwatanga omwezi Abibu, weekuumenga Okuyitako eri Mukama Katonda wo: kubanga mu mwezi Abibu Mukama Katonda wo mwe yakuggira mu Misiri ekiro.
2 Era onottiranga Okuyitako Mukama Katonda wo, ku mbuzi ne ku nte, mu kifo Mukama ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye.
3 Tolyanga mmere nzimbulukuse wamu nakwo; onoomalanga ennaku musanvu ng'olya emmere eteri nzimbulukuse wamu nakwo, ye mmere ey'okunakuwala; kubanga wava mu nsi y'e Misiri ng'oyanguwa: ojjukirenga olunaku lwe waviiramu mu nsi y'e Misiri ennaku zonna ez'obulamu bwo.
4 So tewalabikanga gy'oli kizimbulukusa mu nsalo zo zonna ennaku musanvu; so tewasigalangawo ku nnyama, gy'onottanga ku lunaku olw'olubereberye akawungeezi, okusulawo okukeesa obudde.
5 Tottiranga Kuyitako munda w'oluggi lwonna ku nzigi zo, Mukama Katonda wo z'akuwa:
6 naye mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye, eyo gy'onottiranga Okuyitako akawungeezi, enjuba ng'egwa, mu biro bye waviiramu mu Misiri.
7 Era onookwokyanga n'okuliiranga mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza: era onookyukanga enkya, n'ogenda mu weema zo.
8 Ennaku mukaaga onoolyanga emmere eteri nzimbulukuse: ne ku lunaku olw'omusanvu wanaabanga okukuŋŋaana okutukuvu eri Mukama Katonda wo; tolukolerangako mulimu gwonna.
9 Oneebaliranga ssabbiiti musanvu: okuva ku biro by'otanuliramu okussa ekiwabyo ku ŋŋaano ng'ekyali mu nnimiro kw'onoosookeranga okubala ssabbiiti omusanvu.
10 Era oneekuumanga embaga eya ssabbiiti eri Mukama Katonda wo ng'omuwa omusolo ogw'ekyo ky'owaayo ku bubwo eky'omukono gwo, ky'onowangayo nga Mukama Katonda wo bw'akuwa omukisa:
11 era onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo n'omuddu wo n'Omuzaana wo n'Omuleevi ali munda w'enzigi zo ne munnaggwanga ne mulekwa ne namwandu, abali wakati wo, mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye.
12 Era onojjukiranga nga wali muddu mu Misiri: era onookwatanga onookolanga amateeka gano.
13 Oneekuumiranga embaga ey'ensiisira ennaku musanvu, bw'onoobanga omaze okutereka eby'omugguuliro lyo n'eby'omu ssogolero lyo:
14 era onoosanyukiranga embaga yo, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo, n'omuddu wo n'omuzaana wo, n'Omuleevi ne munnaggwanga ne mulekwa ne nnamwandu, abali munda w'enzigi zo.
15 Ennaku musanvu oneekuumanga embaga eri Mukama Katonda wo mu kifo Mukama ky'alyeroboza: kubanga Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu bibala byo byonna, ne mu mulimu gwonna ogw'engalo zo, era onoobanga n'essanyu jjereere.
16 Emirundi esatu buli mwaka abasajja bo bonna banaalabikanga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky'alyeroboza: ku mbaga ey'emmere eteri nzimbulukuse, ne ku mbaga eya ssabbiiti, ne ku mbaga ey'ensiisira: so tebalabikanga mu maaso ga Mukama nga tebalina kintu:
17 buli muntu anaawanga nga bw'anaayinzanga, ng'omukisa bwe gunaabanga ogwa Mukama Katonda wo gw'akuwadde:
18 Abalamuzi n'abaami onossangawo mu nzigi zo zonna Mukama Katonda wo z'akuwa, ng'ebika byo bwe biri: era banaasaliranga abantu emisango egy'ensonga.
19 Tokyamyanga musango; tosalirizanga bantu: so tolyanga nguzi; kubanga enguzi eziba amaaso g'ab'amagezi, era ekyusakyusa ebigambo by'abatuukirivu.
20 Eby'obutuukirivu ddala by'onoogobereranga, olyoke obenga omulamu, osikire ensi Mukama Katonda wo gy'akuwa.
21 Teweesimbiranga muti gwonna okuba Asera ku mabbali g'ekyoto kya Mukama Katonda wo, ky'oneekoleranga.
22 So teweeyimiririzanga mpagi; Mukama Katonda wo gy'akyawa.