Ekyamateeka
Essuula 22
Tolabanga nte ya muganda wo newakubadde endiga ye ng'ekyama, ne weekweka okuva gye ziri: tolemanga kuzizza eri muganda wo.
2 Era muganda wo bw'aba nga takuli kumpi oba bw'oba nga tomumanyi, onoogitwalanga eka ewuwo, eneebeeranga naawe okutuusa muganda wo lw'aliginoonya, n'ogizza nate gy'ali.
3 Era onookolanga n'endogoyi ye bw'otyo; era onookolanga n'ekyambalo kye bw'otyo; era onookolanga na buli kintu ekya muganda wo ekinaamubulanga naawe ng'okironze: okwekweka si kulungi.
4 Tolabanga ndogoyi ya muganda wo newakubadde ente ye ng'egudde mu kkubo, ne weekweka okuva gye ziri: tolemanga kumubeera okuziyimusa nate.
5 Omukazi tayambalanga kya musajja, so n'omusajja tayambalanga kyambalo kya mukazi: kubanga buli akola ebyo wa muzizo eri Mukama Katonda wo.
6 Ekisu ky'ennyonyi bwe kiba nga kikuli mu maaso mu kkubo, ku muti gwonna oba wansi, obwana nga weebuli oba magi, nnyina ng'atudde ku bwana oba ku magi, totwalanga nnyina wamu n'amagi:
7 tolemanga kuta nnyina, naye oyinza okwetwalira obwana; olyoke olabenga ebirungi, era owangaalenga ennaku nnyingi.
8 Bw'ozimbanga ennyumba empya, onookolanga omuziziko ku ntikko, ng'omuntu yenna ayimye okwo n'agwa, olemenga okuleeta omusaayi ku nnyumba yo.
9 Tosiganga ngeri bbiri za nsigo mu lusuku lwo olw'emizabbibu: olemenga okufiirwa ebibala byonna, ensigo ze wasiga n'ekyengera eky'olusuku.
10 Tolimisanga nte n'endogoyi wamu.
11 Toyambalanga lugoye olugatta ebibiri, ebyoya ne segamwenge wamu.
12 Oneekoleranga amatanvuuwa mu mbiriizi nnya ez'ekyambalo kyo ky'oyambala.
13 Omusajja yenna bw'awasanga omukazi, n'ayingira gy'ali, n'amukyawa,
14 n'amuwawaabira eby'ensonyi, n'amuleetako erinnya ebbi, n'ayogera nti Nawasa omukazi ono, kale bwe nnamusemberera, ne ssimulabako bubonero bwa butamanya musajja:
15 awo kitaawe w'omukazi ne nnyina ne balyoka baddira obubonero bw'omuwala oyo obw'obutamanya musajja ne babuleetera abakadde b'ekibuga mu mulyango:
16 kitaawe w'omuwala n’agamba abakadde nti Omusajja ono namuwa mwana wange okumuwasa, naye amukyaye;
17 era, laba, amuwawaabidde eby'ensonyi, ng'agamba nti Saalaba mu mwana wo bubonero bwa butamanya musajja; era naye obubonero bw'omwana wange obw'obutamanya musajja buubuno. Kale ne bayaliira ekyambalo mu maaso g'abakadde b'ekibuga.
18 Awo abakadde b'ekibuga ekyo ne batwala omusajja oyo ne bamukuba;
19 ne bamutanza sekeri eza ffeeza kikumi, ne baziwa kitaawe w'omuwala oyo, kubanga yamuleetako erinnya ebbi omuwala wa Isiraeri: era anaabanga mukazi we; tamugobanga ennaku ze zonna.
20 Naye oba ng'ekigambo kino kya mazima, obubonero bw'obutamanya musajja obutalabika mu muwala:
21 awo ne bafulumya omuwala oyo mu mulyango gw'ennyumba ya kitaawe, abasajja ab'omu kibuga kyabwe ne bamukuba amayinja ne bamutta: kubanga yakola obusirusiru mu Isiraeri, okwendera mu nnyumba ya kitaawe: bw'onoggyanga bw'otyo obubi wakati mu ggwe.
22 Bwe basanganga omusajja ng'asula n'omukazi eyafumbirwa bba, bombi bafenga omusajja eyasula n'omukazi, n'omukazi: bw'otyo bw'onoggyanga obubi mu Isiraeri.
23 Bwe wabangawo omuwala atamanyanga musajja ayogerezebwa omusajja, omusajja n'amusanga mu kibuga n'asula naye;
24 bombi munaabafulumyanga eri wankaaki w'ekibuga ekyo, ne mubakuba amayinja n'okufa ne bafa; omuwala kubanga teyakuba nduulu, ng'ali mu kibuga; n'omusajja kubanga yatoowaza mukazi wa munne: bw'otyo bw'onoggyanga obubi wakati mu ggwe.
25 Naye omusajja bw'asanganga omuwala ayogerezebwa mu nnimiro, omusajja n'amuwaliriza, n'asula naye; omusajja eyasula naye yekka y'anaafanga:
26 naye omuwala tolimukola kintu; ku muwala tekuli kibi ekinaamussa: kuba ng'omuntu bw'agolokokera ku munne n'amutta, n'ekigambo ekyo bwe kiri bwe kityo:
27 kubanga yamusanga mu nnimiro; omuwala ayogerezebwa n'akuba enduulu, ne watabaawo amulokola.
28 Omusajja bw'asanganga omuwala atamanyanga musajja, atayogerezebwa, n'amukwata n'asula naye ne babalaba;
29 kale omusajja eyasula naye anaamuwanga kitaawe w'omuwala sekeri eza ffeeza amakumi ataano, era anaabanga mukazi we, kubanga yamutoowaza; tayinza kumugoba ennaku ze zonna.
30 Omusajja tawasanga mukazi wa kitaawe, so tabikkulanga lukugiro lwa kitaawe.