Ekyamateeka
Essuula 11
Kale onooyagalanga Mukama Katonda wo, ne weekuuma bye yakuutira n'amateeka ge n'emisango gye n'ebiragiro bye ennaku zonna.
2 Era mumanye leero: kubanga soogera na baana bammwe abatannamanya era abatannalaba kukangavvula kwa Mukama Katonda wammwe, obukulu bwe, engalo ze ez'amaanyi, n'omukono gwe ogwagololwa,
3 n'obubonero bwe, n'emirimu gye, bye yakolera wakati mu Misiri Falaawo kabaka w’e Misiri n'ensi ye yonna;
4 era kye yakolera eggye ery'e Misiri; embalaasi zaabwe n'amagaali gaabwe; bwe yabakulukusizaako amazzi ag'Ennyanja Emmyufu bwe baali nga babagoberera, era Mukama bwe yabazikiriza okutuusa leero;
5 era bye yabakolera mu ddungu okutuusa lwe mwajja mu kifo kino;
6 era kye yakola Dasani ne Abiramu, abaana ba Eriyaabu, omwana wa Lewubeeni; ensi bwe yayasamya akamwa kaayo, n'ebamira bugobo, n'ab'omu nnyumba zaabwe, n'eweema zaabwe na buli kintu kiramu ekyabagoberera, wakati mu Isiraeri yenna:
7 naye amaaso gammwe gaalabanga omulimu gwonna omukulu ogwa Mukama gwe yakola.
8 Kale muneekuumanga ekiragiro kyonna kye nkulagira leero, mulyoke mube n'amaanyi, muyingire mulye ensi gye musomokera okugendamu okugirya;
9 era mulyoke mumale ennaku nnyingi ku nsi, Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe okugibawa n'ezzadde lyabwe, ensi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki.
10 Kubanga ensi gy'oyingiramu okugirya, tefaanana ng'ensi y'e Misiri mwe mwava, mwe wasigiranga ensigo zo n'ogifukirira amazzi n'ekigere kyo, ng'ennimiro y'enva:
11 nate ensi gye musomokera okugendamu okugirya ye ensi ey'ebiwonvu n'ensozi, enywa amazzi ag'enkuba eva mu ggulu:
12 ensi Mukama Katonda wo gy'ayagala; amaaso ga Mukama Katonda wo gaba ku yo ennaku zonna, okuva omwaka we gusookera okutuusa ku nkomerero ya gwo.
13 Awo olunaatuukanga bwe munaanyiikiranga okuwulira ebigambo byange bye mbalagira leero, okwagala Mukama Katonda wammwe, n'okumuweereza n'omutima gwammwe gwonna n'emmeeme yammwe yonna,
14 naatonnyesanga enkuba y'ensi yammwe mu ntuuko zaayo, enkuba eya ddumbi n'eya ttoggo, okungulenga eŋŋaano yo n’envinnyo yo n'amafuta go.
15 Era naawanga omuddo mu nnimiro zo olw'ebisibo byo era onoolyanga n'okkuta.
16 Mwekuumenga omutima gwammwe guleme okulimbibwa, ne mukyama, ne muweereza bakatonda abalala, ne mubasinza;
17 obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako, n'aggalawo eggulu, enkuba obutatonnyanga, n'ensi obutabalanga bibala byayo; ne muzikirira mangu okuva ku nsi ennungi Mukama gy'abawa.
18 Kale mutereke, ebigambo byange ebyo mu mutima gwammwe ne mu mmeeme yammwe; era munaabisibanga okuba akabonero ku mikono gyammwe, era binaabanga eby'oku kyenyi, wakati w'amaaso gammwe.
19 Era munaabiyigirizanga, abaana bammwe nga mubinyumya, bw'onootuulanga mu nnyumba yo, era bw'onootambuliranga mu kkubo, era bw'onoogalamiranga, era bw'onoogolokokanga.
20 Era onoobiwandiikanga ku mifubeeto gy'ennyumba yo ne ku nzigi zo:
21 ennaku zammwe zeeyongerenga, n'ennaku ez'abaana bammwe, ku nsi Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe okubawa, ng'ennaku ez'eggulu eriri waggulu w'ensi.
22 Kubanga bwe munaanyiikiranga okwekuuma ekiragiro kino kyonna kye mbalagira, okukikola; okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n'okwegatta naye;
23 Mukama anaagobangamu amawanga gano gonna mu maaso gammwe, mmwe ne mulya amawanga agabasinga obunene n'amaanyi.
24 Buli kifo ekinaalinnyibwangamu ekigere kyammwe kinaabanga kyammwe: okuva ku ddungu ne Lebanooni, okuva ku mugga; omugga Fulaati, okutuuka ku nnyanja ey'omu mabega we wanaabanga ensalo yammwe.
25 Tewaliba muntu aliyinza okuyimirira mu maaso gammwe; Mukama Katonda wammwe anaateekanga ekitiibwa kyammwe n'entiisa yammwe ku nsi yonna kwe munaalinnyanga, nga bwe yabagamba.
26 Laba, leero nteeka mu maaso gammwe omukisa n'okukolimirwa;
27 omukisa bwe munaawuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, bye mbalagira leero:
28 n'okukolimirwa, bwe mutaawulirenga biragiro bya Mukama Katonda wammwe, naye ne mukyama okuva mu kkubo lye mbalagira leero, okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga.
29 Awo olulituuka Mukama Katonda wo bw'alikuyingiza mu nsi gy'ogendamu okugirya, oliteeka omukisa ogwo ku lusozi Gerizimu, n'okukolimirwa okwo ku lusozi Ebali.
30 Ezo teziri mitala wa Yoludaani, ennyuma w'ekkubo ery'ebugwanjuba, mu nsi ey'Abakanani abatuula mu Alaba, ekyolekera Girugaali, ku mabbali g'emyera gya Mole?
31 Kubanga mugenda okusomoka Yoludaani okuyingira okulya ensi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, era muligirya, ne mutuula omwo.
32 Era munaakwatanga okukola amateeka gonna n'emisango bye nteeka mu maaso gammwe leero.