Ekyamateeka

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34

0:00
0:00

Essuula 24

Omusajja bw'atwalanga omukazi n'amuwasa, kale olunaatuukanga, bw'ataaganjenga n'akatono mu maaso ge, kubanga alabye ku ye ekitali kirungi, anaamuwandiikiranga ebbaluwa ey'okumugoba, n'agimuwa mu ngalo ze; n'amugoba mu nnyumba ye:
2 Awo bw'abanga avudde mu nnyumba ye, ayinza okugenda okuba omukazi w'omusajja omulala.
3 Era bba ow'okubiri bw'amukyawanga, n'amuwandiikira ebbaluwa ey'okumugoba, n'agimuwa mu ngalo ze, n'amugoba mu nnyumba ye; oba bba ow'okubiri bw'afanga, eyamuwasa;
4 bba ow'olubereberye, eyamugoba, tamutwalanga nate okumuwasa, bwe yamala okwonoonebwa; kubanga ekyo kya muzizo mu maaso ga Mukama: so tokozanga nsi bibi, Mukama Katonda wo gy'akuwa okuba obusika.
5 Omusaja bw'awasanga omukazi omuggya, tatabaalanga na ggye, so tasalirwanga mirimu gyonna: anaamalanga omwaka gumu eka nga yessa, anaasanyusanga omukazi gw'awasizza.
6 Omuntu yenna tasingirwanga lubengo newakubadde enso: kubanga asingirwa obulamu bw'omuntu.
7 Bwe basanganga omuntu ng'abba omuntu yenna ku baganda be abaana ba Isiraeri, n'amukola ng'omuddu, oba n'amutunda; kale omubbi oyo anattibwanga: bw'otyo bw'onoggyanga obubi wakati mu ggwe.
8 Weekuumenga mu kibonobono eky'ebigenge, okwatirenga ddala okolenga byonna bakabona Abaleevi bye banaabayigirizanga: nga bwe nnabalagira bo, bwe mutyo bwe munaakwatanga okukola.
9 Jjukira Mukama Katonda wo bwe yakola Miryamu, mu kkubo bwe mwali muva mu Misiri.
10 Bw'oyazikanga munno ekintu kyonna ekyazikibwa, toyingiranga mu nnyumba ye okukima omusingo gwe.
11 Onooyimiriranga ebweru, n'omuntu gw'oyazika anaafulumyanga omusingo ebweru gy'oli.
12 Era bw'abanga omwavu, tosulanga ng'olina omusingo gwe:
13 tolemanga kumuddiza musingo obudde bwe bunaawungeeranga, alyoke asule mu kyambalo kye, era akusabire omukisa: era kinaabanga butuukirivu eri ggwe mu maaso ga Mukama Katonda wo.
14 Tojooganga musenze akolera empeera omwavu eyeetaaga, bw'aba ku muwendo gwa baganda bo oba ku muwendo gwa bannaggwanga bo abali mu nsi yammwe munda w'enzigi zo:
15 ku lunaku lwe onoomuwanga empeera ye, so n’enjuba tegwanga ng'ekyaliyo; kubanga mwavu era agiteekako omwoyo gwe: alemenga okukaabiriranga Mukama okukuwawaabira, ne kiba kibi gy'oli.
16 Bakitaabwe tebattibwanga okubalanga abaana baabwe, so n'abaana tebattibwanga okubalanga bakitaabwe: buli muntu bamulangenga ekibi kye ye okumutta.
17 Tokyamyanga musango gwa munnaggwanga, newakubadde ogw'atalina kitaawe; so tosingirwanga kyambalo kya nnamwandu:
18 naye onojjukiranga nga wali muddu mu Misiri, Mukama Katonda wo n'akununula n'akuggyayo: kyenva nkulagira okukolanga ekigambo ekyo.
19 Bw'okungulanga ebikungulwa byo mu nnimiro yo ne weerabira ekinywa mu nnimiro, toddangayo nate okukikima; kinaabanga kya munnaggwanga, ky'atalina kitaawe, era kya nnamwandu: Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu mulimu gwonna ogw'engalo zo.
20 Bw'okubanga omuzeyituuni gwo, toddanga mu matabi lwa kubiri: gunaabanga gwa munnaggwanga, gw'atalina kitaawe, era gwa nnamwandu.
21 Bw'okungulanga ezabbibu ez'omu lusuku lwo, toddangamu ng'omaze omulundi gumu: lunaabanga lwa munnaggwanga, lw'atalina kitaawe, era lwa nnamwandu.
22 Era onojjukiranga nga wali muddu mu nsi y'e Misiri: kyenva nkulagira okukolanga ekigambo ekyo.