Abaruumi

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16

0:00
0:00

Essuula 9

Njogera amazima mu Kristo sirimba, omwoyo gwange nga guntegeereza mu Mwoyo Omutuukuvu,
2 nga nnina ennaku nnyingi n'okulumwa okutamala mu mutima gwange.
3 Kubanga nandyagadde nze mwene okukolimirwa Kristo olwa baganda bange, ab'ekika kyange mu mubiri:
4 be Baisiraeri abaweebwa okufuuka abaana, n'ekitiibwa, n'endagaano, n'okuteekerwa amateeka, n'okuweerezanga Katonda, n'ebyasuubizibwa;
5 abalina bajjajja abo, era omwava Kristo mu mubiri, afuga byonna, Katonda atenderezebwa emirembe gyonna. Amiina.
6 Naye si kubanga ekigambo kya Katonda kyavaawo. Kubanga abava mu Isiraeri, si be Baisiraeri bonna:
7 so si kubanga lye zzadde lya Ibulayimu, kyebava babeera abaana bonna: naye, mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaayitirwanga.
8 Kwe kugamba nti abaana ab'omubiri, abo si be baana ba Katonda; naye abaana b'okusuubiza be babalibwa okuba ezzadde.
9 Kubanga ekigambo kino kye ky'okusuubiza, nti Ng'ebiro ebyo bwe biri ndijja, ne Saala aliba n'omwana.
10 Naye si ekyo kyokka; era naye ne Lebbeeka bwe yalina olubuto olw'omu, Isaaka jjajjaffe
11 kubanga nga tebannazaalibwa, so nga tebannakola kirungi oba kibi, okuteesa kwa Katonda mu kulonda kulyoke kunywere, si lwa bikolwa, wabula ku bw'oyo ayita,
12 n'agambibwa nti Omukulu aliba muddu wa muto.
13 Nga bwe kyawandiikibwa nti Yakobo nnamwagala, naye Essawu nnamukyawa.
14 Kale tunaayogera tutya? Obutali butuukirivu buli eri Katonda? Kitalo.
15 Kubanga agamba Musa nti Ndisaasira gwe ndisaasira, gwe ndikwatirwa ekisa gwe ndikwatirwa ekisa.
16 Kale bwe kityo si ky'oyo ayagala newakubadde addukana, wabula kya Katonda asaasira.
17 Kubanga ebyawandiikibwa bigamba Falaawo nti Kyennava nkuyimiriza, ndyoke njoleseze amaanyi gange mu ggwe, era erinnya lyange liryoke libuulirwe mu nsi zonna.
18 Kale bwe kityo asaasira gw'ayagala okusaasira, era akakanyaza gw'ayagala okukakanyaza.
19 Kale onoŋŋamba nti Kiki ekimunenyesa nate? Kubanga ani aziyiza by'ayagala?
20 Naye ekisinga, ggwe omuntu, ggwe ani awakana ne Katonda? Ekibumbe kirigamba eyakibumba nti Kiki ekyakunkoza bw'oti?
21 Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, mu kitole kimu okukola ekibya kimu eky'ekitiibwa, n'ekirala eky'ensonyi?
22 Kiki, oba nga Katonda bwe yayagala okulaga obusungu bwe, n'okumanyisa obuyinza bwe, yagumiikiriza n'okulindirira ennyo ebibya eby'obusungu ebyateekerwateekerwa okuzikirira:
23 alyoke amanyise obugagga obw'ekitiibwa kye ku bibya eby'okusaasirwa, bye yateekerateekera edda ekitiibwa,
24 ye ffe, n'okuyita be yayita, si mu Bayudaaya bokka, era naye ne mu b'amawanga?
25 Era nga bw'ayogera mu Koseya nti Ndibayita abantu bange, abatali bantu bange; Era ataayagalwa, ayagaliddwa.
26 Awo mu kifo kye baagambirwamu nti Mmwe temuli bantu bange, Mwe baliyitirwa abaana ba Katonda omulamu.
27 Era Isaaya ayogerera waggulu ebya Isiraeri nti Omuwendo gw'abaana ba Isiraeri oba guliba ng'omusenyu gw'ennyanja, ekitundu ekirisigalawo kye kirirokoka:
28 kubanga Mukama alikola ekigambo kye ku nsi, ng'akituukiriza era ng'akisalako.
29 Era nga Isaaya bwe yasooka okwogera nti Singa Mukama Ow'eggye teyatulekerawo zzadde, Twandifuuse nga Sodomu, era twandifaanayizibbwa nga Ggomola.
30 Kale tunaayogera tutya? Nti ab'amawanga, abataagobereranga butuukirivu, baatuuka ku butuukivu, bwe butuukirivu obuva mu kukkiriza;
31 naye Isiraeri, mu kugobereranga amateeka ag'obutuukirivu, teyatuuka ku mateeka gali.
32 Lwaki? Kubanga tebaabugobereranga nga bayima mu kukkiriza, wabula nga mu bikolwa. Beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako:
33 nga bwe kyawandiikibwa nti Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako n'olwazi olugwisa: Era akkiriza oyo talikwasibwa nsonyi.