Abaruumi

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16

0:00
0:00

Essuula 4

Kale kiki kye tunaayogera Ibulayimu jjajjaffe mu mubiri kye yalaba.
2 Kubanga Ibulayimu singa yaweebwa obutuukirivu olw'ebikolwa, singa alina ekimwenyumirizisa; naye talina mu maaso ga Katonda.
3 Kubanga ebyawandiikibwa byogera bitya? Ibulayimu n'akkiriza Katonda, ne kumubalirwa okuba obutuukirivu.
4 Kale, omukozi empeera ye temubalirwa lwa kisa, naye ng'ebbanja.
5 Naye atakola, kyokka n'akkiriza oyo awa obutuukirivu abatatya Katonda, okukkiriza kwe kumubalirwa okuba obutuukirivu.
6 Era nga Dawudi bw'ayogera omukisa gw'omuntu, Katonda gw'abalira obutuukirivu awatali bikolwa, nti
7 Baweereddwa omukisa abaggibwako ebyonoono byabwe, Ebibi byabwe byabikkibwako.
8 Aweereddwa omukisa omuntu Mukama gw'atalibalira kibi.
9 Kale omukisa ogwo guli ku bakomole bokka, oba nantiki ku abo abatali bakomole? Kubanga tugambye nti okukkiriza kwe kwabalirwa Ibulayimu okuba obutuukirivu.
10 Kale kwabalwa kutya? bwe yali ng'akomoleddwa, nantiki bwe yali nga tannakomolebwa? si bwe yali ng'akomoleddwa, naye nga tannakomolebwa:
11 n'aweebwa ekyokulabirako eky'okukomolebwa, akabonero k'obutuukirivu obw'okukkiriza kwe yalina nga tannakomolebwa: alyoke abeerenga jjajjaabwe bonna abakkiriza nga si bakomole, babalirwenga obutuukirivu;
12 era ne jjajja w'abakomole, so si w'abo abakomole obukomozi, naye, abatambulira mu bigere by'okukkiriza kwa jjajjaffe Ibulayimu kwe yalina nga tannakomolebwa.
13 Kubanga okusuubiza tekwaweerwa Ibulayimu newakubadde ezzadde lye mu mateeka, nti alibeera musika wa nsi zonna, wabula mu butuukirivu obw'okukkiriza.
14 Kubanga ab'omu mateeka singa be basika, okukkiriza singa kudibye, era n'okusuubiza singa kuggiddwawo:
15 kubanga amateeka galeeta obusungu; naye awatali mateeka, era tewabaawo kwonoona.
16 Kyekuva kuva mu kukkiriza, kulyoke kubeerenga kwa kisa, okusuubiza kulyoke kunywere eri ezzadde lyonna, si eri ab'omu mateeka bokka, naye era n'eri ab'omu kukkiriza kwa Ibulayimu, ye jjajjaffe fenna
17 (nga bwe kyawandiikibwa nti Nkufudde jjajja w'amawanga amangi) mu maaso g'oyo gwe yakkiriza, ye Katonda, azuukiza abafu, era ayita ebitaliiwo ng'ebiriwo.
18 Eyakkiriza mu ssuubi awatasuubirikika, alyoke abeerenga jjajja w'amawanga amangi, nga bwe kyayogerwa nti Ezzadde lyo liriba bwe lityo.
19 N'atanafuwa mu kukkiriza bwe yalowooza omubiri gwe ye nga gufudde (nga yaakamala emyaka nga kikumi), n'olubuto lwa Saala nga lufudde:
20 naye mu kusuubiza kwa Katonda teyabuusabuusa mu butakkiriza, naye n'afuna amaanyi olw'okukkiriza, ng'agulumiza Katonda,
21 era ng'ategeerera ddala nga bye yasuubiza era ayinza n'okubikola.
22 Era kyekwava kumubalirwa okuba obutuukirivu.
23 Naye tekyawandiikibwa ku lulwe yekka nti kwamubalirwa;
24 naye era ne ku lwaffe, abagenda okubalirwa, abakkiriza oyo eyazuukiza Yesu Mukama waffe mu bafu,
25 eyaweebwayo olw'ebyonoono byaffe n'azuukira olw'okutuweesa obutuukirivu.