Abaruumi

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16

0:00
0:00

Essuula 10

Ab'oluganda, kye njagala mu mutima gwange era kye nsaba Katonda ku lwabwe kye kino, balokoke.
2 Kubanga mbategeeza nga balina okunyiikiririra Katonda, naye si mu kutegeera.
3 Kubanga bwe batamanya butuukirivu bwa Katonda, era bwe bagezaako okutereeza obutuukirivu bwabwe bo bennyini, tebagondera butuukirivu bwa Katonda.
4 Kubanga Kristo ye nkomerero y'amateeka olw'okuweesa obutuukirivu buli akkiriza.
5 Kubanga Musa awandiika obutuukirivu obuva mu mateeka nti abukola ye aliba omulamu mu bwo.
6 Naye obutuukirivu obuva mu kukkiriza bwogera bwe buti nti Toyogeranga mu mutima gwo nti Ani alirinnya mu ggulu? (kwe kuleeta Kristo wansi;)
7 newakubadde nti Ani alikka emagombe? (kwe kulinnyisa Kristo okuva mu bafu.)
8 Naye bwogera butya? Nti, Ekigambo kiri kumpi naawe, mu kamwako, ne mu mutima gwo: kye kigambo eky'okukkiriza kye tubuulira:
9 kubanga bw'oyatula Yesu nga ye Mukama n'akamwa ko, n'okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, olirokoka:
10 kubanga omuntu akkiriza na mutima okuweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa okulokoka.
11 Kubanga ebyawandiikibwa byogera nti Buli amukkiriza talikwasibwa nsonyi.
12 Kubanga tewali njawulo ya Muyudaaya na Muyonaani: kubanga omu ye Mukama waabwe bonna, ye mugagga eri abo bonna abamukaabirira:
13 kubanga, Buli alikaabirira erinnya lya Mukama alirokoka.
14 Kale balikaabirira batya gwe batannakkiriza? era balikkiriza batya gwe batannawulirako? era baliwulira batya awatali abuulira?
15 era balibuulira batya nga tebatumiddwa? nga bwe kyawandiikibwa nti Ebigere byabwe nga birungi nnyo ababuulira enjiri ey'ebirungi!
16 Naye tebaagondera njiri bonna. Kubanga Isaaya ayogera nti Mukama, ani eyakkiriza ekigambo kyaffe?
17 Kale okukkiriza kuva mu kuwulira, n'okuwulira mu kigambo kya Kristo.
18 Naye njogera nti Tebawuliranga? Weewaawo, ddala, Eddoboozi lyabyo lyabuna mu nsi zonna, N'ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero z'ensi.
19 Naye njogera nti Isiraeri tamanyanga? Musa ye yasooka okwogera nti Ndibakwasa obuggya eri abatali ba ggwanga, Eri eggwanga eritalina magezi ndibasunguwaza.
20 Era Isaaya aguma nnyo n'ayogera nti Navumbulibwa abo abatannoonyanga, Nalagibwa eri abo abatambuulirizangako.
21 Naye eri Isiraeri ayogera nti Obudde okuziba nagololera emikono gyange abantu abatawulira era abagaana.