Abaruumi

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16

0:00
0:00

Essuula 1

Pawulo, omuddu wa Yesu Kristo, eyayitibwa okuba omutume, eyayawulirwa enjiri ya Katonda,
2 gye yasuubiriza edda mu bannabbi be mu byawandiikibwa ebitukuvu,
3 ebigambo ebyogera ku Mwana we, eyazaalibwa mu zzadde lya Dawudi mu mubiri,
4 eyalagibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi, mu mwoyo gw'obutukuvu, olw'okuzuukira kw'abafu, Yesu Kristo Mukama waffe,
5 eyatuweesa ekisa n'obutume olw'okuwulira okuva mu kukkiriza mu mawanga gonna, olw'erinnya lye;
6 era nammwe muli mu bo, abayitibwa okuba aba Yesu Kristo:
7 eri bonna abali mu Ruumi, abaagalwa Katonda, abayitibwa okuba abatukuvu: ekisa kibe nammwe n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
8 Okusooka, nneebaza Katonda wange ku bwa Yesu Kristo ku lwammwe mwenna, kubanga okukkiriza kwammwe kubuulirwa mu nsi zonna.
9 Kubanga Katonda ye mujulirwa wange, gwe mpeerereza mu mwoyo gwange mu njiri y'Omwana we, bwe njogera ku mmwe obutamala,
10 nga nneegayirira bulijjo mu kusaba kwange ndyoke ntambuzibwe bulungi ne kaakano, Katonda bw’ayagala, okujja gye muli.
11 Kubanga mbalumirwa okubalaba, ndyoke mbawe ku kirabo eky'omwoyo, mulyoke munywezebwe:
12 kwe kusanyukagana awamu nammwe olw'okukkiriza kwammwe n'okwange.
13 Era, ab'oluganda, saagala muleme kumanya ng'emirundi mingi nalowoozanga okujja gye muli (ne nziyizibwanga okutuusa kaakano), era ndyoke mbeereko n'ebibala mu mmwe, era nga mu mawanga amalala.
14 Abayonaani era ne bannaggwanga, ab'amagezi era n'abasirusiru, bammanja.
15 Era kyenva njagala okubabuulira enjiri nammwe abali mu Ruumi nga bwe nnyinza.
16 Kubanga enjiri tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda olw’okulokoka eri buli akkiriza okusookera Muyudaaya era n'eri Omuyonaani.
17 Kubanga mu yo obutuukirivu bwa Katonda bubikkulibwa obuva mu kukkiriza okutuusa mu kukkiriza: nga bwe kyawandiikibwa nti Naye omutuukirivu anaabanga mulamu lwa kukkiriza.
18 Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibwa okuva mu ggulu ku butatya Katonda bwonna n'obutaba na butuukirivu obw'abantu abaziyiza amazima mu butaba na butuukirivu;
19 kubanga ebya Katonda ebimanyika birabika eri bo: kubanga Katonda yabibalabisa.
20 Kubanga ebibye ebitalabika okuva ku kutonda ensi birabikira ddala nga bitegeererwa ku bitonde, obuyinza bwe obutaggwaawo n'obwakatonda bwe; babeere nga tebalina kya kuwoza:
21 kubanga, bwe baamanya Katonda, ne batamugulumizanga nga Katonda newakubadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne guzikirizibwa.
22 Bwe beeyita ab'amagezi, so nga baasiruwala,
23 ne bawaanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okufaanana ekifaananyi ky'omuntu aggwaawo, n'eky'ebibuuka n'eky'ebirina amagulu ana n'eky'ebyewalula.
24 Katonda kyeyava abawaayo eri obugwagwa mu kwegomba kw'emitima gyabwe, okwonoonanga ekitiibwa ky'emibiri gyabwe bokka na bokka:
25 kubanga amazima ga Katonda baagawaanyisaamu obulimba, ne basinzanga ne baweerezanga ekitonde okusinga Omutonzi, eyeebazibwa emirembe n'emirembe, Amiina.
26 Katonda kyeyava abawaayo eri okukwatibwa okw'ensonyi: kubanga abakazi baabwe baawaanyisa ekikolwa kyabwe eky'obuzaaliranwa ne bakifuula ekitali kya buzaaliranwa:
27 era n'abasajja bwe batyo, bwe baaleka ekikolwa eky'omukazi eky'obuzaaliranwa, ne baakanga mu kwegomba kwabwe bokka na bokka, abasajja n'abasajja nga bakolagananga ebitasaana, era nga baweebwanga mu bo bokka empeera eyo eyasaanira okwonoona kwabwe.
28 Era nga bwe batakkiriza kubeera ne Katonda mu magezi gaabwe, Katonda yabawaayo eri omwoyo ogutakkirizibwa, okukolanga ebitasaana;
29 nga bajjudde obutaba na butuukirivu bwonna, obubi, okwegomba, ettima; nga bajjudde obuggya, obussi, okuyomba, obukuusa, enge; abageya,
30 abalyolyoma, abakyawa Katonda, ab'ekyejo, ab'amalala, abeenyumiriza, abayiiya ebigambo ebibi, abatawulira bazadde baabwe,
31 abatalina magezi, abaleka endagaano, abataagalana, abatalina kusaasira:
32 abamanya omusango gwa Katonda, nti abakola ebyo basaanidde kufa, tebabikola bukozi, era naye basiima ababikola.