Abaruumi

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16

  • Abaruumi - Essuula 3
0:00
0:00

Essuula 3

Kale Omuyudaaya asinga atya? oba n'okukomolebwa kugasa ki?
2 Kugasa nnyo mu bigambo byonna: eky'olubereberye kubanga baateresebwa Katonda bye yayogera.
3 Kubanga kiba ki abamu bwe bataba na kukkiriza, obutakkiriza bwabwe buliggyawo obwesigwa bwa Katonda?
4 Kitalo: nedda, Katonda abeerenga wa mazima, naye buli muntu abeerenga mulimba; nga bwe kyawandiikibwa nti Obeere n'obutuukirivu mu bigambo byo, Osinge bw'osalirwa omusango.
5 Naye obutali butuukirivu bwaffe bwe butenderezesa obutuukirivu bwa Katonda, tunaayogera tutya? Katonda talina butuukirivu aleeta obusungu? (Njogera mu buntu.)
6 Kitalo: kubanga, (bwe kiba bwe kityo), Katonda alisalira atya ensi omusango?
7 Naye amazima ga Katonda bwe geeyongera okulabika olw'obulimba bwange ye n'aweebwa ekitiibwa, nze kiki ekinsaliza omusango nate ng'omwonoonyi
8 era kiki ekitulobera okwogera (nga bwe tuwaayirizibwa, era ng'abamu bwe boogera nti tugamba) nti Tukolenga ebibi, ebirungi biryoke bijje? abo okusalirwa omusango kwa nsonga.
9 Kale kiki? ffe zisanze okusinga bo? Nedda n'akatono: kubanga tusoose okuwawaabira Abayudaaya era n'Abayonaani nti bonna bafugibwa kibi;
10 nga bwe kyawandiikibwa nti Tewali mutuukirivu n'omu;
11 Tewali ategeera, Tewali anoonya Katonda;
12 Bonna baakyama, baafuuka batasaana wamu; Tewali akola obulungi, tewali n'omu;
13 Omumiro gwabwe ye ntaana eyasaamiridde; Balimba n'ennimi zaabwe; Obusagwa bw'embalasaasa buli wansi w'emimwa gyabwe:
14 Akamwa kaabwe kajjudde okukolima n'okukaawa:
15 Ebigere byabwe byanguwa okuyiwa omusaayi;
16 Okuzikirira n'obunaku biri mu makubo gaabwe;
17 So tebamanyanga kkubo lya mirembe:
18 Tewali kutya Katonda mu maaso gaabwe.
19 Naye tumanyi nga byonna amateeka bye googera, gagamba abo abalina amateeka; buli kamwa konna kazibibwe, n'ensi zonna zibeereko omusango eri Katonda:
20 kubanga olw'ebikolwa by'amateeka alina omubiri yenna taliweebwa butuukirivu mu maaso ge: kubanga amateeka ge gamanyisa ekibi.
21 Naye kaakano awatali mateeka obutuukirivu bwa Katonda, obutegeezebwa amateeka ne bannabbi, bulabisibwa;
22 bwe butuukirivu bwa Katonda olw'okukkiriza Yesu Kristo eri bonna abakkiriza; kubanga tewali njawulo;
23 kubanga bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda;
24 naye baweebwa obutuukirivu bwa buwa lwa kisa kye olw'okununulibwa okuli mu Kristo Yesu:
25 Katonda gwe yassaawo okuba omutango, olw'okukkiriza omusaayi gwe, okulaga obutuukirivu bwe, olw'okuleka ebibi ebyakolebwanga edda, Katonda ng'agumiikiriza;
26 okulaga obutuukirivu bwe mu biro bino: alyoke abeere omutuukirivu era ng'awa obutuukirivu akkiriza Yesu.
27 Kale okwenyumiriza kuli luuyi wa? Kwaziyizibwa. Kwaziyizibwa n'amateeka gafaanana gatya? ga bikolwa? Nedda: naye n'amateeka ga kukkiriza.
28 Kyetuva tubala ng'omuntu aweebwa obutuukirivu lwa kukkiriza awatali bikolwa bya mu mateeka.
29 Oba Katonda, Katonda wa Bayudaaya? era si Katonda wa bamawanga? Weewaawo, era wa ba mawanga:
30 oba nga Katonda ali omu, aliwa obutuukirivu abakomole olw'okukkiriza, n'abatali bakomole olw'okukkiriza.
31 Kale amateeka tugaggyawo olw'okukkiriza? Kitalo: nedda, tuganyweza bunyweza.