Abaruumi
Essuula 13
Buli muntu awulirenga abakulu abafuga: kubanga tewali bukulu butava eri Katonda; n'abakulu abaliwo baalagirwa Katonda.
2 Awakanya obukulu kyava awakanya okulagira kwa Katonda: era abawakana balyezzaako omusango bo bokka.
3 Kubanga abafuga si ba kutiisa mu kikolwa ekirungi, wabula mu kibi: Era oyagala obutatya bukulu? kola bulungi, alikusiima:
4 kubanga ye muweereza wa Katonda eri ggwe olw'obulungi. Naye bw'okola obubi, tya; kubanga takwatira kitala bwereere: kubanga ye muweereza wa Katonda, awalana obusungu ku oyo akola obubi.
5 Kyekivudde kibagwanira okuwulira, si lwa busungu bwokka, naye era ku lw'omwoyo gwammwe.
6 Era kyemuva muwa omusolo; kubanga be baweereza ba Katonda, nga banyiikirira mu mulimu ogwo.
7 Musasulenga bonna amabanja gaabwe: ab'omusolo musolo; ab'empooza mpooza; ab'okutiibwa kutya; ab'ekitiibwa kitiibwa.
8 Temubeeranga na bbanja lyonna eri omuntu yenna, wabula okwagalananga: kubanga ayagala muntu munne, ng'atuukirizza amateeka.
9 Kubanga kino nti Toyendanga, tottanga, tobbanga, teweegombanga, n'etteeka eddala lyonna, ligattiddwa mu kino, nti Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.
10 Okwagala tekukola bubi muntu munne: okwagala kyekuva kutuukiriza amateeka.
11 Era mukolenga bwe mutyo, kubanga mumanyi ebiro, ng'obudde butuuse kaakano mmwe okuzuukuka mu tulo: kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga bwe twakkiriza.
12 Ekiro kiyise, obudde bunaatera okukya: kale twambule ebikolwa eby'ekizikiza, era twambale eby'okulwanyisa eby'omusana.
13 Tutambulenga nga tuwoomye nga mu musana, si mu binyumu ne mu mbaga ez'okutamiiranga, si mu bwenzi n'obukaba, si mu kuyombanga n'obuggya.
14 Naye mwambale Mukama waffe Yesu Kristo, so temutegekeranga mubiri, olw'okwegomba.