Yokaana

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21

0:00
0:00

Essuula 7

Oluvannyuma lw'ebyo Yesu n'atambula mu Ggaliraaya: kubanga teyayagala kutambula mu Buyudaaya kubanga Abayudaaya baali basala amagezi okumutta.
2 Naye embaga y'Abayudaaya yali enaatera okutuuka, ye y'ensiisira.
3 Awo baganda be ne bamugamba nti Va wano, ogende e Buyudaaya, abayigirizwa bo nabo balabe emirirnu gyo gy'okola.
4 Kubanga tewali akolera kigambo mu kyama wabula nga naye yennyini ayagala amanyike mu lwatu. Bw'okola ebyo, weeyoleke eri ensi.
5 Kubanga ne baganda be tebaamukkiriza.
6 Awo Yesu n'abagamba nti Ekiseera kyange tekinnaba kutuuka; naye ekiseera kyammwe ennaku zonna kibeerawo nga kyeteeseteese.
7 Ensi teyinza kukyawa mmwe; naye ekyawa nze, kubanga nze ntegeeza ebyayo nti emirimu gyayo mibi.
8 Mmwe mwambuke ku mbaga: nze sinnaba kwambuka ku mbaga eno; kubanga ekiseera kyange tekinnaba kutuukirizibwa.
9 Bwe yamala okubagamba ebyo n'asigala e Ggaliraaya.
10 Naye baganda be bwe baamala okwambuka ku mbaga, naye n'ayambuka, si lwatu, naye nga mu kyama.
11 Awo Abayudaaya ne bamunoonya ku mbaga, ne bagamba nti Ali ludda wa?
12 Ne waba okumuunyamuunya kungi mu bibiina. Abalala ne bagamba ku ye nti Mulungi; abalala ne bagamba nti Nedda, naye akyamya ekibiina.
13 Naye tewaali yamwogerako lwatu kubanga baatya Abayudaaya.
14 Awo mu mbaga wakati Yesu n'ayambuka ku yeekaalu, n'ayigiriza.
15 Abayudaaya ne beewuunya ne bagamba nti Ono amanya atya okusoma nga tayigirizibwangako?
16 Awo Yesu n'abaddamu n'agamba nti Okuyigiriza kwange si kwange, naye kw'oli eyantuma.
17 Omuntu bw'ayagala okukola oli by'ayagala, alitegeera okuyigiriza kuno oba nga kwava eri Katonda, oba nga nze njogera bya magezi gange.
18 Ayogera eby'amagezi ge, anoonya ekitiibwa kye ye: naye anoonya ekitiibwa ky'oyo eyamutuma, oyo wa mazima, so obutali butuukirivu tebuli mu ye.
19 Musa teyabawa mateeka, so mu mmwe tewali akwata amateeka? Musalira ki amagezi okunzita?
20 Ekibiina ne baddamu nti Oliko dayimooni: ani asala amagezi okukutta?
21 Yesu n'addamu n'agamba nti Nnakola omulimu gumu, nammwe mwenna mwewuunya.
22 Musa kyeyava abawa okukomola (si kubanga kwa Musa naye kwa bajjajja); ne ku ssabbiiti mukomola omuntu.
23 Omuntu bw'akomolebwa ku ssabbiiti, amateeka ga Musa galeme okusoba; munsunguwalira kubanga nnafuula omuntu omulamu ddala ku ssabbiiti?
24 Temusalanga musango okusinziira ku ndabika, naye musalenga omusango ogw'ensonga.
25 Awo abamu ab'omu Yerusaalemi ne bagamba nti Gwe banoonya okutta si ye wuuno?
26 Naye, laba, ayogera lwatu, so tebaliiko kye bamugamba. Abakulu bamanyidde ddala ng'ono ye Kristo?
27 Naye ono tumanyi gy'ava: naye Kristo bw'ajja, tewali ategeera gy'ava.
28 Awo Yesu n'ayogerera waggulu mu yeekaalu ng'ayigiriza n'agamba nti Nze mummanyi, era ne gye nva mumanyiiyo; nange sajja ku bwange nzekka, naye oli eyantuma ye wa mazima, gwe mutamanyi mmwe.
29 Nze mummanyi; kubanga nava gy'ali, era ye yantuma.
30 Awo bali ne basala amagezi okumukwata, naye tewaali eyamuteekako omukono, kubanga ekiseera kye kyali nga tekinnaba kutuuka.
31 Naye bangi ab'omu kibiina ne bamukkiriza; ne bagamba nti Kristo bw'alijja, alikola obubonero bungi okusinga ono bwe yakola?
32 Abafalisaayo ne bawulira ekibiina nga bamwemuunyamuunyaamu batyo; bakabona abakulu n'Abafalisaayo ne batuma abambowa okumukwata.
33 Awo Yesu n'agamba nti Esigaddeyo ebbanga ttono nga nkyali nammwe, ndyoke ŋŋende gy'ali eyantuma.
34 Mulinnoonya, so temulindaba; era gye ndi, mmwe temuyinza kujjayo.
35 Awo Abayudaaya ne boogeragana bokka na bokka nti Ono ayagala kugenda wa, ffe gye tutalimulabira? Ayagala kugenda eri abo abaasaasaanira mu Bayonaani, ayigirize Abayonaani?
36 Kigambo ki ekyo ky'agamba nti Mulinnoonya, so temulindaba; era gye ndi, mmwe temuyinza kujjayo?
37 Naye ku lunaku olw'enkomerero, lwe lukulu olw'embaga, Yesu yayimirira n'ayogerera waggulu, n'agamba nti Omuntu bw'alumwa ennyonta, ajje gye ndi anywe.
38 Akkiriza nze, ng'ekyawandiikibwa bwe kigamba nti emigga gy'amazzi amalamu girifuluma mu lubuto lwe.
39 Ekyo yakyogera ku Mwoyo, gwe baali bagenda okuweebwa abamukkiriza; kubanga Omwoyo yali tannaba kugabibwa; kubanga Yesu yali tannaba kugulumizibwa.
40 Awo ab'omu kibiina bwe baawulira ebigambo ebyo ne bagamba nti Mazima, ono ye nnabbi oli.
41 Abalala ne bagamba nti Ono ye Kristo. Naye abalala ne bagamba nti Nedda, Kristo ava mu Ggaliraaya?
42 Ekyawandiikibwa tekigamba nti Kristo ava mu zzadde lya Dawudi, mu Besirekemu, embuga Dawudi mwe yali?
43 Bwe kityo ne wabaawo okwawukana mu kibiina ku lulwe.
44 Abalala ne baagala okumukwata, naye tewali eyamussaako emikono.
45 Awo abambowa ne baddayo eri bakabona abakulu n'Abafalisaayo; nabo ne babagamba nti Ekibalobedde ki okumuleeta?
46 Abambowa ne baddamu nti Tewali muntu eyali ayogedde bw'atyo.
47 Awo Abafalisaayo ne babaddamu nti Era nammwe abakyamizza?
48 Aluwa mu bakulu eyamukkiriza, oba mu Bafalisaayo?
49 Naye ekibiina kino abatategeera mateeka bakolimiddwa.
50 Nikoodemo (ye yajja gy'ali edda, ye munnaabwe) n'abagamba nti
51 Ye mpisa yaffe okusalira omuntu omusango nga tebannawulira bigambo bye n'okutegeera ky'akoze?
52 Ne baddamu ne bamugamba nti Naawe wava Ggaliraaya? Noonya, olabe, nnabbi tava mu Ggaliraaya,
53 Buli muntu n'addayo eka.