Yokaana

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21

0:00
0:00

Essuula 16

Ebyo, mbibabuulidde muleme okusittazibwanga.
2 Banaabagobanga mu makuŋŋaaniro; weewaawo, ekiseera kijja, buli anaabattanga anaalowoozanga ng'aweerezza Katonda.
3 N'ebyo banaabikolanga, kubanga Kitange tebamutegeera newakubadde nze.
4 Naye ebyo mbibabuulidde, era ekiseera kyabyo bwe kituukanga mujjukire nga nze nnababuulira. N'ebyo okuva ku lubereberye saabibabuulira, kubanga nnali wamu nammwe.
5 Naye kaakano ŋŋenda eri oli eyantuma; era tewali ku mmwe ambuuza nti Ogenda wa?
6 Naye kubanga mbabuulidde ebyo, emitima gyammwe gijjudde ennaku.
7 Naye nze mbagamba amazima; kibasaanira mmwe nze okugenda; kubanga nze bwe sirigenda, Omubeezi talibajjira; naye bwe ndigenda ndimutuma gye muli.
8 Ye bw'alijja, alirumiriza ensi olw'ekibi, n'olw'obutuukirivu, n'olw'omusango;
9 olw'ekibi, kubanga tebanzikiriza nze;
10 olw'obutuukirivu, kubanga ŋŋenda eri Kitange, so nammwe temukyandaba nate;
11 olw'omusango, kubanga omukulu w'ensi eno asaliddwa omusango.
12 Nkyalina bingi okubabuulira, naye temuyinza kubigumiikiriza kaakano.
13 Naye bw'alijja oyo Omwoyo ow'amazima, anaabaluŋŋamyanga mu mazima gonna: kubanga taayogerenga ku bubwe yekka; naye byonna by'anaawuliranga by'anaayogeranga: ye anaababuuliranga ebigenda okujja.
14 Oyo anangulumizanga nze: kubanga anaatoolanga ku byange n'ababuulira mmwe.
15 Byonna byonna Kitange by'ali nabyo bye byange: kyenvudde ŋŋamba nti Anaatoolanga ku byange n'abuulira mmwe.
16 Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba nate; era nate walibaawo ekiseera kitono, ne mundaba.
17 Abayigirizwa be abamu kyebaava boogera bokka na bokka nti Kiki kino ky'atugamba nti Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba; nate walibaawo ekiseera kitono, ne mundaba; era nti Kubanga ŋŋenda eri Kitange?
18 Kyebaava bagamba nti Kiki kino ky'agamba nti Ekiseera kitono? Tetumanyi ky'agamba.
19 Yesu n'ategeera nga baagala okumubuuza, n'abagamba nti Mwebuuzaganya mwekka olw'ekyo kye mbagambye nti Esigadde ekiseera kitono, ne mutandaba, era nate walibaawo ekiseera kitono ne mundaba?
20 Ddala ddala mbagamba nti mmwe mulikaaba mulikuba ebiwoobe, naye ensi erisanyuka: mmwe mulinakuwala, naye ennaku zammwe zirifuuka ssanyu.
21 Omukazi bw'azaala alaba ennaku, kubanga ekiseera kye kituuse: naye omwana bw'amala okuzaalibwa nga takyajjukira kulumwa, olw'essanyu ery'okuzaala omuntu mu nsi.
22 Kale nammwe kaakano munakuwala: naye ndibalaba nate, n'emitima gyammw'e girisanyuka, n'essanyu lyammwe tewali muntu alibaggyako.
23 Ne ku lunaku luli temulibaako kye munsaba. Ddala ddala mbagamba nti Buli kye mulisaba Kitange, alikibawa mu linnya lyange.
24 Okutuusa leero temusabanga kigambo mu linnya lyange: musabe, muliweebwa, essanyu lyammwe lituukirire.
25 Ebyo mbibabuuliridde mu ngero: naye obudde bugenda okujja, mwe siryogerera nammwe mu ngero, naye ndibibabuulira ebya Kitange mu lwatu.
26 Ku lunaku luli mulisaba mu linnya lyange: so sibagamba nti ndibasabira eri Kitange;
27 kubanga Kitange yennyini abaagala, kubanga munjagadde nze, mukkirizza nga nnava eri Kitange.
28 Nnava eri Kitange, ne njija mu nsi: nate ensi ngireka, ŋŋenda eri Kitange.
29 Abayigirizwa be ne bamugamba nti Laba, kaakano oyogera lwatu, toyogera lugero.
30 Kaakano tumanyi ng'omanyi byonna, so teweetaaga muntu yenna okukubuuza; kyetuva tukkiriza nga wava eri Katonda.
31 Yesu n'abaddamu nti Kaakano mukkirizza?
32 Laba, ekiseera kijja, era kituuse, mwe munaasaasaanira, buli muntu mu bibye, munandeka nze nzekka: so si nzekka, kubanga Kitange ali wamu nange.
33 Ebyo mbibabuulidde, mube n'emirembe mu nze. Mu nsi mulina ennaku: naye mugume; nze mpangudde ensi.