Yokaana

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21

0:00
0:00

Essuula 13

Naye embaga ey'Okuyitako yali nga tennatuuka, Yesu bwe yamanya ng'ekiseera kye kituuse okuva mu nsi muno okugenda eri Kitaawe, bwe yayagala ababe abali mu nsi, yabaagala okutuusa enkomerero.
2 Bwe baali balya emmere ey'ekyeggulo Setaani nga yamaze dda okuweerera Yuda Isukalyoti omwana wa Simooni mu mutima gwe okumulyamu olukwe,
3 Yesu bwe yamanya nga Kitaawe amuwadde byonna mu mukono gwe, era nga yava wa Katonda, ate ng'adda wa Katonda,
4 n'ava ku mmere, n'ayambulamu engoye ze; n'addira ekiremba, ne yeesiba ekimyu.
5 N'alyoka afuka amazzi mu kibya, n'atanula okunaaza abayigirizwa ebigere n'okubisiimuuza ekiremba kye yali yeesibye.
6 Awo n'ajja eri Simooni Peetero. Naye n'amugamba nti Mukama wange, ggwe onnaaza ebigere?
7 Yesu n'addamu n'amugamba nti Kye nkola nze tokimanyi ggwe kaakano, naye olikitegeera luvannyuma.
8 Peetero n'amugamba nti Tonnaazenga bigere byange emirembe gyonna. Yesu n'amuddamu nti Bwe ssiikunaaze tossa kimu nange.
9 Simooni Peetero n'amugamba nti Mukama wange, si bigere byange byokka, naye n'emikono n'omutwe.
10 Yesu n'amugamba nti Anaazibwa omubiri taliiko kye yeetaaga wabula okunaaba ebigere byokka, naye yenna nga mulongoofu: nammwe muli balongoofu naye si mwenna.
11 Kubanga yamumanya anaamulyamu olukwe; kyeyava ayogera nti Mwenna temuli balongoofu.
12 Awo bwe yamala okubanaaza ebigere, n'ayambala engoye ze, n'atuula nate, n'abagamba nti Mutegedde kye mbakoze?
13 Mmwe mumpita Muyigiriza era Mukama wammwe: era mwogera bulungi; kubanga bwe ndi.
14 Kale oba nga nze Mukama wammwe era Omuyigiriza mbanaazizza ebigere, era nammwe kibagwanira okunaazagananga ebigere.
15 Kubanga mbawadde ekyokulabirako, era nga bwe mbakoze nze, nammwe mukolenga bwe mutyo.
16 Ddala ddala mbagamba nti Omuddu tasinga bukulu mukama we; so omutume tasinga bukulu oli eyamutuma.
17 Bwe mubimanya ebyo, mulina omukisa bwe mubikola.
18 Soogedde ku mmwe mwenna: nze mmanyi be nnalondamu: naye ekyawandiikibwa kituukirire nti Alya ku mmere yange ye annyimusiza ekisinziiro kye.
19 Okusooka leero mbabuulira nga tekinnaba kubaawo, era ne bwe kiriba, mulyoke mukkirize nga nze nzuuyo.
20 Ddala ddala mbagamba nti Asembeza buli gwe ntuma, ng'asembezza nze: era asembeza nze, ng'asembezezza oli eyantuma.
21 Yesu bwe yamala okwogera bw'atyo, ne yeeraliikirira mu mwoyo, n'ategeeza, n'ayogera nti Ddala ddala mbagamba nti omu ku mmwe anandyamu olukwe.
22 Abayigirizwa ne batunulaganako, nga babuusabuusa gw'ayogeddeko bw'ali.
23 Waaliwo omu ku bayigirizwa be eyali agalamidde mu kifuba kya Yesu ku mmere, Yesu gwe yayagalanga.
24 Awo Simooni Peetero n'awenya oyo, n'amugamba nti Tubuulire gw'ayogeddeko bw'ali.
25 Ye bwe yagalamira mu kifuba kya Yesu, nga bwe yali, n'amugamba nti Mukama wange, ye ani?
26 Awo Yesu n'addamu nti Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa ye wuuyo. Awo bwe yakoza ekitole, n'akitwala, n'akiwa Yuda omwana wa Simooni Isukalyoti.
27 Bwe yamala okuweebwa ekitole, Setaani n'alyoka amuyingiramu. Awo Yesu n'amugamba nti Ky'okola, kola mangu.
28 Naye ekigambo ekyo tewali muntu ku bo abaali batudde ku mmere eyakitegeera ekikimwogezza.
29 Kubanga abalala baateerera nti kubanga Yuda ye yali akwata ensawo, Yesu kyeyava amugamba nti Gula bye twetaaga eby'oku mbaga; oba awe abaavu ekintu.
30 Awo bwe yamala okuweebwa ekitole, amangu ago n'afuluma ebweru; bwali nga buzibye.
31 Awo bwe yamala okufuluma, Yesu n'agamba nti Kaakano Omwana w'omuntu agulumizibwa, ne Katonda agulumizibwa mu ye;
32 era Katonda alimugulumiza mu ye yennyini, era amangu ago anaamugulumiza.
33 Baana bange, ekiseera kitono nga nkyali nammwe. Mulinnoonya: era nga bwe nnagamba Abayudaaya nti Gye ŋŋenda nze mmwe temuyinza kujja, era nammwe bwe mbagamba kaakano.
34 Etteeka eriggya mbawa nti Mwagalanenga; nga bwe nnabaagalanga mmwe, era nammwe mwagalanenga.
35 Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n'okwagalana mwekka na mwekka.
36 Simooni Peetero n'amugamba nti Mukama wange, ogenda wa? Yesu n'addamu nti Gye ŋŋenda, toyinza kungoberera kaakano; naye olingoberera gye bujja.
37 Peetero n'amugamba nti Mukama wange, kiki ekindobera okukugoberera kaakano? N'awaayo obulamu bwange ku lulwo.
38 Yesu n'addamu nti Onoowaayo obulamu bwo ku lwange? Ddala ddala nkugamba nti Enkoko teekookolime okutuusa lw'ononneegaana emirundi esatu.