Yokaana

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21

0:00
0:00

Essuula 17

Yesu yayogera ebyo; n'ayimusa amaaso ge mu ggulu n'agamba nti Kitange, ekiseera kituuse; gulumiza Omwana wo, Omwana wo akugulumize:
2 nga bwe wamuwa obuyinza ku balina omubiri bonna, era bonna be wamuwa, abawe obulamu obutaggwaawo.
3 Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow'amazima, n'oyo gwe watuma, Yesu Kristo.
4 Nze nkugulumizizza ku nsi kubanga omulimu gwe wampa okukola ngukomekkerezza.
5 Ai Kitange, ne kaakano ngulumiza ggwe wamu naawe mu kitiibwa kiri kye nnali nakyo awamu naawe ng'ensi tennabaawo.
6 Njolesezza erinnya lyo abantu be wampa okubaggya mu nsi: baali babo, n'obampa nze; nabo bakutte ekigambo kyo.
7 Kaakano bategedde nga byonna bye wampa biva mu ggwe:
8 kubanga ebigambo bye wampa mbibawadde; ne babiganya, ne bategeera mazima nga nnava gy'oli, ne bakkiriza nga ggwe wantuma.
9 Nze mbasabira abo; sisabira nsi, wabula bo be wampa; kubanga babo:
10 era ebyange byonna bibyo, n'ebibyo byange: nange ngulumizibwa mu bo.
11 Siri mu nsi nate, naye bano bali mu nsi, nange njija gy'oli. Kitange Omutukuvu, obakuumenga mu linnya lyo be wampa, babeerenga bumu, nga ffe.
12 Bwe nnali nabo be wampa nnabakuumanga mu linnya lyo: era ne mbazibira, tekubulanga muntu ku bo, wabula omwana w'okubula; ebyawandiikibwa bituukirire.
13 Naye kaakano njija gy'oli; na bino mbyogera mu nsi babe n'essanyu lyange nga lituukiridde mu bo.
14 Mbawadde ekigambo kyo; era ensi yabakyawa, kubanga si ba nsi nga nze bwe siri wa nsi.
15 Sisaba ggwe kubaggya mu nsi, naye obakuumenga mu bubi.
16 Si ba nsi, nga nze bwe siri wa nsi.
17 Obatukuze mu mazima: ekigambo kyo ge mazima,
18 Nga bwe wantuma mu nsi, nange bwe nnabatuma mu nsi.
19 Era nze nneetukuza ku bwabwe, nabo bennyini batukuzibwe mu mazima.
20 So sibasabira bano bokka, naye n'abo abanzikiriza olw'ekigambo kyabwe;
21 bonna babeerenga bumu; nga ggwe, Kitange, bw'oli mu nze, nange mu ggwe, era nabo babeerenga mu ffe: ensi ekkirize nga ggwe wantuma.
22 Nange ekitiibwa kye wampa nkibawadde; babeerenga bumu, nga ffe bwe tuli obumu;
23 nze mu bo, naawe mu nze, batuukiririre okuba obumu; ensi etegeerenga nga ggwe wantuma, n'obaagala bo, nga bwe wanjagala nze.
24 Kitange, be wampa, njagala, we ndi nze, nabo we baba babeeranga nange; balabe ekitiibwa kyange kye wampa: kubanga wanjagala nze ng'ensi tennatondebwa.
25 Kitange Omutuukirivu ensi teyakutegeera, naye nze nnakutegeera; na bano baategeera nga ggwe wantuma;
26 era nnabategeeza erinnya lyo era nditegeeza; okwagala kwe wanjagala kubeerenga mu bo, nange mu bo.