Yokaana
Essuula 18
Awo Yesu bwe yamala okwogera ebigambo ebyo n'afuluma n'abayigirizwa be ne basomoka akagga Kidulooni, eyali olusuku, n'agenda omwo ye n'abayigirizwa be.
2 Era ne Yuda amulyamu olukwe, yali amanyi ekifo ekyo: kubanga Yesu yagendangayo emirundi mingi n'abayigirizwa be.
3 Awo Yuda, bwe yamala okuweebwa ekitongole ky'abaserikale n'abaami okuva eri bakabona abakulu n'Abafalisaayo, n'ajjayo ng'alina ettabaaza, n'emimuli, n'amafumu.
4 Awo Yesu bwe yamanya ebigambo byonna ebinaamujjira, n'avaayo n'abagamba nti Munoonya ani?
5 Ne bamuddamu nti Yesu Omunazaaleesi. Yesu n'abagamba nti Nze nzuuno. Era ne Yuda, amulyamu olukwe, yali ayimiridde nabo.
6 Awo bwe yabagamba nti Nze nzuuno, ne badda ennyuma ne bagwa wansi.
7 Ate n'ababuuza omulundi ogw'okubiri nti Munoonya ani? Ne bagamba nti Yesu Omunazaaleesi.
8 Yesu n'addamu nti Mbabuulidde nti nze nzuuno: kale oba nga munoonya nze, muleke bano bagende:
9 ekigambo kye yayogera kituukirizibwe nti Ku abo be wampa saabuzaako n'omu.
10 Awo Simooni Peetero eyalina ekitala n'akisowola n'atema omuddu wa kabona asinga obukulu, n'amusalako okutu okwa ddyo. N'erinnya ly'omuddu Maluko.
11 Awo Yesu n'agamba Peetero nti Zzaamu ekitala mu kiraato kyakyo: ekikompe Kitange ky'ampadde, siikinywe?
12 Awo ekitongole ky'abaserikale, n'omwami waabwe omukulu, n'abaweereza b'Abayudaaya ne bakwata Yesu ne bamusiba,
13 ne basooka okumutwala eri Ana; kubanga yali mukoddomi wa Kayaafa, eyali kabona asinga obukulu mu mwaka guli.
14 Era Kayaafa oyo ye yawa Abayudaaya amagezi nti kisaana omuntu omu okufiirira abantu.
15 Simooni Peetero n'omuyigirizwa omulala ne bagoberera Yesu. Awo omuyigirizwa oli yali amanyiddwa kabona asinga obukulu, n'ayingira ne Yesu mu luggya lwa kabona asinga obukulu;
16 naye Peetero yali ayimiridde ebweru ku luggi. Awo omuyigirizwa oyo omulala eyali amanyiddwa kabona asinga obukulu n'afuluma n'ayogera n'omuwala omuggazi w'oluggi, n'ayingiza Peetero.
17 Awo omuwala oyo omuggazi w'oluggi n'agamba Peetero nti Naawe oli wa mu bayigirizwa ba muntu ono? N'agamba nti Siri waamu.
18 Abaddu n'abaweereza baali bayimiridde awo nga bakumye omuliro gw'amanda; kubanga yali mpewo; ne boota omuliro: ne Peetero naye yali nabo ng'ayimiridde ng'ayota omuliro.
19 Awo kabona asinga obukulu n'abuuza Yesu ebigambo by'abayigirizwa be, n'eby'okuyigiriza kwe.
20 Yesu n'amuddamu nti nze nnabuuliranga lwatu ensi; bulijjo nnayigirizanga mu makuŋŋaaniro ne mu yeekaalu, mwe bakuŋŋaanira Abayudaaya bonna; soogeranga mu kyama kigambo na kimu.
21 Ombuuliza ki? buuza abampuliranga, bye nnabagamba: laba, abo bamanyi nze bye nnayogera.
22 Bwe yayogera ebyo omu ku baweereza eyali amuyimiridde okumpi n'akuba Yesu oluyi n'agamba nti Oddamu oti kabona asinga obukulu?
23 Yesu n'amuddamu nti Oba njogedde bubi, kinnumirize ekibi: naye oba kirungi, onkubira ki?
24 Awo Ana n'amuweereza nga musibe eri Kayaafa kabona asinga obukulu.
25 Ne Simooni Peetero yali ayimiridde ng'ayota omuliro. Awo ne bamugamba nti Naawe oli wa mu bayigirizwa be? Ye ne yeegaana n'agamba nti Siri waamu.
26 Omu ku baddu ba kabona asinga obukulu ow'ekika ky'oyo Peetero gwe yasalako okutu, n'agamba nti Nze saakulabye naye mu lusuku muli?
27 Peetero ne yeegaana nate: amangu ago enkoko n'ekookolima.
28 Ne baggya Yesu eri Kayaafa, ne bamutwala mu kigango: era bwali bukya; bo bennyini ne batayingira mu kigango, baleme okweyonoona, naye bamale okulya Okuyitako.
29 Awo Piraato n'afuluma n'agenda gye baali, n'agamba nti Musango ki gwe mulanze omuntu ono?
30 Ne baddamu ne bamugamba nti Omuntu ono singa abadde takoze bubi, tetwandimuleese gy'oli.
31 Awo Piraato n'abagamba nti Kale mumutwale mmwe mumusalire omusango ng'amateeka gammwe bwe gali. Abayudaaya ne bamugamba nti Tekyatulagirwa kutta muntu yenna;
32 ekigambo kya Yesu kituukirizibwe, kye yayogera, ng'alaga okufa kw'agenda okufa bwe kuli.
33 Awo Piraato n'ayingira nate mu kigango, n'ayita Yesu n'amugamba nti Ggwe Kabaka w'Abayudaaya?
34 Yesu n'addamu nti Kino okyogedde ku bubwo nantiki balala be bakubuulidde ebigambo byange?
35 Piraato n'addamu nti Nze ndi Muyudaaya? Ab'eggwanga lyammwe ne bakabona abakulu be bakundeetedde: okoze ki?
36 Yesu n'addamu nti Obwakabaka bwange si bwa mu nsi muno: singa obwakabaka bwange bubadde bwa mu nsi muno, basajja bange bandirwanye, ne ssiweebwayo mu Bayudaaya: naye kaakano obwakabaka bwange si bwa wano.
37 Awo Piraato n'amugamba nti Kale ggwe kabaka? Yesu n'addamu nti Oyogedde, kubanga nze kabaka. Nze nnazaalirwa ekyo, n'ekyo kye kyandeeta mu nsi, ntegeeze amazima. Buli ow'amazima awulira eddoboozi lyange.
38 Piraato n'amugamba nti Amazima kye ki? Bwe yamala okwogera ekyo, n'afuluma nate n'agenda awali Abayudaaya, n'abagamba nti Siraba musango ku ye.
39 Naye mulina empisa, nze okubateeranga omu ku Kuyitako: kale mwagala mbateere Kabaka w'Abayudaaya?
40 Awo ne bakaayana, ne bagamba nti Si ono, wabula Balaba. N'oyo Balaba yali munyazi.