Yokaana
Essuula 2
Olunaku olw'okusatu, ne waba embaga ey'obugole mu Kaana eky'e Ggaliraaya; ne nnyina Yesu yaliwo;
2 Yesu ne bamuyita n'abayigirizwa be ku mbaga.
3 Naye omwenge bwe gwaggwaawo, nnyina Yesu n'amugamba nti Tebalina nvinnyo.
4 Yesu n'amugamba nti Omukyala, Onvunaana ki? ekiseera kyange tekinnaba kutuuka.
5 Nnyina n'agamba abaweereza nti Ky'anaabagamba kyonna, kye mukola.
6 Waaliwo amasuwa ag'amayinja mukaaga, agaateekebwawo olw'empisa ey'okutukiiza kw'Abayudaaya, buli limu nga livaamu ensuwa nga bbiri oba ssatu.
7 Yesu n'abagamba nti Amasuwa mugajjuze amazzi. Ne bagajjuza okutuusa ku migo.
8 N'abagamba nti Musene kaakano, mutwalire omugabuzi w'embaga. Ne bamutwalira.
9 Awo omugabuzi w'embaga bwe yalega ku mazzi agafuuse envinnyo, n'atamanya gy'evudde (naye abaweereza abaasena amazzi baamanya), omugabuzi w'embaga n'ayita awasizza omugole,
10 n'amugamba nti Buli muntu asooka kussaawo nvinnyo nnungi; naye abantu bwe bakkuta, n'alyoka assaawo embi: naye ggwe oterese ennungi okutuusa kaakano.
11 Kano ke kabonero Yesu ke yasookerako okukola mu Kaana eky'e Ggaliraaya, n'alabisa ekitiibwa kye; abayigirizwa be ne bamukkiriza.
12 Awo oluvannyuma lw'ekyo n'aserengeta e Kaperunawumu, ye ne nnyina ne baganda be n'abayigirizwa be: ne bamalayo ennaku si nnyingi.
13 Okuyitako okw'Abayudaaya kwali kunaatera okutuuka, Yesu n'ayambuka e Yelusaalemi.
14 N'asanga mu yeekaalu abatunda ente n'endiga n'amayiba, n'abawaanyisa effeeza nga batudde:
15 n'afuula emigwa olukoba, n'abagoba bonna mu yeekaalu, n'endiga n'ente; n'ayiwa effeeza ez'abawaanyisa effeeza, n'avuunika embaawo zaabwe;
16 n'agamba abaali batunda amayiba nti Muggyeewo ebintu bino: muleme kufuula nnyumba ya Kitange nnyumba ya buguzi.
17 Abayigirizwa be ne bajjukira nga kyawandiikibwa nti Obuggya bw'ennyumba yo bulindya.
18 Awo Abayudaaya ne baddamu ne bamugamba nti Kabonero ki k'otwolesa akakukoza bino?
19 Yesu n'addamu n'abagamba nti Mumenye yeekaalu eno, nange ndigizimbira ennaku ssatu.
20 Awo Abayudaaya ne boogera nti Yeekaalu eno yazimbirwa emyaka amakumi ana mu mukaaga, naawe oligizimbira ennaku ssatu?
21 Naye yayogera ku yeekaalu ya mubiri gwe.
22 Awo bwe yazuukizibwa mu bafu, abayigirizwa be ne bajjukira nti yayogera ekyo; ne bakkiriza ebyawandiikibwa, n'ekigambo Yesu kye yayogera.
23 Awo bwe yali mu Yerusaalemi ku Kuyitako, ku mbaga, bangi ne bakkiriza erinnya lye, bwe baalaba obubonero bwe bwe yakola.
24 Naye Yesu n'atabeeyabizaamu kubanga yategeera bonna,
25 era teyeetaaga muntu yenna okutegeeza eby'abantu; kubanga ye yennyini yategeera ebyali mu bantu.