2 Ebyomumirembe
Essuula 9
Awo kabaka omukazi w'e Seeba bwe yawulira ettutumo lya Sulemaani, n'ajja okukema Sulemaani n’ebibuuzibwa ebizibu, e Yerusaalemi, ng'alina abaddu bangi nnyo n’eŋŋamira ezeetisse eby'akaloosa ne zaabu nnyingi nnyo n'amayinja ag'omuwendo omungi: awo bwe yajja eri Sulemaani, n'ateesa naye ebyo byonna ebyali mu mutima gwe.
2 Awo Sulemaani n'amutegeeza byonna bye yamubuuza: tewali kintu ekyakwekebwa kabaka ky'ataamutegeeza.
3 Awo kabaka omukazi w’e Seeba bwe yamala okulaba amagezi ga Sulemaani n'ennyumba gye yazimba,
4 n'emmere ey'oku mmeeza ye n'okutuula kw'abaddu be n'okuweereza kw'abaweereza be n'ebyambalo byabwe; n'abasenero be n'ebyambalo byabwe; n'olutindo lwe lwe yalinnyirangako okugenda mu nnnyumba ya Mukama; kale nga temukyasigadde mwoyo mu ye.
5 N'agamba kabaka nti Ekigambo kye nnawulirira mu nsi yange kyali kya mazima eky'ebikolwa byo n'amagezi go.
6 Era naye sakkiriza bigambo byabwe okutuusa lwe nnajja amaaso gange ne gakiraba: era, laba, saabuulirwa kitundu kya bukulu bw'amagezi go: osinga ettutumo lye nnawulira.
7 Abasajja bo balina omukisa, abaddu bo bano balina omukisa, abayimirira mu maaso go ennaku zonna ne bawulira amagezi go.
8 Mukama Katonda wo yeebazibwe eyakusanyukira okukuteeka ku ntebe okuba kabaka olwa Mukama Katonda wo: kubanga Katonda wo yayagala Isiraeri okubanyweza emirembe gyonna, kyeyava akufuula kabaka waabwe okukolanga eby'ensonga n'eby'obutuukirivu.
9 Awo n'awa kabaka zaabu talanta kikumi mu abiri, n'eby'akaloosa bingi nnyo nnyini n'amayinja ag'omuwendo omungi: so tewaabaawo bya kaloosa ebyenkanidde awo ng'ebyo kabaka omukazi w'e Seeba bye yawa kabaka Sulemaani.
10 Era n'abaddu ba Kulamu n'abaddu ba Sulemaani abaaleetanga zaabu okuva e Ofiri, ne baleeta emitoogo n'amayinja ag'omuwendo omungi.
11 Kabaka n'akola n'emitoogo entindo ez'ennyumba za Mukama n'ennyumba ya kabaka, n'ennanga n'entongooli z'abayimbi: so tewaalabikanga edda mu nsi ya Yuda egifaanana bwe gityo.
12 Awo kabaka Sulemaani n'awa kabaka omukazi w'e Seeba byonna bye yayagala, buli kye yasaba kyonna, obutassaako ebyo bye yaleetera kabaka. Awo n'akyusa n'addayo mu nsi ye ye, ye n'abaddu be.
13 Era ezaabu eyajja eri Sulemaani mu mwaka ogumu obuzito bwayo bwali talanta za zaabu lukaaga mu nkaaga mu mukaaga,
14 obutassaako eyo abasuubuzi n'ab'obuguzi gye baaleetanga: ne bakabaka bonna ab'e Buwalabu n'abakulu b'ensi ne baleetera Sulemaani zaabu n'effeeza.
15 Era kabaka Sulemaani n'aweesa obugabo ebikumi bibiri ebya zaabu empeese: buli kagabo n'akawaako (sekeri) za zaabu lukaaga.
16 N'akola engabo ebikumi bisatu ebya zaabu empeese; buli ngabo n'agiwaako sekeri ebikumi bisatu: kabaka n'azitereka mu nnyumba ey'ekibira kya Lebanooni.
17 Era kabaka n'akola entebe ey'obwakabaka ennene ya masanga n'agibikkako zaabu nnungi.
18 Entebe yaliko amadaala mukaaga, era yaliko entebe ey'ebigere eya zaabu, era gaasibibwa n'entebe, era yaliko emikono eruuyi n'eruuyi awatuulibwa, n'empologoma bbiri nga ziyimiridde ku mabbali g'emikono.
19 N'empologoma kkumi na bbiri zaayimirira eruuyi n'eruuyi ku madaala omukaaga: tewali eyakolebwa mu bwakabaka bwonna okugifaanana.
20 Era ebintu byonna ebya kabaka Sulemaani eby'okunyweramu byali bya zaabu, n'ebintu byonna eby'omu nnyumba ey'ekibira kya Lebanooni byali bya zaabu nnongoofu: ffeeza teyalowoozebwa nga kintu ku mirembe gya Sulemaani.
21 Kubanga kabaka yalina malikebu ezaagendanga e Talusiisi wamu n'abaddu ba Kulamu; malikebu ez'e Talusiisi zajjanga mulundi gumu buli myaka esatu nga zireeta zaabu n'effeeza, amasanga n'enkobe ne bamuzinge.
22 Awo kabaka Sulemaani n'asinga bakabaka bonna ab'ensi obugagga n'amagezi.
23 Bakabaka b'ensi bonna ne banoonya amaaso ga Sulemaani okuwulira amagezi ge Katonda ge yali atadde mu mutima gwe.
24 Ne baleeta buli muntu ekirabo kye, ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'ebyambalo n'ebyokulwanyisa n'eby'akaloosa, embalaasi n'ennyumbu, ebyasalibwa ebya buli mwaka.
25 Era Sulemaani yalina ebisibo enkumi nnya olw'embalaasi n'amagaali, n'abasajja abeebagala embalaasi kakumi mu enkumi bbiri be yateeka mu bibuga eby'amagaali n'awali kabaka e Yerusaalemi.
26 Era yafuga bakabaka bonna okuva ku Mugga okutuuka ku nsi eya Abafirisuuti, ne ku nsalo ey'e Misiri.
27 Kabaka n'afuula ffeeza okuba ng'amayinja mu Yerusaalemi, n'emivule n'agifuula okuba ng'emisukomooli egiri mu biwonvu olw'obungi.
28 Ne baleeteranga Sulemaani embalaasi nga baziggya mu Misiri ne mu nsi zonna.
29 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Sulemaani, ebyasooka n'ebyamalirwako, tebyawandiikibwa mu bigambo bya Nasani nnabbi ne mu ebyo bye yalagula Akiya Omusiiro ne mu kwolesebwa kwa Iddo omulabi okwa Yerobowaamu mutabani wa Nebati?
30 Sulemaani n'afugira Isiraeri yenna mu Yerusaalemi emyaka amakumi ana.
31 Sulemaani ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa mu kibuga kya Dawudi kitaawe: Lekobowaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye.