2 Ebyomumirembe

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36

0:00
0:00

Essuula 28

Akazi yali yaakamaze emyaka amakumi abiri bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga mu Yerusaalemi, n'atakola ebyo ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi nga Dawudi kitaawe:
2 naye n'atambulira mu makubo ga bassekabaka ba Isiraeri, era n'akolera Babaali ebifaananyi ebisaanuuse.
3 Era nate n'ayoterezanga obubaane mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, n'ayokera abaana be mu muliro ng'emizizo gy'ab'amawanga bwe gyali Mukama be yagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri.
4 N'aweerangayo n'ayoterezanga obubaane ku bifo ebigulumivu ne ku nsozi ne wansi wa buli muti omubisi.
5 Mukama Katonda we kyeyava amugabula mu mukono gwa kabaka w'e Busuuli; ne bamukuba ne batwala ku babe ekibiina kinene eky'abasibe, ne babaleeta e Ddamasiko. Era n'agabulwa mu mukono gwa kabaka wa Isiraeri, n'amukuba olutta lunene.
6 Kubanga Peka mutabani wa Lemaliya yatta mu Yuda ku lunaku lumu kasiriivu mu obukumi bubiri, bonna basajja bazira; kubanga baali balese Mukama Katonda wa bajjajjaabwe.
7 Zikuli omusajja ow'amaanyi owa Efulayimu n'atta Maaseya mutabani wa kabaka ne Azulikamu saabakaaki ne Erukaana eyaddirira kabaka.
8 Abaana ba Isiraeri ne batwala nga basibe ku baganda baabwe obusiriivu bubiri, abakazi, abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala, era ne babaggyako omunyago mungi, ne baleeta omunyago e Samaliya.
9 Naye nnabbi wa Mukama yali eyo erinnya lye Odedi: naye n'afuluma okusisinkana eggye eryajja e Samaliya, n'abagamba nti Laba, kubanga Mukama Katonda wa bajjajjammwe yasunguwalira Yuda, kyavudde abagabula mu mukono gwammwe, era mubassizza obusungu obutuuse mu ggulu.
10 Ne kaakano mwagala okufuga abaana ba Yuda ne Yerusaalemi, okuba gye muli abaddu n'abazaana: naye nammwe temuliiko byonoono byammwe mmwe bye mwayonoona Mukama Katonda wammwe?
11 Kale nno mumpulire, muzzeeyo abasibe be muwambye ku baganda bammwe: kubanga ekiruyi ekikambwe ekya Mukama kibaliko.
12 Awo abamu ku mitwe gy'abaana ba Efulayimu, Azaliya mutabani wa Yokanani, Berakiya mutabani wa Mesiremosi, ne Yekizukiya mutabani wa Salumu, ne Amasa mutabani wa Kadalayi ne bayimirira okuziyiza abo abaava mu ntalo,
13 ne babagamba nti Temuyingizanga wano abasibe: kubanga mwagala ekyo ekirituleetako ekyonoono eri Mukama okwongera ku bibi byaffe ne ku kwonoona kwaffe: kubanga okwonoona kwaffe kunene, era waliwo ekiruyi ekikambwe eri Isiraeri.
14 Awo abasajja abakutte ebyokulwanyisa ne baleka abasibe n'omunyago mu maaso g'abakulu n'ekibiina kyonna.
15 Abasajja abaatuddwa amannya gaabwe ne bagolokoka ne baddira abasibe, ne bambaza omunyago abo bonna mu bo abaali obwereere mu bo n'omunyago, ne babawa engoye, n'engatto, ne babaliisa ne babanywesa ne babasiiga amafuta, ne basitulira ku ndogoyi bonna ku bo abanafu, ne babatuusa e Yeriko ekibuga eky'enkindu eri baganda baabwe; awo ne balyoka baddayo e Samaliya.
16 Mu biro ebyo kabaka Akazi n'atumira bakabaka b'e Bwasuli okumuyamba.
17 Kubanga Abaedomu baali bazze olw'okubiri ne bakuba Yuda ne banyaga abasibe.
18 Era n'Abafirisuuti ne batabaala ebibuga eby'omu nsenyi n'eby'omu bukiika obwa ddyo obwa Yuda, ne bamenya Besusemesi ne Ayalooni ne Gederosi ne Soko n'ebibuga byako ne Timuna n'ebibuga byako, Gimuzo nakyo n'ebibuga byako: ne babeeranga omwo.
19 Kubanga Mukama yatoowaza Yuda olwa Akazi kabaka wa Isiraeri; kubanga yali akoze eby'ekyejo mu Yuda n'ayonoona nnyo Mukama.
20 Awo Tirugasupiruneseri kabaka w'e Bwasuli n'ajja gy'ali, n'amweraliikiriza naye n'atamuwa maanyi.
21 Kubanga Akazi yaggya ekitundu ky'ebintu mu nnyumba ya Mukama ne mu nnyumba ya kabaka n'ey'abakulu, n'akiwa kabaka w'e Bwasuli: naye ne kitamuyamba.
22 Ne mu kiseera mwe yalabira ennaku ne yeeyongera nate okusobya Mukama, oyo kabaka Akazi.
23 Kubanga yawaayo ssaddaaka eri bakatonda b'e Ddamasiko abaamukuba: n'ayogera nti Kubanga bakatonda ba bakabaka w'e Busuuli babayamba kyennaava mpaayo ssaddaaka eri bo bannyambe. Naye ne bamuzikiriza ne Isiraeri yenna.
24 Akazi n'akuŋŋaanya ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda, n'atemaatema ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda, n'aggalawo enzigi z'ennyumba ya Mukama; ne yeekolera ebyoto mu Yerusaalemi mu buli kafo.
25 Ne mu buli kibuga kya Yuda kinnakimu n'akolamu ebifo ebigulumivu okwotereza obubaane bakatonda abalala, n'asunguwaza Mukama Katonda wa bajjajjaabe.
26 Era ebikolwa bye ebirala byonna n'amakubo ge gonna, ebyasooka n'ebyamalirwako, laba, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Yuda ne Isiraeri.
27 Akazi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe ne bamuziika mu kibuga, mu Yerusaalemi; kubanga tebaamuyingiza mu masiro ga bassekabaka ba Isiraeri: Keezeekiya mutabani we n'amuddira mu bigere.