2 Ebyomumirembe

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36

0:00
0:00

Essuula 35

Awo Yosiya n'akwata Okuyitako eri Mukama mu Yerusaalemi: ne batta Okuyitako ku (lunaku) olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogw'olubereberye.
2 N'ateeka bakabona mu ebyo bye baalagirwa n'abagumya omwoyo olw'okuweereza okw'omu nnyumba ya Mukama.
3 N'agamba Abaleevi abaayigirizanga Isiraeri yenna, abatukuvu eri Mukama, nti Muteeke essanduuko entukuvu mu nnyumba Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka wa Isiraeri gye yazimba; tewakyabeera mugugu ku bibegabega byammwe: muweereze nno Mukama Katonda wammwe n'abantu be Isiraeri.
4 Era mweteeketeeke ng'ennyumba za bakitammwe bwe ziri mu mpalo zammwe, ng'ekiwandiike bwe kiri ekya Dawudi kabaka wa Isiraeri n'ekiwandiike kya Sulemaani mutabani we.
5 Era muyimirire mu kifo ekitukuvu ng'ennyumba za bakitaabwe eza baganda bammwe abaana b'abantu bwe zaayawulibwa, era wabeewo eri buli muntu omugabo ogw'ennyumba ya bakitaabwe ey'Abaleevi.
6 Era mutte Okuyitako mwetukuze muteekereteekere baganda bammwe okukola ng'ekigambo kya Mukama bwe kiri mu mukono gwa Musa.
7 Awo Yosiya n'awa abaana b'abantu ku mbuzi abaana b'endiga n'ab'embuzi, zonna ez'ebiweebwayo ez'Okuyitako eri bonna abaali eyo okuweza obukumi busatu, n'ente enkumi ssatu: ezo zaali za ku bintu bya kabaka.
8 N'abakulu be ne bawa abantu okuba ekiweebwayo ku bwabwe, eri bakabona n'Abaleevi. Kirukiya ne Zekkaliya ne Yekyeri, abaafuga ennyumba ya Katonda, ne bawa bakabona olw'ebiweebwayo eby'Okuyitako ebisolo ebitono enkumi bbiri mu lukaaga n'ente ebikumi bisatu.
9 Era Konaniya ne Semaaya ne Nesaneri, baganda be, ne Kasabiya ne Yeyeri ne Yozabadi, abakulu b'Abaleevi, ne bawa Abaleevi olw'ebiweebwayo eby'Okuyitako ebisolo ebitono enkumi ttaano n'ente ebikumi bitaano.
10 Bwe kutyo okuweereza ne kuteekebwateekebwa, bakabona ne bayimirira mu kifo kyabwe, n'Abaleevi mu mpalo zaabwe ng'ekiragiro kya kabaka bwe kyali.
11 Ne batta Okuyitako, bakabona ne bamansira omusaayi gwe baatoolera mu mukono gwabwe, Abaleevi ne bazibaaga.
12 Ne baggyayo ebiweebwayo ebyokebwa, balyoke babawe ng'ennyumba za bakitaabwe ez'abaana b'abantu bwe zaayawulibwa, okuwaayo eri Mukama nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa. Era bwe batyo bwe baakola ente.
13 Ne bookya Okuyitako omuliro ng'ekiragiro bwe kyali: n'ebiweebwayo ebitukuvu ne babifumba mu ntamu ne mu seffuliya ne mu nsaka, ne babitwala mangu eri abaana b'abantu bonna.
14 Awo oluvannyuma ne beeteekerateekera bokka ne bakabona; kubanga bakabona batabani ba Alooni tebaalina bbanga olw'okuwaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'amasavu okuzibya obudde: Abaleevi kyebaava beeteekerateekera bokka ne bakabona batabani ba Alooni.
15 N'abayimbi batabani ba Asafu baali mu kifo kyabwe, ng'ekiragiro kya Dawudi bwe kyali, ne Asafu ne Kemani ne Yedusuni, omulabi wa kabaka; n’abaggazi baali ku buli luggi: tebeetaaga kuva ku kuweereza kwabwe, kubanga baganda baabwe Abaleevi baabateekerateekera.
16 Bwe kutyo okuweereza kwonna okwa Mukama ne kuteekebwateekebwa ku lunaku olwo okukwata Okuyitako n'okuweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kya Mukama ng'ekiragiro kya kabaka Yosiya bwe kyali.
17 Abaana ba Isiraeri abaali eyo ne bakwata Okuyitako mu biro ebyo n'embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa, ennaku musanvu.
18 So tewabangawo Kuyitako okwafaanana okwo okwakwatibwa mu Isiraeri okuva ku biro bya Samwiri nnabbi; so tewabangawo ku bassekabaka ba Isiraeri eyakwata Okuyitako okufaanana okwo Yosiya kwe yakwata, ne bakabona n'Abaleevi ne Yuda yenna ne Isiraeri abaali eyo n’abo abaali mu Yerusaalemi.
19 Mu mwaka ogw'ekkumi n'omunaana ogw'okufuga kwa Yosiya mwe baakwatira Okuyitako okwo.
20 Awo oluvannyuma lw'ebyo byonna Yosiya bwe yamala okuteekateeka yeekaalu, Neeko kabaka w’e Misiri n'atabaala Kalukemisi mu kkubo lya Fulaati: Yosiya n'afuluma okulwana naye.
21 Naye n'atuma ababaka eri ye ng'ayogera nti Onvunaana ki, ggwe kabaka wa Yuda? sitabaala ggwe leero wabula ennyumba gye nnwana nayo; era Katonda andagidde okwanguwa: va ku Katonda ali nange aleme okukuzikiriza.
22 Naye Yosiya n'ataganya kukyusa amaaso ge okumuvaako, naye ne yeefuula okulwana naye, n'atawulira bigambo bya Neeko ebyava eri akamwa ka Katonda, n'ajja okulwanira mu kivonvu Megiddo.
23 Abalasi ne balasa kabaka Yosiya; kabaka n'agamba abaddu be nti Munziyeewo; kubanga nfumitiddwa nnyo.
24 Awo abaddu be ne bamuggya nu ggaali ne bamuteeka mu ggaali lye ery'okubiri lye yalina, ne bamuleeta e Yerusaalemi; n'afa n'aziikibwa mu masiro ga bajjajjaabe. Yuda yenna ne Yerusaalemi ne bakaabira Yosiya.
25 Ne Yeremiya n'akungubagira Yosiya: n'abasajja bonna abayimbi n'abakazi abayimbi ne boogera ku Yosiya nu kukungubaga kwabwe ne leero; ne bakufuula etteeka mu Isiraeri: era, laba, kwawandiikibwa mu kukungubaga.
26 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yosiya n'ebirungi bye yakola ng'ebyo bwe biri ebyawandiikibwa mu mateeka ga Mukama,
27 n'ebikolwa bye ebyasooka n'eby'amalirwako, laba, byawandiikibwa mu kitabo kya bassekabaka ba Isiraeri ne Yuda.