2 Ebyomumirembe
Essuula 21
Awo Yekosafaati ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe n'aziikibwa wamu ne bajjajjaabe mu kibuga kya Dawudi: Yekolaamu mutabani we n'afuga mu kifo kye.
2 Era yalina ab'oluganda batabani ba Yekosafaati, Azaliya ne Yekyeri ne Zekkaliya ne Azaliya ne Mikayiri ne Sefatiya: abo bonna batabani ba Yekosafaati kabaka wa Isiraeri.
3 Kitaabwe n'abawa ebirabo ebikulu, zaabu ne ffeeza n'ebintu eby'omuwendo omungi, n'ebibuga ebiriko enkomera mu Yuda: naye obwakabaka n'abuwa Yekolaamu, kubanga ye yali omubereberye.
4 Awo Yekolaamu bwe yamala okulinnyisibwa mu bwakabaka bwa kitaawe, era nga yeenywezezza n'alyoka atta baganda be bonna n'ekitala n'abamu ab'oku bakulu ba Isiraeri.
5 Yekolaamu yali yaakamaze emyaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi.
6 N'atambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri ng'ennyumba ya Akabu bwe baakolanga: kubanga yafumbirwa muwala wa Akabu: n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi.
7 Naye Mukama teyayagala kuzikiriza nnyumba ya Dawudi olw'endagaano gye yalagaana ne Dawudi, era nga bwe yasuubiza okumuwa ettabaaza n'abaana be emirembe gyonna.
8 Ku mirembe gye Edomu n'ajeema okuva wansi w'omukono gwa Yuda, ne beeteekerawo kabaka.
9 Awo Yekolaamu n'asomoka n'abaami be n'amagaali ge gonna wamu naye: n'agolokoka kiro n'akuba Abaedomu abaamuzingiza, n'abaami b'amagaali.
10 Awo Edomu n'ajeema okuva wansi w'omukono gwa Yuda ne leero. Awo Libuna n'ajeema mu biro ebyo wansi w'omukono gwe kubanga yali avudde ku Mukama, Katonda wa bajjajjaabe.
11 Era nate n'akola ebifo ebigulumivu ku nsozi za Yuda, n'ayenza abaabeeranga mu Yerusaalemi, n'akyamya Yuda.
12 Awo ne wamujjira ekiwandiike ekyava eri Eriya nnabbi ekyogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda wa Dawudi kitaawo nti Kubanga totambulidde mu makubo ga Yekosafaati kitaawo newakubadde mu makubo ga Asa kabaka wa Yuda;
13 naye n'otambulira mu kkubo lya bassekabaka ba Isiraeri, n'oyenza Yuda n'ababeera mu Yerusaalemi, ng'ennyumba ya Akabu bwe yakola; era, n'okutta watta baganda bo ab'omu nnyumba ya kitaawo, abaakusinga obulungi:
14 laba, Mukama alirwaza abantu bo kawumpuli mungi n'abaana bo ne bakazi bo n'ebintu byo byonna:
15 naawe oliba n'endwadde nnyingi ebyenda byo nga; birwadde okutuusa ebyenda byo lwe birikuvaamu olw'endwadde eya buli lunaku.
16 Awo Mukama n'akubiriza omwoyo gw'Abafirisuuti eri Yekolaamu, n'ogw'Abawalabu abaliraanye Abaesiyopya:
17 ne batabaala Yuda, ne bakiwagula ne bayingiramu ne banyaga ebintu byonna ebyalabika mu nnyumba ya kabaka ne batabani be ne bakazi be; ne watamusigalirawo mwana n'omu wabula Yekoyakaazi omuto ow'oku baana be,
18 Awo oluvannyuma lw'ebyo byonna Mukama n'amulwaza ebyenda endwadde etewonyezeka.
19 Awo olwatuuka ebiro bwe byayitawo emyaka ebiri nga giwedde ebyenda bye ne bimuvaamu olw'endwadde ye n'afa endwadde nnyingi. Abantu be ne batamunyookereza ng'okunyookeza kwa bajjajjaabe.
20 Yali yaakamaze emyaka amakumi asatu mu ebiri bwe yatanula okufuga, n'afugira emyaka munaana mu Yerusaalemi: n'agenda nga tewali amwegomba; ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, naye si mu masiro ga bassekabaka.