2 Ebyomumirembe

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36

0:00
0:00

Essuula 17

Yekosafaati mutabani we n'afuga mu kifo kye, ne yeenyweza okulwana ne Isiraeri.
2 N'ateeka eggye mu bibuga byonna ebiriko enkomera ebya Yuda n'ateeka ebigo mu nsi ya Yuda ne mu bibuga bya Efulayimu, Asa kitaawe bye yalya.
3 Mukama n'aba ne Yekosafaati, kubanga yatambuliranga mu makubo ag'olubereberye aga kitaawe Dawudi n’atagenda eri ba Baali;
4 naye n'agendanga eri Katonda wa kitaawe, n'atambulira mu mateeka ge so si ng'ebikolwa bya Isiraeri bwe byali.
5 Mukama kyeyava anyweza obwakabaka mu mukono gwe; Yuda yenna n'aleetera Yekosafaati ebirabo; n'aba n'obugagga n'ekitiibwa kingi nnyo.
6 Omutima gwe ne gugulumizibwa mu makubo ga Mukama: era n'aggyawo ebifo ebigulumivu ne Baasera mu Yuda.
7 Era mu mwaka ogw'okusatu ogw'okufuga kwe n'atuma abakungu be, Benikayiri ne Obadiya ne Zekkaliya ne Nesaneeri ne Mikaaya okuyigiriza mu bibuga bya Yuda;
8 era wamu nabo Abaleevi, Semaaya ne Nesaniya ne Zebadiya ne Asakeri ne Semiramoosi ne Yekonasaani ne Adoniya ne Tobbiya ne Tobadoniya, Abaleevi; era wamu nabo Erisaama ne Yekolaamu, bakabona.
9 Ne bayigiriza mu Yuda nga balina ekitabo eky'amateeka ga Mukama; ne batambulanga okubuna ebibuga byonna ebya Yuda ne bayigiriza mu bantu.
10 Entiisa ya Mukama n'egwa ku bwakabaka bwonna obw'ensi ezeetoolodde Yuda, n'okulwana ne batalwana ne Yekosafaati.
11 Abamu ku Bafirisuuti ne baleetera Yekosafaati ebirabo ne ffeeza okuba omusolo; era n'Abawalabu ne bamuleetera embuzi, endiga ennume kasanvu mu lusanvu, n'embuzi ennume kasanvu mu lusanvu.
12 Yekosafaati n'aba mukulu nnyo nnyini; n'azimba mu Yuda ebigo n'ebibuga eby'okuterekeramu.
13 Era yalina emirimu mingi mu bibuga bya Yuda; n'abasajja abalwanyi n'abasajja ab'amaanyi abazira mu Yerusaalemi.
14 Era kuno kwe kwali okubalibwa kwabwe ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali; ku Yuda abaami b'enkumi; Aduna omwami, era wamu naye abasajja ab'amaanyi abazira obusiriivu busatu:
15 n'eyamuddirira Yekokanani omwami, era wamu naye obusiriivu bubiri mu obukumi munaana:
16 n'eyamuddirira Amasiya mutabani wa Zikuli, eyeewaayo ku bubwe eri Mukama; era wamu naye abasajja ab'amaanyi abazira obusiriivu bubiri:
17 ne ku Benyamini; Eriyada omusajja ow'amaanyi omuzira, era wamu naye obusiriivu bubiri, abaakwatanga emitego n'engabo:
18 n'eyamuddirira Yekozabadi, era wamu naye akasiriivu mu obukumi munaana, abeeteeseteese okulwana.
19 Abo be baaweerezanga kabaka, obutassaako abo kabaka be yateeka mu bibuga ebyaliko enkomera okubuna Yuda yonna.