2 Ebyomumirembe

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25 26 27 28 29 30 31 32 33 34 35 36

0:00
0:00

Essuula 24

Yowaasi yali yaakamaze emyaka musanvu bwe yatanula okufuga; n'afugira emyaka amakumi ana mu Yerusaalemi: ne nnyina erinnya lye yali Zebbiya ow'e Beeruseba.
2 Yowaasi n'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebirungi ennaku zonna eza Yekoyaada kabona.
3 Yekoyaada n'amuwasiza abakazi babiri; n'azaala abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala.
4 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Yowaasi n'ayagala okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.
5 N'akuŋŋaanya bakabona n'Abaleevi, n'abagamba nti Mufulume mugende mu bibuga bya Yuda, musolooze ku Isiraeri yenna ffeeza ey'okuddaabiriza ennyumba ya Katonda wammwe buli mwaka, era temulema kwanguya ekigambo ekyo. Era naye Abaleevi ne batakyanguya.
6 Awo kabaka n’ayita Yekoyaada omukulu n'amugamba nti Kiki ekyakulobera okusalira Abaleevi okuleetanga omusolo gwa Musa omuddu wa Mukama olw'eweema ey'obujulirwa nga bagusolooza ku Yuda ne ku Yerusaalemi ne ku kibiina kya Isiraeri?
7 Kubanga batabani ba Asaliya, omukazi oyo omubi, baali bamenye ennyumba ya Katonda; era n'ebintu byonna ebyawongebwa eby'omu nnyumba ya Mukama ne babiwa Babaali.
8 Awo kabaka n'alagira ne bakola essanduuko, ne bagiteeka ebweru awali oluggi olw'ennyumba ya Mukama.
9 Ne balangira mu Yuda yonna ne mu Yerusaalemi okuleetera Mukama omusolo, Musa omuddu wa Katonda gwe yateeka ku Isiraeri mu ddungu.
10 Awo abakulu bonna n'abantu bonna ne basanyuka ne baleeta ne basuula mu ssaaduuko okutuusa lwe baamala.
11 Awo olwatuuka mu kiseera ekyo lwe baaleetanga essanduuko mu nju kabaka w'ateeseza ebigambo mu mukono gw'Abaleevi, era bwe baalaba nga mulimu ebintu bingi, awo omuwandiisi wa kabaka n'omuweereza wa kabona omukulu ne bajja ne baggyamu ebintu mu ssanduuko, ne bagitwala ne bagizza mu kifo kyayo. Bwe batyo bwe baakolanga buli lunaku, ne basolooza ebintu bingi nnyo.
12 Awo kabaka ne Yekoyaada ne bagiwa abo abaakolanga omulimu ogw'okuweerezanga okw'omu nnyumba ya Mukama; ne bagulirira ab'amayinja n'ababazzi okuddaabiriza ennyumba ya Mukama era n'abaweesi b'ebyuma n'ab'ebikomo okuddaabiriza ennyumba ya Mukama.
13 Awo abakozi ne bakola omulimu ne bakamala, ne basimba ennyumba ya Katonda nga bwe kyagwanira, ne baginyweza.
14 Awo bwe baamalira ddala, ne baleeta ebintu ebyafikkawo mu maaso ga kabaka ne Yekoyaada, ne babikoza ebintu eby'omu nnyumba ya Mukama, ebintu ebiweereza era eby'okuwongeramu, n'ebijiiko, n'ebintu ebya zaabu ne ffeeza. Ne bawangayo ebiweebwayo ebyokebwa mu nnyumba ya Mukama obutayosanga ennaku zonna eza Yekoyaada.
15 Naye Yekoyaada n'akaddiwa, ng'ajjudde ennaku ng'awangadde ennaku nnyingi n'afa; yali yaakamaze emyaka kikumi mu amakumi asatu we yafiira.
16 Ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi mu bakabaka kubanga yakola bulungi mu Isiraeri n'eri Katonda n'ennyumba ye.
17 Awo oluvannyuma Yekoyaada ng'afudde abakulu ba Yuda ne bajja ne bavuunamira kabaka. Awo kabaka n'abawulira.
18 Ne balekanga ennyumba ya Mukama Katonda: wa bajjajjaabwe, ne baweerezanga Baasera n'ebifaananyi: obusungu ne bujja ku Yuda ne ku Yerusaalemi olw'omusango gwabwe ogwo.
19 Era naye n'abatumiranga bannabbi okubakomyawo eri Mukama; ne babanga bajulirwa eri bo: naye ne bataganyanga kutega matu.
20 Awo omwoyo gwa Katonda ne gujja ku Zekkaliya, mutabani wa Yekoyaada kabona; n'ayimirira wagguluko awali abantu n'abagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Katonda nti Musobezanga ki ebiragiro bya Mukama n'okuyinza ne mutayinza kulaba mukisa? kubanga mwaleka Mukama, era naye kyavudde abaleka mmwe.
21 Ne bamwekobaana era olw'ekiragiro kya kabaka ne bamukubira amayinja mu luggya olw'oku nnyumba ya Mukama.
22 Bw'atyo Yowaasi kabaka n'atajjukira kisa kye yakolwa Yekoyaada kitaawe, naye n'atta mutabani we. Awo bwe yali ali kumpi okufa n'ayogera nti Mukama akitunuulire akivunaane.
23 Awo olwatuuka omwaka bwe gwayitawo eggye ery'Abasuuli ne limutabaala: ne bajja eri Yuda ne Yerusaalemi ne bazikiriza abakulu bonna ab'abantu okubamalawo mu bantu, ne baweereza omunyago gwabwe gwonna eri kabaka w'e Ddamasiko.
24 Kubanga eggye ery'Abasuuli lyajja nga balina ekibiina ky'abasajja ekitono; Mukama n'agabula mu mukono gwabwe eggye eddene ennyo nnyini, kubanga baali balese Mukama Katonda wa bajjajjaabwe. Awo ne bakommekkereza omusango ku Yowaasi.
25 Awo bwe baamuvaako (kubanga baamuleka obulwadde nga bumukutte nnyo) abaddu be ye ne bamwekobaana olw'omusaayi gwa batabani ba Yekoyaada kabona, ne bamuttira ku kitanda kye n'afa: ne bamuziika mu kibuga kya Dawudi, naye ne batamuziika mu masiro ga bassekabaka:
26 Era bano be baamwekobaana; Zabadi mutabani wa Simeyaasi omukazi Omwamoni, ne Yekozabadi mutabani wa Simulisi omukazi Omumowaabu.
27 Era ebya batabani be n'emigugu egyamuteekebwako bwe gyali emikulu n'okuzimba nate ennyumba ya Katonda, laba, byawandiikibwa mu bitegeeza eby'ekitabo kya bassekabaka. Amaziya mutabani we n'afuga mu kifo kye.