Yoswa

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24

0:00
0:00

Essuula 21

Awo emitwe (egy'ennyumba) za bakitaabwe ez'Abaleevi ne bajja eri Eriyazaali kabona n'eri Yoswa omwana wa Nuni n'eri emitwe (egy'ennyumba) za bakitaabwe ez'ebika eby'abaana ba Isiraeri:
2 ne babagambira mu Siiro mu nsi ya Kanani nti Mukama yalagira mu mukono gwa Musa okutuwa ebibuga eby'okubeeramu, n'ebyalo ebiriraanye, (ettale ery'okulundiramu) ente zaffe.
3 Abaana ba Isiraeri ne bawa Abaleevi mu busika bwabwe, nga Mukama bwe yalagira, ebibuga bino n'ettale lyabyo.
4 N'akalulu ne kavaamu enda ez'Abakokasi: n'abaana ba Alooni kabona, abaali ab'ekika ky'Abaleevi, ne baweebwa akalulu mu kika kya Yuda, ne mu kika eky'Abasimyoni, ne mu kika kya Benyamini, ebibuga kkumi na bisatu.
5 N'abaana ba Kokasi abalala ne baweebwa akalulu mu nda ez'ekika kya Efulayimu, ne mu kika kya Ddaani, ne mu kitundu eky'ekika kya Manase, ebibuga kkumi.
6 N'abaana ba Gerusoni ne baweebwa akalulu mu nda ez'ekika kya Isakaali, ne mu kika kya Aseri, ne mu kika kya Nafutaali, ne mu kitundu eky'ekika kya Manase mu Basani; ebibuga kkumi na bisatu.
7 Abaana ba Merali ne baweebwa ng'enda zaabwe bwe zaali mu kika kya Lewubeeni, ne mu kika kya Gaadi, ne mu kika kya Zebbulooni, ebibuga kkumi na bibiri.
8 N'abaana ba Isiraeri ne babawa n'obululu Abaleevi ebibuga ebyo n'ettale lyabyo, nga Mukama bwe yalagira mu mukono gwa Musa.
9 Ne babawa mu kika eky'abaana ba Yuda, ne mu kika eky'abaana ba Simyoni, ebibuga bino ebigenda okumenyebwa:
10 ne biba bya baana ba Alooni, ab'enda ez'Abakokasi, ab'omu baana ba Leevi: kubanga omugabo gwabwe gwe gwasooka.
11 Ne babawa Kiriasualuba, (Aluba oyo yali) kitaawe wa Anaki, (ye Kebbulooni), mu nsi ey'ensozi eya Yuda, n'ebyalo byakyo ebikyetoolodde.
12 Naye ennimiro z'ekibuga n'ebyalo byakyo ne babiwa Kalebu omwana wa Yefune okubirya.
13 Ne bawa abaana ba Alooni kabona Kebbulooni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Libuna n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
14 ne Yattiri n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Esutemoa n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
15 ne Koloni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Debiri n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
16 ne Aini n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Yuta n'ebyalo byakyo ebiriraanye, (ne) Besusemesi n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga mwenda mu bika ebyo ebibiri.
17 Ne mu kika kya Benyamini, Gibyoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Geba n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
18 Anasosi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Alumoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina.
19 Ebibuga byonna eby'abaana ba Alooni, bakabona, byali ebibuga kkumi na bisatu n'ebyalo, byabyo ebiriraanye.
20 N'enda ez'abaana ba Kokasi, Abaleevi, be baana ba Kokasi abalala, ne balya ebibuga eby'akalulu kaabwe mu kika kya Efulayimu.
21 Ne babawa Sekemu n'ebyalo byakyo ebiriraanye mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Gezeri n’ebyalo byakyo ebiriraanye;
22 ne Kibuzaimu n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Besukolooni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina.
23 Ne mu kika kya Ddaani, Eruteke n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Gibbesoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
24 Ayalooni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Gasulimmoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina.
25 Ne mu kitundu eky'ekika kya Manase, Taanaki, n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Gasulimmoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bibiri.
26 Ebibuga byonna eby'enda ez'abaana ba Kokasi abalala byali kkumi n'ebyalo byabyo ebiriraanye.
27 (Ne bawa) abaana ba Gerusoni; ab'enda ez'Abaleevi, mu kitundu eky'ekika kya Manase Golani mu Basani n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi; ne Beesutera n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bibiri.
28 Ne mu kika kya Isakaali, Kisioni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Daberasi n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
29 Yalamusi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Engannimu n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina.
30 Ne mu kika kya Aseri, Misali n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Abudoni n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
31 Kerukasi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Lekobu n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina.
32 Ne mu kika kya Nafutaali, Kedesi mu Ggaliraaya n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Kammasudoli n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Kalutani, n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bisatu.
33 Ebibuga byonna eby'Abagerusoni ng'enda zaabwe bwe zaali byali ebibuga kkumi na bisatu n'ebyalo byabyo ebiriraanye.
34 (Ne bawa) enda ez'abaana ba Merali, (be) Baleevi abalala, mu kika kya Zebbulooni, Yokuneamu n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Kaluta n'ebyalo byakyo ebiriraanye,
35 Dimuna n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Nakalali n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina.
36 Ne mu kika kya Lewubeeni, Bezeri n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Yakazi n'ebyalo byakyo ebiriraanye,
37 Kedemosi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Mefaasi n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bina.
38 Ne mu kika kya Gaadi, Lamosi mu Gireyaadi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Makanayimu n'ebyalo byakyo ebiriraanye;
39 Kesuboni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, Yazeri n'ebyalo byakyo ebiriraanye; byonna ebibuga bina.
40 Ebyo byonna byali bibuga bya baana ba Merali ng'enda zaabwe bwe zaali, ze nda endala ez'Abaleevi; n'akalulu kaabwe kaali ebibuga kkumi na bibiri.
41 Ebibuga byonna eby'Abaleevi (ebyali) wakati mu butaka obw'abaana ba Isiraeri byali ebibuga amakumi ana mu munaana n'ebyalo byabyo ebiriraanye.
42 Ebibuga ebyo byonna byalina ebyalo byabyo ebibyetoolodde: bwe byali bwe bityo ebibuga ebyo byonna
43 Mukama bwe yawa bw'atyo Abaisiraeri ensi yonna gye yalayirira okuwa bajjajjaabwe; ne bagirya, ne bagibeeramu:
44 Mukama n'abawummuza enjuyi zonna, nga byonna bye yalayirira bajjajjaabwe: so tewaali muntu mu balabe baabwe bonna eyayimirira mu maaso gaabwe; Mukama yawaayo abalabe baabwe bonna mu mukono gwabwe.
45 Tewali kigambo ekitaatuuka mu birungi byonna Mukama bye yagamba ennyumba ya Isiraeri; byonna byatuuka.